TOP

Queen Florence kati azze mu kuggala bbaala e Kampala

By Martin Ndijjo

Added 13th May 2016

Okufaananako abakazi abalala, Queen Florence agamba akooye eby’okumukwabula kati ayagala bufumbo.

Florence1 703x422

Queen Florence ne Grace Ssekamatte abakulira ekibiina ky’abatamiivu.

   Bya MARTIN NDIJJO  

OMUYIMBI Queen Florence eby’okuyimba abivuddeko. Akoze ekibiina ky’abanywi b’omwenge nga kati bakola gwa ‘kuggala bbaala’ z’omu Kampala gye basula nga banywa.  

Queen Florence ng’amannya ge amatuufu ye Florence Nakamyuka bukya akomawo okuva e Malaysia gye yafunira ebizibu, azze awulikika kitono.

Amaze ebbanga nga talabikako ku siteegi yadde mu bivvulu okuyimba ekivuddeko abawagizi be okwebuuza gye yabulira n’ekyamutuukako.  

 ueen lorence ne aridah dausi nga batiguka nomwenge Queen Florence ne Faridah Ndausi nga batiguka n’omwenge.

 

Omukyala ono gwe twasanze ku Calendar Hotel e Makindye yagambye nti okuyimba takyakutwala nga mulimu mukulu ogumubeezaawo, ayimba lw’ayagadde okukuuma ekitone kye.  ‘‘Okuyimba kati nkutambuliza ku sipiidi yange sikyali mu byakuvuganya.

Nnyimba lwe njagadde kubanga kino kitone kyange. Ebyo ebya puleesa nabikoowa mbirekedde bato bange nga Rema Namakula ne Winnie Nwagi abakyanoonya erinnya ne ssente’’.  

Olaba, Catherine Kusaasira, Sophie Nantongo n’abalala abaatusangawo nabo bakuze, Chance Nalubega gwe twatobanga naye takyabiriko, Mariam Ndagire atambulira ku sipiidi ye ate olwo nze?  Kati bw’ompa obukadde 20 mbuteeke mu kuyimba waakiri nzimbamu emizigo gy’abapangisa.

 ueen lorence wakati nga bamutereeza ekitambaala Queen Florence (wakati) nga bamutereeza ekitambaala.

 

Ndaba ne myuziki w’ennaku zino takyalimu ssente ng’okufunamu olina kuteekamu ssente nnyingi, amaanyi n’okuyiiya so nga luli oyiiya n’okola ennyimba nga gw’oziguzizza ebisigadde y’abikola nga okulutumbula abantu balumanye.

Yawadde ekyokulabirako nti mu 2004, olutambi lwe olwa ‘Kibalu¬ma’ yaluguza omugenzi  Kasiwukira ku bukadde 15 kyokka nga nali ntaddemu obukadde 2 bwokka ekitakyasoboka kati.  

OMUSAJJA AMPA BULI KYETAAGO  

Bwe yabuuziddwa ky’akola okweyimirizaawo ne famire ye yazzeemu nti, ‘‘nnina omwami, Emma Banks Egulwa andabirira n’okukola ku byetaago byange ate ndi mukyala mulimi nnina ffaamu e Ddundu okumpi n’e Nakasajja ku lw’e Gayaza.  

Nafunye n’ekifo e Ntinda era omwezi ogujja hhenda kuggulawo edduuka gaggadde (supermarket) ng’emu ku bizinensi zange.

  rown ne mukyala we nabo baayingidde ekibiina JB Brown ne mukyala we nabo baayingidde ekibiina.

 

 OBULAMU BWE MU KUYIMBA  

Agamba kuva buto ng’ayimba kyokka okwa ssente yakutandika mu 2000. Yasooka kuyimba n’omugenzi Irene Nakitto. Oluvannyuma yeegatta ku Golden Production omwali: Silver Kyagulanyi, Chris Wajaddi n’abalala.  

Mu 2002 yakola bandi n’agituuma ‘Princess bandi’ nga mu¬limu abayimbi okuli: Sylivia Namugenyi, Spark Ssebabi, Frank Nkubi, omugenzi Nantabaazi n’abalala.  

Mu 2007 nga bandi esasise, yagenda mu maaso n’okuyimba yekka okutuusa kati. Mu kiseera kino yazzeemu oluyimba lwa ‘Abakwabuzi Remix ne Snop’. Alina n’olulala ‘Ndi ku kyokya’.  

Ezimu ku nnyimba ezaamutunda kuliko: Kibaluma, Nazza gwa ki, Noonya mw’abo, Abasajja abakwabuzi, Omulenzi wange naawe, Jeniffer, Kangunywe, Onkyayidde Mu maanyi, Njagala akwagala n’endala.  

AKOZE EKIBIINA KY’ABATAMIIVU  

Queen Florence agamba nti ekimu ku bimuwa essanyu kwe kunywa bbiya n’okudigida era wano we yasinziira okukola ekibiina ky’abadigize ng’abasingamu batamiivu abasula mu bbaala z’omu Kampala n’ebitundu ebiriraanyewo nga batiguka n’okuziggala.  

Mu kusooka twasisinkananga mu bbaala buli muntu ng’agenzeeyo ku lulwe okutuusa lwe naleeta ekirowoozo ky’okwegatta tusanyukire wamu bwe tutyo ne tukola ‘Team No Stress New Style’ bayite ab’enkuba empya.

 hoebe assolo ueen lorence aridah dausi nga bazina ne addox aali ku uto pa e unyonyo Phoebe Nassolo, Queen Florence, Faridah Ndausi nga bazina ne Maddox. Baali ku Auto Spa e Munyonyo.

 

 

ABALALA ABALI MU KIBIINA  

Mu kibiina kino mulimu bassereebu abalala okuli: Grace Ssekamatte, Faridah Ndawusi, omugagga J. Brown ne mukyala we Cathy, Prossy Mangereza ne bba Ronny, Ssenga Kulanama, Yudaya Nalukwago, Ruth Namayirira, Busy Kid, Niffa Selector, Maggie, Charles, Richard, Harima, Yvoni, Jackie n’abalala.  

Ono yawagiddwa Ssekamatte eyagambye nti “ Obulamu bwa kiseera ate mu nsi olondamu bulonzi ky’oyagala”.  

Wabula Queen Florence agamba nti ng’oggyeeko abantu okubalabira mu kifaananyi ky’abatamiivu n’okudigida, mu kibiina kino bagasseeko okukola ebintu ebirala ebibazimba okulaba nga bammemba baganyulwamu.  

EKIBIINA KIWOLA SSENTE  

Gye buvuddeko twatandikawo enkola ya SACCO (okutereka n’okwewola ssente), tweyamba mu bizibu n’essanyu. Okugeza ssinga mmemba afiirwa oba abeera n’omukolo ogw’essanyu ng’embaga.  

Wano we yasinzidde okugamba nti okuba mmemba ng’ekimu ku bisaanyizo olina okuba ng’olinawo ku ssente yadde nga toli mugagga.  

Bbaala ze batera okunyweramu kuliko: Auto Spa Munyonyo, Mangere (Salama Road), Fif’s e Makindye, Obligato n’olumu bagendako mu Guvnor.

AKOOYE ABAKWABUZI

Okufaananako abakazi abalala, Queen Florence agamba akooye eby’okumukwabula kati ayagala bufumbo.

Wiiki ewedde yeewuunyisizza abantu bwe yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook’ nga yeebaza omwagalwa we Emma Bank’s Egulwa okukyala ewa ssenga we e Sseguku okutuukiriza ogumu ku mitendera gy’okufuna obufumbo era agamba okwanjula kwa November omwaka guno.

Aboogera boogere naye nze tebasobola kunzigya ku mulamwa. Nze n’omwagalwa wange twetegeera era tumaze ebbanga nga twagalana kati omukwano gwaffe njagala tugutwale ku ddaala eddala era musuubiza okumuzaalira abalongo.  

 motoka yekika kya arrier gye baawadde ueen lorence Mmotoka y’ekika kya Harrier gye baawadde Queen Florence.

 

OMUSAJJA WANGE MUMUVEEKO

Alina abaana basatu nga bonna balenzi kyokka tekuli wa Egulwa. Wabula yagaanyi okulaga ekifaananyi ky’omusajja we ng’agamba okumuteeka mu mawulire kigenda kumumalako emirembe.

Okwawukanako n’abasajja abalala abalinda okwanjula oba embaga okugabira abaagalwa baabwe ebirabo, Queen Florence omusajja we yamuwedde mmo¬toka ekika kya Harrier nnamba UAU 425F mw’aliira obulamu.

NANGE MPISE MU TTANUULU

Queen Florence agamba nti naye azze ayita mu bizibu omuli n’okusibwa mu kkomera. Bwe baamuyoola mu kikwekweto e Malaysia mu January 2014, abawagizi be baalowooza nti y’enkomerero y’obulamu bwe.  

Wabula agamba nti ye teyatya nnyo kubanga guno omulundi gwali gwakusatu nga bamusiba mu nsi ez’enjawulo. Baasooka kumusibira Kenya, Uganda n’e Malaysia. Wabula  eno kyampitirirako olw’ebbanga eddene lye namalayo.  

Yadde abantu abamu bagamba nti e Malaysia bankwatira mu kikwekweto ky’abakazi abeetunda, si kituufu bankwata lwa butaba na biwandiiko binzikiriza kubeera mu ggwanga eryo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda