TOP

Desire ku kitone agasseeko magineeti esika abasajja

By Martin Ndijjo

Added 22nd May 2016

NG’OGGYEEKO okwewaana bw’alina ekitone, omuyimbi Desire Luzinda agambye nti Mukama yamuweesa ebiri kuba alimu ne magineeti esika abasajja buli omu n’amuyaayaanira okumukwatako.

Straight1 703x422

NG’OGGYEEKO okwewaana bw’alina ekitone, omuyimbi Desire Luzinda agambye nti Mukama yamuweesa ebiri kuba alimu ne magineeti esika abasajja buli omu n’amuyaayaanira okumukwatako.

Desire olwayingeddewo, abasajja okwabadde n’abo abazze n’abaagalwa baabwe ne batandika okumweyunira, abamu nga bamusaba kumugwako mu kifuba, abalala kumubuuzaako, okumukwatako ku mubiri oba okwekubya naye ebifaananyi.

Embeera eno yatabudde Roger Mugisha, eyabadde omu ku ba MC nga y’omu ku baasoose okumugwa mu kifuba, okubuuza ku muzindaalo nti, “Tulina abakazi bangi mu kizimbe naye lwaki abasajja mwenna muyiikira Desire.

Kiki ky’alina ky’asinza abalala?” Desire yakutte akazindaalo n’amuddamu nti “Oba omanyi bya kitone byokka, nnina ne magineeti esika abasajja,” olwo enduulu n’evuga.

Bano baabadde ku kabaga akaategekeddwa Kennedy Zziwa amanyiddwa olw’okuyooyoota basereebu mu Kampala bwe yabadde aggulawo mu butongole ekifo kye ‘Hairby Zziwa’ e Kamwokya ku Kisementi ku Lwokutaano ekiro kwe yabagabulidde.

Desire bwe yasoomoozezza abakazi abaabaddewo oba waliwo omusinga ekitone ne wavaayo amugamba nti naye ekitone akyewulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye