TOP

Omukazi atabukidde Kazibwe Kapo: Najja kufumba si kukola bwayaaya

By Martin Ndijjo

Added 13th February 2016

Olwo yali atenda omuwala omulungi eyali amuwadde emirembe gy’agamba nti yali tagirootangako olw’ebinuubule byafunye mu bakazi. Teyamanya nti emirembe gyali gya kiseera anti w’osomera bino nga Sharuwa yanobye dda.

Kaaya1 703x422

Sharuwa ng’atuuka ku poliisi y’e Kawempe okuwawaabira bba Kazibwe. ALITWAWUKANYA ALIBA ANOONYA KUFA: Kazibwe ne Sharuma mu mukwano.

OMUYIMBI Kazibwe Kapo olwafuna omuwala Sharuwa Namakula yatandikirawo okwewaanira ku banne nti, “eno embooko gye nfunye yeegenda okumalako situleesi y’abakazi’.

Olwo yali atenda omuwala omulungi eyali amuwadde emirembe gy’agamba nti yali tagirootangako olw’ebinuubule byafunye mu bakazi. Teyamanya nti emirembe gyali gya kiseera anti w’osomera bino nga Sharuwa yanobye dda.

Kazibwe Kapo omuyimbi wa Kadongo kamu ng’amannya ge amatuufu ye Isa Kazibwe, yasisinkana Sharuwa mu 2014 ne basiimagana era ne bakkaanya okutandika obufumbo n’oluvannyuma beeyanjule mu bakadde n’okukola embaga makeke.

Omukwano ogukyali omuto kye gubeeredde Kazibwe erinnya lya Sharuwa terikyamuva ku mumwa ng’olumu aliyimba nga luyimba era banywanyi be batugambye nti waliwo lw’atambula nga yeeyogeza ng’alinga agudde eddalu.

EBITABUDDE KAZIBWE NE SHARUWA

Obubonero bwa Sharuwa okunoba bwatandise okweyoleka omwezi oguwedde. Olumu abadde ava awaka n’atambula nga tategeezezza ku bba ng’ate bw’amukubira essimu tazikwata.

Ennyombo zaatandise awaka nga Kazibwe anenya Sharuwa okwenjeera ate Sharuwa abamu gwe bayita omugole n’anenya bba obutaba mwesimbu n’okumujooga n’atuuka okumufuula yaaya mu maka ng’amusombera abaana alabirire ng’ate ye alemeddwa okumufunyisa olubuto.

“Mbadde nsazeewo okuguma ng’omukazi eyajja okufumba kubanga ewa Kazibwe nagendayo nga mmwagala naye embeera gye mpitamu kati empitiriddeko’’. Nga tutandika omukwano gwaffe, yankakasa nti si mufumbo yadde alinayo abaana babiri naye kati yaakandeetera mukaaga ate mpulira waliyo n’abalala.

      ajati ibuuza nga yeewaana KAZIBWE KAPO ANDI MU TTAANO: Hajati Bibuuza nga yeewaana.

 

‘Nze siri yaaya nti ewuuwe nagendayo kulabirira baana b’asomba ate okumanya ajooga bino byonna abikola nga ne mu bazadde bange teyeeyanjulangayo wadde okukyalayo bamulabe wabula akola kimu kya kunsuubiza’. Sharuwa eyabadde omunyiivu nga yenna ayogeza bukambwe bwe yagambye.

KAZIBWE BW’OMUBUUZA EBY’EMBAGA NGA YEEKWASA

Sharuwa yatandika okuteeka Kazibwe ku nninga amubuulire olunaku lw’okukyala mu bazadde, okwanjula n’embaga yaabwe lw’eneebaawo.

Kazibwe yafubye okukakkanya omugole basooke beeteeketeeke bulungi bakole omukolo ogutuukana n’ekitiibwa kya ssereebu (omuntu omumanyifu) kyokka ng’asiwa nsaano ku mazzi.

Olwo Sharuwa yabadde amaze okwekengera Kazibwe okufunayo omukazi omulala ayinza okubatabula.

SHARUWA ANOBA:

Wiiki ewedde omuwala yakuttemu ebibye n’ava mu maka ga Kazibwe e Kazo n’agenda ewa muganda we e Wamala gye yanobedde era Kazibwe asattira.

Agamba nti buli lw’akuba essimu ya Sharuwa, omuwala bw’amuyamba n’agikwata amwanukuza busungu n’okumulangira ejjoogo ng’ate amazima ge gafuga obufumbo.

Wakati mu kusoberwa, Kazibwe yakubyekubye ku mikwano gye bamusalire ku magezi okulaba ng’akomyawo omugole gw’agamba nti ye muwala gwe yawa omutima gwe. Kyokka Sharuwa yategeezezza Bukedde nti:

Omusajja oyo (Kazibwe) mujoozi ekigenze ewala. Nze ewuwe teyantwala kukola bwayaaya. Bw’aba n’abaana be abaleke mu bamaama baabwe mu kifo ky’okubaleeta ewange okummalako emirembe.

Yagasseeko nti amala kukyala waffe tukole n’okwanjula nkakase nti ndi mukyala we tanzannyirako nga bw’azze akola abakazi abalala.

    abatanzi ngasiba haruwa enviiri e amala OMUSAJJA ASOOKE YEEYANJULE: Nabatanzi ng’asiba Sharuwa enviiri e Wamala.

 

BABIYINGIZZAAMU BIBUUZA

Bwe yabuuziddwa oba ddala akakasa nsonga y’abaana ye yamutabudde ne Kazibwe Kapo so si Hajati Madinah Bibuuza ayogerwako okukukuta ne Kazibwe Kapo. Sharuwa yagambye nti oyo Bibuuza tamutya kubanga talina ky’amusinga.

“Ebya Kazibwe Kapo ne Bibuuza tukuze ne bano be tulina olwo abaagala okulemesa kibatte.

HAJATI MADINAH YEEWAANYE

Ono bwe yabuuziddwa ku by’okukukuta ne Kazibwe Kapo n’okwagala okutabula omukwano gwa Sharuwa yagambye nti, ‘‘Kazibwe mukwano gwange yadde olumu enkolagana yaffe eyitawo okuba ab’omukwano”.

Yagasseeko okubuuza nti, bye njogedde obitegedde? Bwe yasabiddwa okwongera okunnyonnyola ky’ategeeza yagambye nti “kizibu okwawula Kazibwe ku Madinah oba okugaana abantu okwogera ku mannya ago gombi awamu naye Sharuwa bw’aba ng’ayagala kumanya ekituufu ekiriwo mugambe ankubire essimu munnyonnyole kye ntegeeza kubanga tuli bantu bakulu”.

MUKULU WA SHARUWA ATADDE AKAKA

Fatuma Nabatanzi abeera e Wamala, Sharuwa gye yanobedde yasangiddwa amukolako. Mu busungu yagambye: “haa... wabula omusajja oyo ajooga.

Ne bwe nandibadde nze muviira. Ffe tukoma kumulaba ku ttivvi ng’ayimba naye tetumumanyi nga bba wa muganda waffe kubanga n’eka takyalanga.

Bw’aba awulira nga Sharuwa amwagala, asooke azzeeyo abaana mu bamaama baabwe ajje n’ewaffe akyale tumutegeere’’.

SHARUWA AGENZE KU POLIISI OKULOOPA

Wadde Sharuwa yasazeewo okuva ewa Kazibwe, ensonga azitutte ku poliisi y’e Kawempe n’agitegeza ku nsonga zaabwe ng’agamba nti kino akikoze olw’obutakkaanya obuliwo wakati waabwe naddala mu kiseera kino nga bba amukubira essimu ezimutiisatiisa okumutuusaako obulabe.

Omusango guli ku fayiro nnamba SD: 29/09/02/2016. Wabula Kazibwe Kapo eby’okutiisatiisa Sharuwa abyegaanye n’agamba nti talina na ssimu gye yaamukubidde ngamukambuwalira oba okumugamba ekigambo ekimutiisa okuggyako okumusaba akomewo awaka amutokoseze ettooke bakuze n’abaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi