TOP

Nwagi azze kumenyawo Desire Luzinda: Ebitone byabwe bissiddwa ku minzaani

By Martin Ndijjo

Added 22nd April 2016

Ng’oggyeeko ekitone ky’okuyimba n’eddoboozi ly’akyusa okusinziira ku sitayiro oba ekika kya myuziki gw’akola, ebirala ebiwadde Nwagi amaanyi n’etuttumu mu bbanga ettono kye kikula n’endabika ye (ffiga ennungi) ebicamula abalabi naddala abasajja.

Bano1 703x422

Luzinda ne Nwagi bateereddwa ku minzaani

WINNIE Nwagi (Nakanwagi) y’omu ku bayimbi abapya abaleese amaanyi mu nsiike y’okuyimba.

Mu bbanga ery’emyaka ebiri gy’amazze ng’avudde mu mpaka za Coca-cola Rated Next ezaamutunda mu bantu, akakasizza abawagizi be nti asobola n’okunyiya abayimbi abanene omuziki.

Ng’oggyeeko ekitone ky’okuyimba n’eddoboozi ly’akyusa okusinziira ku sitayiro oba ekika kya myuziki gw’akola, ebirala ebiwadde Nwagi amaanyi n’etuttumu mu bbanga ettono kye kikula n’endabika ye (ffiga ennungi) ebicamula abalabi naddala abasajja.

Embeera eno y’evuddeko n’abamu okumupima ku muyimbi munne Desire Luzinda gwe baakazaako erya ‘kitone’.

Amanyi n’okukyewaaniramu nga Katonda bwe yamuwunda obulungi. Abakyala bano ababiri kati bafuuse mboozi mu bawagizi baabwe ng’abamu bagamba nti Nwagi ajjidde mu kifaananyi kya Desire Luzinda era alwana kumumenyawo. Kyokka Desire alabudde Nwagi obutacamuukirira kubanga abawagizi be bajja kumubuzaabuza nga bamuwaana bamulemese n’okuyimba.

 

Nwagi ng’ayambadde obugoye obumukola ffiga.

‘‘Okuggyako oyo omwana okunneefanaanyirizaamu mu ffiga, ebisigadde talina w’antuuka’’. Desire bw’agamba. Mu butuufu, abawala bano bombi Katonda yabawunda n’abawa ffiga ne hipusi ssaako ebiwato bye banyeenya ne bacamula abantu.

Ye bwe gutuuka ku basajja bakuba obufaananyi nga bwe babooza. Desire baamulabako mu ku katambi naye Nwagi abawa okuteebereza.

NWAGI AYOGEDDE

Nwagi bwe yabuuziddwa oba ddala ajjidde mu kifaananyi kya Luzinda era ayagala kumumenyawo yazzeemu nti: “Sigaana bantu kwogera kye baagala oba kye balowooza. Luzinda simusisinkanangako naye kye mmanyi alabika bulungi.

Kale okumupima oba okumugeraageranya nange sikirinaako buzibu naye mu kulaba okwange ndowooza ndi wa njawulo ku Luzinda era mmusinga mu buli kimu yadde ndi muto’’.

Yagasseeko nti: ‘‘waliwo abawulira amaloboozi gange nga ntandika okuyimba ne bagamba nti nnyimba nga Juliana ate abalala nti nnyimba nga Iryn Namubiru n’abandi okunfaananya Rema Namakula’’.

 wagi ne muwala we nga balya ekyennyanja Nwagi ne muwala we nga balya ekyennyanja.

 

LUZINDA AMUSEKEREDDE

Ate Desire Luzinda bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yagambye: “Abapika Nwagi n’okumuwaanawaana mumuwabya era mugenda kumulemesa okuyimba ng’ate bambi tannaba kwetengerera bulungi kubanga ye alina okuba ne ‘hiiti’ okutuuza abantu bamulabe. Katonda yatutonda nga tuli banjawulo kale Nwagi tasobola kubeera Luzinda yadde okunfaanana oba okuntuuka. Kye mulina okumanya nti mupya mu nsiike era yeetaaga okuyambibwa so si kumugeraageranya ku Luzinda eyamalayo edda. Essaawa eno ndowooza ku bya kuva mu kuyimba okwa ‘Puleesa’ nzire mu bizinensi kyokka oyo mukaziwattu takolangayo wadde lonki’’.

Ku kye boogera nti akozesa endabika ye, obulungi n’ebintu ebirala ku mubiri gwe okufuna ettutumu, Luzinda yazzeemu nti “okuyimba osobola okuyitirawo mu bintu bingi ate abawagizi tebaagala muntu alabika bubi kale nze kino sikirinaako buzibu kubanga kinkolera”.

 wagi ngakuba omuziki nga bwabibinaza akabina Nwagi ng’akuba omuziki nga bw’abibinaza akabina.

 

AMAANYI GAABWE NE BYE BAFAANANYA

Bombi oyinza okuboogerako ng’abakulidde mu Kampala. Luzinda muwala wa Hajji Jamadah Luzinda Kizito ow’e Kawempe naye nga yakulira ku Makerere Flats. Ate Nwagi muwala w’omugenzi Sarah Namuddu Kulabako ne Henry Kabiito. Ono akulidde Namasuba.

Okusoma

Luzinda yasomera: Buganda Road Primary, Omega College ne Makerere High gye yamalira S6.

Yeegatta ku Yunivasite y’e Makerere okusoma diguli mu Developmental Economics kyokka teyagimalaako.

Agamba akyakirowoozaako okuddayo okumaliriza emisomo gye. Ate Nwagi yasomera: St. Agnes Naggalama, East high Ntinda, Migadde College ne Namagabi SS e Kayunga.

Olwamala S6 eby’okusoma n’abivaako. Agamba nti alowooza kuddayo kusoma byamisono kubanga abyagala nnyo.

 esire uzinda nganyumye mu kiteeteeyi Desire Luzinda ng’anyumye mu kiteeteeyi.

 

OKUTANDIKA OKUYIMBA

Luzinda ensiike agimazeemu emyaka 10. Yasooka kukola ku TV ya WBS ng’aweereza pulogulaamu y’amasanyu ne Chopper Chopper gye yava okutandika okuyimba. Nwagi: Abamu ku bamulaba balowooza nti okuyimba akutandise mwaka guno.

Yamala emyaka esatu ng’ayamba ku bayimbi mu situdiyo okuyisaamu amaloboozi (backing) okuli: Evelyn Lagu, Haruna Mubiru ne Titie.

Mu 2014 yavuganya mu mpaka z’okuyimba eza Coca-Cola Rated Next n’akwata ekifo ekyokusatu.

Eno gye yava okwegatta ku Swangz Avenue mw’ayimbira.

EBIPYA N’EZIMU KU NYIMBA EZIBATUNZE

Nwagi gye buvuddeko yafulumiza ‘Kibulamu’. Luyimba lwa mukwano ng’omuntu yeemulugunya ku laavu.

Ezimu ku nnyimba ezimutunze kuliko: Musawo, Embeera, Gwe nnoonya, Katonokatono, Science (ne King Saha), Go Go (ne Khalifa) n’endala. Luzinda asembyeyo kufulumya ‘Lwaki weekoza’ olw’omukwano.

Abeera agamba omwagalwa we nti bw’oba olina ky’oyagala tosaanye kwekoza. Ennyimba endala kuliko: Mubiite, Nkomyewo, Nyumirwa nnyo, Mbeere naawe lwe yakola ne Mesach Ssemakula, Omwami (ne ba Ngoni), Fitting (ne Goodlyfe), Buli wendi, Kitone, Ebyama n’endala.

 esire uzinda ngali ne muwala we Desire Luzinda ng’ali ne muwala we.

 

ENNYAMBALA

Bombi balina ababategeera n’okubawabula mu by’okwambala. Desire agamba olugoye lwonna nga lumukwata, lumukolera kubanga luggyayo ffiga ye.

Ne Nwagi agamba nti engoye ezimukwata naddala ebiteeteeyi bimukolera era bw’abyambala alabira ddala nga ffiga ye evuddeyo.

ABASAJJA (EBYA LAAVU)

Bombi bazadde nga buli omu alina omwana naye tebabeera na bataata baabwe. Owa Luzinda ye Michelle Nakubulwa (12) ate owa Nwagi ye Destiny Mirembe (5).

Bw’obabuuza ku bya laavu, Nwagi agamba alina omuntu we gw’alaba tamwogera mannya. Ate Luzinda agamba nti takyali ku ‘katale’ yafuna eyamuwonya laavu y’obufere.

Omusajja tamwogera mannya kyokka agamba nti essaawa yonna ekintu bakitwala ku ddaala eddala. Bombi bagamba nti abasajja bangi babeeyunira nga babasaba omukwano n’obufumbo kyokka buli omu mugumu w’ali era abamu kati bakola kimu kya kubafuula mikwano gyabwe.

EMYAKA GYABWE

Ekimu ku bintu ebikyasinze okuzibuwalira Luzinda okwogera gy’emyaka gye. Ono yalemera ku 25. Kyokka Nwagi gw’ayita omwana omuto alina 27.

BYE BAFUNYE MU KUYIMBA

Olw’okuba yakatandika okuyimba, Nwagi agamba ng’oggyeeko okukola emikwano, emirimu kati afuna era ali mu kukuhhanya ssente okulaba ng’aliko eky’amaanyi ky’akola okuva mu ssente z’okuyimba akole bizinensi.

Ate Luzinda afunyemu bingi okuli mmotoka ez’ebbeeyi, amaka e Naalya, enju gy’azimba e Matugga n’ebirala.

esire ngayiga okukuba ebivuga Desire ng’ayiga okukuba ebivuga.

 

OKULINNYA ENNYONYI

Luzinda agamba nti okuyimba kumulinyisizza ennyonyi okutuuka mu mawanga ag’enjawulo okuli: Bungereza, Germany, Amerika, Sweden, China, South Africa n’awalala.

Ate Nwagi yeesunga kivvulu kye ekisooka emitala w’amayanja ekigenda okubeera mu Bungereza ku nkomero ya May ate mu September agenda mu Amerika. Gye buvuddeko yaliko e Dubai.

EMIRIMU EMIRALA

Nwagi agamba asobola okuzina, okukuba ehhoma n’engalabi nga kati ayiga kukuba nnanga kyokka ne Luzinda ayiga kukuba bivuga.

ABANTU BE BEEGOMBA

Luzinda yakula yeegomba omuyimbi Omumerika, Mariah Carey ne Julian Kanyomoozi ate Nwagi yeegomba Juliana Kanyomozi ne Iryn Namubiru.

BEERABA WA MU MYAKA 2 MU MAASO

Nwagi ayagala kubeera muyimbi omukyala asinga mu ggwanga akole n’ennyimba ezookya n’abayimbi ba Afrika ab’amannya.

Ye Desire Luzinda alowooza ku kya kutandika bizinensi n’okuwa abantu emirimu akendeeze ku by’okuyimba awe abaana ggaapu.

“Abapika Nwagi n’okumuwaanawaana mumuwabya era mugenda kumulemesa okuyimba ng’ate bambi tannaba kwetengerera bulungi kubanga ye alina okuba ne ‘hiiti’ okutuuza abantu bamulabe. Katonda yatutonda nga tuli banjawulo kale Nwagi tasobola kubeera Luzinda yadde okunfaanana oba okuntuuka. Kye mulina okumanya nti mupya mu nsiike era yeetaaga okuyambibwa so si kumugeraageranya ku Luzinda eyamalayo edda. Essaawa eno ndowooza ku bya kuva mu kuyimba okwa ‘Puleesa’ nzire mu bizinensi kyokka oyo mukaziwattu takolangayo wadde lonki’’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte