TOP

Nwagi attunse ne Desire mu kitone e Masaka

By Martin Ndijjo

Added 11th May 2016

OKUVUGANYA okwasoose wakati wa Desire Luzinda ne Winnie Nwagi kwacamudde abagagga b’e Masaka ne basumulula ‘waleti’ ng’oyinza okulowooza bazze ne ‘bbanka’ obwedda mwe baggya ssente okubayiira.

Nwagidesire1 703x422

Nwagi ne Desire nga bayingirawo ku siteegi

Bya MARTIN NDIJJO NE FRED YIGA

OKUVUGANYA okwasoose wakati wa Desire Luzinda ne Winnie Nwagi kwacamudde abagagga b’e Masaka ne basumulula ‘waleti’ ng’oyinza okulowooza bazze ne ‘bbanka’ obwedda mwe baggya ssente okubayiira.

Okumanya baabacamudde, abamu baalekeredde abaa­galwa baabwe be bazze okusanyuka nabo ne badda mu kuyaayaanira okuzina n’abayimbi bano era tebaaba­wadde na budde bumala kutu­ukako mu bantu abalala gye baabadde batudde okuggyako Desire eyayiseeyo ng’ayingirawo okuyimba.

Abagagga abamu eby’okuzina obuzinyi n’abayimbi baabivud­deko nga baagala kukwata ku mubiri bawulire bwe bagonda naddala Desire eyabadde ayambadde kabbulawuzi akakunukkidde nga kamulaga olubuto.

 kireetera abamu okubeera namazzi agasukkiridde agatobya nobuliri nga yalwawo ngakozesa eddagala lino  ee more at httpwwwbukeddecougbukeddessenga1424294ekyamakyabakazibomuankoleekisumululaensulosthashf7dpuf  Desire ng’ayimbira abadigize.

Obwedda omuyimbi azina n’omugagga ng’omulala alindiridde ku mmeeza eddako era kalabaalaba (MC) yabadde n’olukalala lw’amannya g’abagagga b’asoma nga y’alagirira nti “Nwagi oba Desire awo kati vvaawo genda ewa gundi ku mmeeza eddako akulindiridde.

Bino byabadde ku Lwasa Gar­dens e Kyabakuza mu Masaka ku Ssande ekiro mu kivvulu ekyatuumiddwa ‘Ani asinga ekitone’.

Desire ye yasoose okulin­nya ku siteegi ku ssaawa 4:30 ez’ekiro n’atandikirawo okwe­waana nga bw’alina ekitone nga bw’agamba nti Nwagi alina katone era eyabadde awakana y’essaawa okukakasa.

Nwagi naye oluvannyuma yayingiddewo kyokka yasoose kulabika ng’atidde okuvuganya.

 mugagga wasa ngafuuwa wagi ssente Omugagga Lwasa ng’afuuwa Nwagi ssente.

 

ENGERI GYE BAAVUGANYIZZA

ENNYAMBALA

Desire Luzinda yajjidde mu mpale empanvu ng’eggyayo ffi­ga ye n’ateekerako kabbulawuzi akaabadde kakoma waggulu w’ekkundi nga waakava ku ma­beere.

Kumpi olubuto lwonna lwabadde bweru nga kuliko ne ttatu wamma n’assa abasajja amabbabbanyi era bangi bakira bazina naye nga bwe bamukutte ku mubiri.

Waliwo ne taata w’abaana eyabadde asibidde empale mu mwoyo, Pantalo eyacamuse nga Desire amuk­oonyeeko era yagenze okuva ku siteegi ng’abantu bamukuba olube.

Nwagi yasuddemu akagoye nga kava waggulu okutuuka wansi nga kaatungirwa wamu n’empale kyokka nga mu kifuba ebbeere liringiza.

Amabeere gaabadde gabikkiddwa kadiza­yini akalinga akatimba nga bwe weetegereza ogalabira ddala bulungi.

Abadigize naddala abakyala baagambye nti en­nyambala ya Nwagi yabadde omuweesa kitiibwa wabula bwe gwatuuse ku Luzinda abasajja baamuwaanye nti ddala yalaze ekitone kye baabadde bavugan­yako.

 mugagga we asaka ddie ulinde ku kkono ngakulembeddemu banne be yabadde nabo Omugagga w’e Masaka Eddie Mulinde (ku kkono) ng’akulembeddemu banne be yabadde nabo.

 

ENNYIMBA

Desire Luzinda yabadde n’ennyimba omwabadde Eki­tone, Lwaki weekoza (nga luno lwabaddeko amazina Amaganda era yattunse ne RDC Kintu), Mubiite, Love yo, Tebakulimba, Ebyama, Kaboogere, Nyumirwa nnyo (nga yazinye n’omugagga Emmanuel Lwasa nnannyini Lwasa Gardens), Tweyagale ne Nkomyewo era ezimu obwedda ayimba n’abadigize.

Nwagi yayimbye Musawo, Embeera, Ssaayansi, Katonoka­tono, Kibulamu ne Abantu banyi­ivu. Wano abadigize baagambye nti engeri Luzinda gy’aludde mu kisaawe ky’okuyimba yamuku­bizza kaga kuba Nwagi yabadde n’ennyimba nga ttaano zokka ate ng’ezize (Luzinda) zaabadde nga 10.

 mugagga antalo ngali ne esire aba empale za antalo Omugagga Pantalo ng’ali ne Desire. Laba empale za Pantalo...

 

OKWEWA ABANTU

Nwagi yasoose kwemalira ku siteegi ng’atya okugenda mu badi­gize okutuusa abagagga bwe baa­muyise bamuwe ssente era bano nga bakulemeddwamu, Lwasa, omusuubuzi Eddie Mulinde, Dr. Kabugo, Haman Kasozi owa Sad beach e Nabugabo, Mutto Ashiraf n’abalala.

Baamuyiridde ssente ezimu n’abulwa n’owokuziteeka n’asaba ttule bakira ezimu kwe baziteeka ng’eno abantu abalala bwe bakuba enduulu.

Luzinda okugenda ku siteegi yavudde mu bantu bakira abamuyaayaanira okumuk­watako.

Yayise abagagga ku siteegi abaagala okuzina naye nga bw’abasoomoza nti “nze Katonda yampa ekitone era balina eddembe okukwata ku mubiri bawulire bwe gugonda.

 mugagga wasa ngafuuwa wagi ssente Omugagga Lwasa ng’afuuwa Nwagi ssente.

 

Abalala yabalumbye mu butebe gye baa­badde batudde n’azina nabo. Ono naye baamufuuye ssente yadde ze baayiiridde Nwagi zaalabise nga nnyingiko.

Ekivvulu gye kyaggweeredde ng’abantu abasinga bawaana Luzinda okuggyayo ekitone nga bwe baabadde bakyagala.

Abalala bawuuliddwa nga bagamba nti Nwagi engoye ze yayambadde tezabakoledde nga teziraga bu­lungi ffiga ye na bitone okuteeka akazito ku Luzinda.

Abalala abaasanyusizza abantu kwabaddeko MC Kapale bakira ayogera ebigambo obwedda ebi­basesa, Joel Kisakye n’abalala.

 mugagga mmanuel wasa eyategese ekivvulu ngawa esire ssente akati ye  intu Omugagga Emmanuel Lwasa eyategese ekivvulu ng’awa Desire ssente. Wakati ye RDC Kintu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai