TOP

Onoosanyukira wa ku lunaku lw’Abajulizi?

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2016

NG’OGGYEEKO okusaba e Namugongo, abantu abamu olunaku lw’Abajulizi baasazeewo okulujaguza mu sitayiro. Abantu abamu leero baakusula mu ngatto nga babinuka mu bikujjuko ebitegekeddwa mu bifo eby’enjawulo.

Para 703x422

Namatovu ne Lutaaya.

NG’OGGYEEKO okusaba e Namugongo, abantu abamu olunaku lw’Abajulizi baasazeewo okulujaguza mu sitayiro. Abantu abamu leero baakusula mu ngatto nga babinuka mu bikujjuko ebitegekeddwa mu bifo eby’enjawulo.

SATELLITE BEACH E MUKONO:

Geoffrey Lutaya ne Irene Namatovu aba Da Nu Eagles be baliyo n’ekivvulu ‘Ekijjulo kya Martyrs day’. Beegattiddwaako DJ Shiru owa Bukedde TV.

Yagambye nti ayagala kukakasa abantu nti ku kutabula omuziki asobola n’okuyimba. Abayimbi bwe banaamala okuyimba alyoke asumulule omuziki okutuusa obudde okukya.

 bosa ngali ku siteegi nekyana Bbosa ng’ali ku siteegi n’ekyana.

 

Ebones bali Bwaise :

Bannakatemba ba Ebonies ekiro kya leero bali ku Lagrand Hotel e Bwaise gye bagenda okusanyusiriza abawagizi baabwe.

Ku Ssande bali ku Forest Park e Buloba gye bagenda okuntuunkira ne bakazannyirizi ba Akandolindoli ne MC Mariachi, Patriko Mujuuka, Abby Mukiibi, Kapale, Leila Kalanzi, Justine Nantume, Male Musa n’abalala.

Beegattiddwaako abayimbi b’ebitone Desire Luzinda ne Winnie Nwagi.

 allaso ne  imrod Pallaso ne DJ Nimrod.

 

SHIVANS E IGANGA:

Geosteady eyayimba ‘Ndi wa mululu ne Same way’ ali ku Sihivans e Iganga enkya ku Lwomukaaga. Agenda kubakubira ennyimba ze empya n’enkadde.

LIDO BEACH E NTEBE:

Waliyo olunaku lw’abawuulu ku Ssande.

Abadigize bonna balina kwambala byeru ng’era DJ Nimrod yagenda okubeera mu byuma ng’akubira abadigize omuziki.

Abayimbi okuli: Ziza Bafana, Aziz Azion, Gravity Omutujju n’abalala be bagenda okusanyusa abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...