TOP

Ebibala abayimbi bye bayoola mu kuganza abakazi abagagga

By Musasi wa Bukedde

Added 28th May 2016

ABAYIMBI be bamu ku bantu abamanyiddwa okuganza abakazi ababasinza emyaka bayite ‘‘Suga mammi’’ olwa ssente.

Kazi1 703x422

Dr. Propa ne mukyala we Patricia nga bali mu mukwano. Wakati, Big Eye nga bakyali mu laavu ne Sheila Patience. Ate ku ddyo, Ssemawere n’Omukadde gwe yagattibwa naye.

Bya Musasi waffe

ABAYIMBI be bamu ku bantu abamanyiddwa okuganza abakazi ababasinza emyaka bayite ‘‘Suga mammi’’ olwa ssente. 

Kino bakikola olw’okwagala okwanguyirwa obulamu obwa bulijjo n’obw’okuyimba engeri gye kwetaaga ssente ennyingi era abayimbi abasinga bafuna bankubakyeyo n’Abazungu ababateekamu ssente n’okubawa entandikwa.

Abamu babasanga ku byeyo gye baba bagenze okukubira emiziki ne babalaga ssente ezibatengula emitima ate abalala okubakolera ku bizibu byabwe eby’amangu. Waliwo n’abakazi ababaganza olw’okuba bassereebu era batera kubasanga mu bivvulu gye babakubira obwama.

Olw’okuba abayimbi bagenda okuganza abakazi bano nga balina abakyala oba abaagalwa baabwe kuno, basalawo okubeera nabo mu mukwano ogw’ekyama. Babasisinkana bagenze ku kyeyo okuyimba oba nga bazze kuno mu luwummula wabula abalala laavu yaabwe basalawo okugitwala ku ddaala eddala ne babatongoza nga bakyala baabwe.

 r ropa ne atricia ku mmotoka yaabwe eyekika kya Dr. Propa ne Patricia ku mmotoka yaabwe ey’ekika kya BMW.

 

DOROTIA YANKWATA KU MUKONO

Ng’oggyeeko Jose Chameleone atera okusiima Dorotia (maama wa muwala we omukulu, Ayla Mayanja) gw’agamba nti yamuwa entandikwa ya maanyi, abayimbi abalala abayise mu mbeera yeemu tebaagala kubyogerako n’okulaga abakazi ababakutte ku mukono.

Chameleone ne Dorotia baasisinkana Kenya mu gye 90. Olw’okuba yali amulabyeko e Uganda ng’ate Dorotia ali mu mbeera nnungi, yakwatibwako embeera Chamilli gye yalimu n’amusimba ‘Omutwalo gwa doola’ yeetereeze.

Yazitwala mu situdiyo n’akola oluyimba lwa ‘maama miya’ era enkolagana eno yavaamu laavu ne bazaala n’omwana. Oluvannyuma baayawukana nga kati alina Daniel Atim.

Abayimbi abayimiriddewo ku ssente z’abakyala

l Dr. Propa.

Ono ye yayimba ‘Omwana w’omwavu’. Ayogerwako ng’omu ku bayimbi abafunye n’okuyimirirawo ku ssente z’abakazi ze bamuteekamu.

 alina r ropa ne atricia gye bazimba e sangi Kalina Dr. Propa ne Patricia gye bazimba e Nsangi.

 

Okumanya ekintu kino akifunyemu, kati avuga mmotoka za bbeeyi zokka okuli: BMW, Range Rover, Land Cruiser ssaako okusula mu maka ag’omulembe e Kajjansi era bw’omusanga nga tomumanyi toyinza butamwesiiimisa olw’obulamu bw’alimu ne ssente okumukeera.

Dr. Propa nga tannaba kwagalana ne Patricia (mukazi we kati), yasooka kubeera ne muwala w’omugagga Godfrey Kirumira (omugenzi Angela Sanyu Kirumira) gwe yazaalamu abaana babiri.

Propa asisinkana Patricia

Dr. Propa agamba nti mu 2007, yali agenze okuyimba mu Austria ne zireeta omukazi eyali anyumiddwa emiziki gye n’amufuuwa Euro 100 (eza Uganda 378,217/-).

‘‘Katono nfe essanyu era olwava ku siteegi ne munoonya okumwebaza. Twawanyisiganya nnamba z’essimu era eno ye yali entandikwa y’omukwano gwaffe.

 r ropa ngali ku mmotoka yaabwe eyekika kya ange over Dr. Propa ng’ali ku mmotoka yaabwe ey’ekika kya Range Rover.

 

Mu kusooka saalina kirowoozo kya kubeera naye mu bya laavu engeri gye nalina omukyala ate nga ndowooza nti ne Patricia mufumbo.

Wabula bwe nazuula ekituufu ng’ate n’ebyange eno byali bibanja, kwe kuyingirawo ne tutandika omukwano gw’ewala nga Patricia abeera bweru. Bwe yakomawo nneeyongera okumwetegereza ne nkizuula nti muntumulamu gwe nsobola okubeera naye era n’abaana tuzadde.

Abagamba nti Propa yeeyagalira mu mmali ya mukazi bakiggya ku bbanga lye bamulabidde ng’ali mu mbeera y’okweyiiya, addiridde mu by’okuyimba nga talina bivvulu bivaamu ssente n’eky’amateeka Patricia ge yamuteekako gye buvuddeko n’atuuka n’okumugobako mikwano gye ng’era bw’okuba ssimu ya Propa, Patricia yagikwata, tamuwa gaapu, y’amulagira eby’okukola era kati yaakolanga maneja we ekireetedde n’abamu okuyita Patricia ‘‘Suga mmami’.

 r ropa ne mukyala we atricia nga bali mu mukwano Dr. Propa ne mukyala we Patricia nga bali mu mukwano.



Eby’obugagga byabwe

Bano balina amaka g’ekikungu e Kajjansi agali ku yiika bbiri, ennyumba z’abapangisa e Kanyanya n’e Kajjansi n’endala gye bazimba e Nsangi. Balina ebbaala e Lukuli Nanganda, mmotoka ez’ebbeeyi ne ffaamu e Ssingo.

Patricia simwagalako ssente

Dr. Propa agamba aboogeera nti Patricia yamwagalako ssente bamulinako nsaalwa. Kye mulina okumanya nti nze ne Patricia twenkanya emyaka. Buli omu alina 33. Kati omuntu w’emyaka 33 mumuyita mutya Suga mmami?

 maka ga r ropa ne mukyala we atricia agasangibwa e ajjansi Amaka ga Dr. Propa ne mukyala we Patricia agasangibwa e Kajjansi.

 

Eby’obugagga bye mulaba tubiggye mu ntuuyo zaffe ate mmotoka ezo nazigula ku ssente zange tekuli yadde ekikumi kya Patricia.

Abo abatayagala kukola be balina endowooza nti buli afuna ssente ziba za mukazi.

Patrica ayogedde

Okuteeka amateeka ku mwami wange Dr. Propa sikikola lwa kwagala kumufuga wabula muyamba kumutereeza afuuke omusajja eyeegombesa n’okumuggyamu emize.

 r ropa ngakubira abadigize omuziki mu bbaala ye Dr. Propa ng’akubira abadigize omuziki mu bbaala ye.

 

Kye mmanyi Propa musajja mukozi kyokka alina abawala ababadde bamutawaanya. Bwe nali ebweru nnafuna okunyigirizibwa olw’ebintu bye yali akola ng’okuganza abakazi n’okutamiira ng’akozesa ebiragala.

Mu 2015 nakomawo ne mmala ekiseera kitono ne nzirayo kyokka hhenda okudda mu 2016 ng’ayongedde okwonooneka nga n’eby’okuyimba abivuddeko ne mutuuza ne mubuulirira n’okumulaga obuzibu abaana baffe bwe bayinza okufuna nga yeeyisa atyo. Kati yatereera era taata w’abaana mulungi.

Dr. Propa y’ani

  • Amannya ge amatuufu ye JohnHoll Arinaibye. Agamba tamanyi bazadde be kubanga nnyina yafa ng’amuzaala mu ddwaaliro e Kitovu ate ne taata we tamumanyi.
  • Aloysius Ssozi ne Venerander Nabukeera be baamukuza era baasooka kubeera Mutete e Ssembabule.
  • Baamusomesa okutuuka mu P7 oluvannyuma ne bamukwasa Sam Ssebagereka ne mukyala we Kako Victoria ab’e Kayunga abaali babeera e Kololo.
  • Baamusomesa okuva mu SI ku Kyambogo College okutuuka mu S4. Wano we yakoma n’atandika eby’okuyimba. Yasulako e Lukuli Nanganda mu 2003 gye yava n’agenda e Rwanda.
  • Yamanyika mu 2007 ng’ayimbye “Omwana w’omwavu ne Oba ogenda genda’. Kuno kwagasse ‘Omusama w’e Kampala’ nga kati ayimbira mu kibiina kya ‘Team no strees’.

Ssemawere n’Omukadde gwe yagattibwa naye.

l Guvnor Ace

Ye Ronald Ssemawere ng’ali mu kibiina kya Leone Island ekya Chameleone. Mu August 2015, yeewuunyisa abantu bwe yagattibwa ne nnamukadde, Jonnson Ann Lisa 75, enzaalwa ye Sweden.

Yadde yavaayo n’ategeeza nga bwamwagala, bangi baakiwakanya nga bagamba nti amunoonyako ssente na butuuze bw’e Sweden. Gye buvuddeko baagenda e Sweden ate oluvannyuma ne baawukana ng’afunye omuwala omuto.

l Axess Kayemba

Ono ye Shafiki Kayemba naye yali muyimbi mu Leone Island nga kati abeera Thailand gye yafuna omukazi amuteekamu ssente. Agamba nti omukazi ono yamuwonya ennaku y’e Kampala.

l Big Eye ne Sheila Patience

Yadde bano baayawukanye nga Big Eye alumiriza Sheila okumuteekako amateeka n’okumulemesa okuyimba, emabega babadde mu mukwano n’amuzaalamu n’omwana.

 ig ye nga bakyali mu laavu ne heila atience Big Eye nga bakyali mu laavu ne Sheila Patience.

 

Olw’okuba Sheila alina ssente nnyingi okusinga Big Eye nga y’abadde amusuza n’okumusuza e Buziga, kigambibwa y’abadde amuteekamu ssente z’okuyimba.

Wabula Big Eye bino abiwakanyizza ng’agamba nti kituufu Sheila alina ssente naye mukodo ekisusse kubanga n’ezikola myuziki n’ebirala y’abadde azeenoonyeza.

l Haruna Mubiru

Yadde kati alina ssente n’eby’obugagga ebiwerako, y’omu ku baagadde abakazi olwa ssente.

Yamala emyaka 4 mu mukwano ne Faridah Nantongo nga kigambibwa ye yali amuteekamu ssente.

Faridah yagenda ku kyeyo n’afunirayo omusajja Omuzungu. Naye yagenda okudda nga Kitooke ayingizzaawo Raudah Ssonko mu 2009.

Ate mu August 2014, Faridah yaddamu okulabikako ng’apepeya n’omuyimbi King Micheal.

  amba nmuzungu eyali amuteekamu kaasi GNL Zamba n’Omuzungu eyali amuteekamu kaasi.

 

l GNL Zamba

Ono abaddeko mu mukwano n’abakyala abawerako nga kigambibwa be bamuteekamu ssente.

Okuviira ddala mu 2010, nkubakyeyo, Becky Emons Mirembe bwe yamusibisa, ensonga baaziyingizaamu laavu nti ssente GNL ze yalya ku Becky ze zaali zibatabudde.

Yafuna omulala, Ruth Gilian naye ne batabuka nga kati alina Omumerika Tamar Michal eyamutwala.

l Ronny Sitamina

Ono yali muzinyi wa Eddy Kenzo. Y’omu ku batambulira mu bulamu bw’okwagala abakazi abalina ssente.

Emabegako yali abeera Dubai ne Rhona kyokka agavaayo galaga nti ono yayawukana naye ng’alina mulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...