TOP

Carol Nantongo owa Golden Band yeeruse nga mukeeka okutuuka w’ali

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2016

Nze nakula mmanyi ennaku yange. kitaffe yali alina ssente naye nga tatufaako. Nze, maama ne baganda bange babiri twasulanga wa mukwano gwa maama eyatuuka ekiseera n’atukoowa olwo ne tutandika okusula ewa muganda wa maama omuto.

Carol1 703x422

Carol

omuyimbi omupya Carol Nantongo (20) ayimbira mu Golden Band atandise okujja ku maapu bw’ayimbye ne Hilderman oluyimba lwa Nakusiima n’ontuuka olukutte cabantu omubabiro. Nantongo azaalibwa omwami Mugerwa John n’omukyala Rose Namagembe abatuuze b’e Namugongo-Kyaliwajjala.

 

Wano ng’ali ne nnyina

Ronald Mugenyi yayogedde naye n’amubuulira gyenvudde we bwati; Eby’okusoma wabikomya wa? Okusoma nakutandikira ku Sunset primary school e Mityana gye nava ne nzira ku Kireka Grammar primary school olwo ne nzira ku Kira SSS okuva ku S1 okutuuka mu S5 fiizi ne zibula.

Wayingira otya okuyimba? Okuva mu buto nga njagala nnyo okuyimba n’okuzina. Nayimbirako ne mu kkwaaya ya Klezia y’e Namugongo wabula namalayo akaseera katono ne ntandika okuyimba ennyimba z’ensi.

Wadde nalina akayimba aka “Mukama nzize”, nali nfunyeewo obusente obutonotono kwe kuddamu ne ntuukirira maama ne musaba anyongereze ku busente buno nsobole okuddayo okusoma kye yakola olwo ne ntandika okusoma ku YMCA nga nsomerera kukola nviiri naye nga mu biseera byange eby’eddembe natuulanga mu kati ne nnyimba.

Wano we nafunira mukwano gwange Annet eyali amanyi Mesach Semakula owa Golden Band bwatyo n’antwala n’anyanjulayo era nabasanga ku Bat Valley. Mesach yansaba okubayimbiramu oluyimba lwonna nange ne mbayimbira akayimba k’eddiini aka “Katonda yeebale yeebale nnyo nja kumwebazanga emirembe gyonna……”.

Baasiima eddoboozi lyange era ne bansaba okubeegattako. Nayiiya mangu oluyimba ku sipiidi lwa bayita “Nsika” nga luno KT yalugula emitwalo 80 ezanjozaako ennaku okugula ku ngoye n’engatto.

Olwo ensasula yali etya? Ebya ssente si byenaliko kubanga nali nfa kutumbula kitone kyange eky’okuyimba. Olumu natambuzanga bigere okuva ku Calendar e Makindye okudda ewaffe e Namugongo nga tuva okwegezaamu era nga sibasaba wadde ekikumi naye nga nali musanyufu mu mutima.

 

Obulamu bwo obw’obuto bwali butya? Nze nakula mmanyi ennaku yange. kitaffe yali alina ssente naye nga tatufaako. Nze, maama ne baganda bange babiri twasulanga wa mukwano gwa maama eyatuuka ekiseera n’atukoowa olwo ne tutandika okusula ewa muganda wa maama omuto.

Wano nnyaffe we yavanga okugenda okwolezanga abantu engoye n’okubalimirako mu mpya okulaba nga tusoma ssaako n’okufuna ekyokulya. Nze naweza emyaka 10 nga sirabanga ku TV ,bwe naweza emyaka 12 ne ntandika okuzirabiranga mu baliraanwa ate ekitabo ekimu twakisalangamu emirundi 2 okusobola okuweza ebitabo.

Oyimiridde otya ku nsonga z’omukwano mpulira olinayo abavubuka Jeff ne Flatiron abaali bakukaayanira? Oyo Flatiron nasoma naye pulayimale ku Sunset era nga mmuwa ne ku lumonde omwokye maama gwe yatusibiriranga naye sibeerangako naye mu nsonga za mukwano ate Jeff naliko naye, naye byaggwa nga kati nnina omuvubuka gwe sijja kwatuukiriza linnya.

Ono muyimbi Munnayuganda naye ng’ali Bungereza. Twefunira ku mukutu gwa Yintaneti mu April wa 2015 ne mmulabako mu December mu biseera bya ssekukkulu. Namusiima era ne mmukkiriza kubanga muntumulamu ate mwesigwa ebyo ebya Flatiron ne Jeff sibimanyi.

Mpulira nti abasajja ba Golden band bakwana nnyo kati ggwe obawona otya? Hooooo, munnange nze nneebaza Katonda kubanga bwe nali nnaakatuuka mu Golden Band maneja Musa Kavuma yabatiisatiisa n’abalabula obutammanyiira nti nze ndi muwala we, okuva olwo ne batandika okuntya.

Mu kuzannya ennyimba zo ku leediyo ne ku ttivvi abaweerezaako tebamala kukusaba mukwano? Ekyo buli muyimbi omuwala akiwaako obujulizi kubanga bazze babikola nnyo naye nze nabasalira amagezi omulundi ogusooka bwe nkulaba ng’otandiikiriza, ntandika okukweyisa taata, kojja oba baaba mu ngeri ekwegobako era nze awo we mponedde.

Mulimu ki omulala gw’okola mw’oggya ssente ezikubeezaawo? Ndi musomesa w’ebyenviiri ku ssomero lya UYDEL e Wandegeya.

 antongo ku mmotoka ye Nantongo ku mmotoka ye.

 

Buzibu ki bw’osinze okusanga mu kuyimba? Ekisookera ddala be basajja abatulaba ku TV n’abo abaagala okutuyamba mu kutumbula ennyimba zaffe ate ne batukwana. Ekirala okuva lwe natandika okuyimba sikyasobola kugenda mu Owino kwegulira ku kagoye akalungi anti buli akulaba akuyita, abalala batulangira obwavu naye nga naffe tulinga abantu abaabulijjo tetulina ssente.

Mu kuyimba kiki ky’ofunyeemu? Kirabika Mukama atandise okunnazaako ennaku gye nayitamu mu buto. Nsobodde okugulayo akayumba e Namugongo -Kyaliwajjala, akamotoka ssaako n’okufuna emikwano egy’enjawulo mu nsi nga ne maama wange bw’aba ayagala 50,000/- nsobola okugimuweereza.

Bantu ki abakukwatiddeko ennyo mu kuyimba b’otoyinza kwerabira? Njagala okwebaza omukulu KT Promotions Musa Kavuma okunteekamu ssente ng’ono ye yagula n’oluyimba lwange olwa Nsika 800,000/-, ne nzizaako abakulu ba Golden Band ne nsembyayo omuwandiisi w’ennyimba zange Judas Ssenkalu ate era nga ye maneja wange. Nnyimba ki endala z’olina? Zikyali ntono naye z’amaanyi kuliko Nakusiima N’ontuuka lwe nayimbye ne Hilderman.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta