TOP

Atalina mulimu eby’okukwana byesonyiwe

By Musa Ssemwanga

Added 22nd May 2016

GGWE ateekateeka okukwanira ku malusu, by’oliko bifu. Vidiyo y’oluyimba ‘Mulimu ki’ yiino egobye abasajja abatavaako ssente ku bya laavu. Oluyimba luno lwayimbiddwa Nutty Neithan ne Mary Bata.

Folow1 703x422

Neithan ne Mary Bata (ku kkono) nga bazina mu vidiyo y’oluyimba ‘Mulimu ki.’ Ku ddyo ze zimu ku mbooko eziri mu vidiyo eno.

GGWE ateekateeka okukwanira ku malusu, by’oliko bifu. Vidiyo y’oluyimba ‘Mulimu ki’ yiino egobye abasajja abatavaako ssente ku bya laavu. Oluyimba luno lwayimbiddwa Nutty Neithan ne Mary Bata.

Kyokka bwe baabadde bakwata vidiyo eno, baakubye abalabi ebitole bya laavu ekyawalirizza abaabadde bagikwata okukkaanya basalemu ebimu ku bitundu bye baakutte.

Nutty Neithan nga ye yakuyimbira 'Bakuwe ky’onywa' obwedda alina engeri gy'ayisa amagulu n’agateeka mu mitayimbwa olwo n’ataayiza Mary Bata nga kw’atadde n'okukola ebintu ebirala obwedda ebikubya abalabi enduulu.

Oluyimba luno lukwata ku muvubuka eyasanga omuwala mu bbaala n’amukwana wabula omuwala n'amweragirako nga bw’amubuuza oba alina ssente.

Omuvubuka ono naye abuuza omuwala ky'alina ekyamaanyi ekisikiriza okumussaamu ssente ze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi