TOP

Sheila bamugambye okuyimba ennyimba za Big Eye eyali muganzi we n'alya obuwuka!

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2016

Eyali muganzi wa Big Eye bamusabye okuyimba akayimba k’eyali bba n’atabuka.

Yimba1 703x422

Sheila (ku ddyo) ng’akyayomba.

Eyali muganzi wa Big Eye bamusabye okuyimba akayimba k’eyali bba n’atabuka.

Sheila Patience Don Zella yakasuse akazindaalo ke baabadde bamukwasizza nga bw’ayomba okumugamba ayimbe ennyimba za Big Eye mu bbaala ya Ambiance e Bukesa mu ndongo y’omuyimbi Ziza Bafana mu kiro ekyatuumiddwa Re-plugged ekibeerawo buli Lwakuna olusemba mu mwezi.

Bafana yalinnye ku siteegi ku ssaawa nga 6.00 ez’ekiro n’atandika okukuba abantu omuziki wabula bwe yatuuse ku kayimba ke akayitibwa Friendly Match lwe yayimba ne Zanie Brown n’akwasa Sheila akazindaalo bayimbe bonna.

 bamu ku badigize abaabaddeyo Abamu ku badigize abaabaddeyo.

 

Sheila yagaaanyi ng’agamba nti ebigambo ebiri mu luyimba tabimanyi olwo Bafana kwe kumusaba waakiri ayimbemu eza Big Eye kubanga engeri gye baalwawo nga bali bonna zo alabika azimanyi bulungi olwo enduulu n’etta abantu.

Kino kyatabudde Sheila n’atandika okuyombesa Bafana nti amuggye mu biboozi bye akole ekyamusasuzza okuyimbira abantu.

Yagambye nti tasobola kuyimba nnyimba za muntu bwe bali akabwa n’engo nga yagaana n’okulabirira abaana be yamuzaalamu. Yeecanze n’asooka okufuluma mu bbaala kyokka oluvannyuma yakomyewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...