TOP

Mmange yayagala nnyo mbuulire enjiri ne bigaana - Victor Kamenyo

By Musasi wa Bukedde

Added 28th May 2016

Victor Kamenyo, 21 ng’amannya ge amatuufu ye Derrick Katongole mutabani w'omusumba Rossette Mirembe n'omugenzi Kayizzi Mesach abatuuze b'e Mityana Kikumbi wabula nga Kamenyo yakulira Kawaala mu ggombolola y’e Lubaga.

Menya1 703x422

Kamenyo (mu katono) ng’ali ne nnyina.

Victor Kamenyo, 21 ng’amannya ge amatuufu ye Derrick Katongole mutabani w'omusumba Rossette Mirembe n'omugenzi Kayizzi Mesach abatuuze b'e Mityana Kikumbi wabula nga Kamenyo yakulira Kawaala mu ggombolola y’e Lubaga.

Ono kati y'omu ku bayimbi abazze batutumuka mu kuyimba mu myaka esatu egiyise era kati kumpi buli kivvulu abeerako.

Kamenyo ayatiikiridde nnyo oluvannyuma lw’okuyimba oluyimba "Sirina malala" lwe yatongoza ku lunaku lwe lumu ne munne Gravity omutujju bwe batalima kambugu lwe yali atongoza oluyimba lwe "Omooto" kyokka ng’ababiri bano baasomera wamu, mu kibiina kimu ne batandiikiriza okuyimba nga bakyali mu S4 ku Old Kampala SSS.

Okusoma kwa Kamenyo

Yatandikira ku Hope Nursery School e Kawaala n’adda ku Kawaala Primary School gye yava okudda ku Old Kampala SS, okuva ku S1 okutuuka ku S5 gye yagobwa ng'emiziki gimusingidde ebitabo olwo S6 naagituulira ku St. Peters e Nsambya. Bwe yamala yagenda ku LDC okusoma amateeka kyokka ng'eno yamalayo emyaka 3 era ne bigaana ng'okuyimba kumusingira embaga etanyumye.

Oyingira otya ekisaawe ky'okuyimba?

"Nze abantu bangi beewuunya nnyo okuwulira nti nnyingidde ekisaawe ky'okuyimba ne nsuulawo akapiira ke nnali mannyi ennyo. Bwe nalemwa okusoma amateeka e Makerere kwe kusalawo okutandikira ddala okuyimba yadde nga nnali natandikako dda mu S.3.

Nasooka kutuukirira Aziz Azion nga mmaze okuyiiya akayimba kange aka Sirina Malala nga buli kivvulu ky’agenda okuyimbako nange ssimuva ku lusegere era wano we nafuniranga akakisa akalinnyako ku siteegi.

Oluvannyuma lw'oluyimba lwange okukwata akati nafuna akasimu okuva mu South Afrika mu kibiina kya MZANZI nga bansaba okubeegattako mu kibiina kyabwe mu ttabi eryo’mu Uganda.

Nasanyuka nnyo era olunaku olwaddako na ηηenda ne nteeka omukono ku kontulakiti"

Mukadde wo yawulira atya bwe yawulira nti oyingidde okuyimba n’ova mu kusoma?

Nze mange Musumba mulamba ng’alina n'Ekkanisa gy’atwala.

Yawulira bubi nnyo ng'omuzadde ayagaliza omwana we ekirungi. Yasooka n’anyiigira akabanga akawerako ng'alowooza nti okuyimba biba bya bayaaye wabula kyamubuukako bwe nali ntongoza oluyimba lwange Sirina Malala ku Muganzirwazza bwe yalaba omuntu omuyitirivu mu kivvulu nga mulimu abantu ab'obuvunaanyizibwa okuva mu ofi isi ez'enjawulo olwo naakakasa nti abayimbi tebaba bayaaye.

ictor amenyo ngali mu maaso gemmotoka ye Victor Kamenyo ng’ali mu maaso g’emmotoka ye.

 

Yalinnya ku siteegi n’ansabira essaala okwongera okututumuka mu kuyimba.

Olutalo lwo ne Gravity lwava ku ki ate nga mwakolagananga bulungi emabega nga mukyali mu ssomero?

Omuntu bw’afuna ku ssente akyuka, Gravity twasoma ffembi ku Old Kampala era mu kibiina kimu.

Twasambanga ffembi omupiira mu ttiimu y'essomero wano we twava ne tutandika okuyimba ffembi nga tukyali mu S3 era twesuubizanga obuteerekerera ffembi mu kuyimba.

Lumu twaddukako ku ssomero ne tugenda tuyimbe ku National Theatre ne batugoba okumala wiiki bbiri wabula Gravity bwe yansooka okututumuka nze naneerabira nga takyandabawo.

Namusaba tuyimbeyo akayimba ffembi ke twali twayiiya edda mu ssomero nange nveeyo kyokka nga byonna nsiwa nsaano ku mazzi. Nange natandika okwerwanako okutuuka bwe navaayo.

Buzibu ki bw’osanze mu kisaawe ky'okuyimba?

Obutaagaliza busukkiridde ate nga ne ssente zikyali ntono mu kuyimba naye bo bannaffe omuli n'abooluganda bwe bakusaba ku ssente n'obagamba nti tolina nga banyiiga.

Ye bannange nga ssikulabangako na muwala yenna, oyimiridde otya mu nsonga ezo?

Nkoze ekisoboka kyonna okulaba nga nneekuuma nsobole okufuna omuwala omutuufu wadde nga babadde banneekwanira naye omwaka guno nga Mukama ye Musumba wange ninayo agenda okunnyanjula singa enteekateeka zange ziba ziyiseemu bulungi.

Kati olina ennyimba mekka?

Nnina ennyimba 12 wabula Sirina Malala, olukiiko ne baveeko lwe nayimba ne David Lutalo ze zikyasinze okukwata abantu omubabiro.

Bizinensi ki endala z’olina mw’oggya ssente ezikubeezaawo ng'oggyeko okuyimba?

Ndi musajja mulimi wa ntangawuzi n'okulunda embuzi eziwerera ddala 30 ewaffe e Mityana.

Biki by’ofunye mu kuyimba?

Nfunyeemu emikwano, nguzeemu akamotoka, nagulayo n'ettaka 50 ku 100 e Nansana Ganda era nteekateeka kuzimba.

Kizibu ki kyokyasinze okusanga mu bawagizi bo?

Be bakyala abakulu abankwana nga waliwo n'omusuubuzi omu mu Kampala ow'amaanyi eyansaba okumuzaalamu obuzaazi omwana ye amwerabirire, ekintu kye sisobola kukola kubanga eddiini yange ekivumirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...