TOP

Kikafuuwe okuddamu okukola ne Ssebbaale -Walukagga

By Martin Ndijjo

Added 11th June 2016

MATTHIAS Walukagga agaanyi okuddamu okukola ne Fred Ssebbaale n’akimusaako nti mutabuzi.

Seka 703x422

Ssebbaale ne Walukagga kati abatalima kambugu

MATTHIAS Walukagga agaanyi okuddamu okukola ne Fred Ssebbaale n’akimusaako nti mutabuzi.

Ssebbaale amwanukudde nti "si nze eyeegomba ennyo okukola ne Walukagga kubanga si yanjiyiiza ennyimba z’ennyimba yadde okundiisa kale obutayimba naye sisalwa".

Okwogera bino kiddiridde, Moses Lubwama eyali maneja wa Vision Hero's (ekibiina kya Walukagga) okumusaba amusonyiwe ne banne Ssebbaale ne William Kibuuka owa Akaalo ka Buganda bwe bamwekutuulako omwaka oguwedde oluvannyuma lw'okufuna naye obuzibu.

Bano mu May wa 2015 oluvannyuma lw'ebivvulu bya lonki ya Walukagga eya 'Basomoka Lwera', baavaayo ne balangirira nga bwe bamwekutuddeko ne bakola ekibiina ekyabwe nga bamulanga kugaana kuyimba ku bivvulu bye baali bateeseteese naye okufuna ssente kyokka nga ku ‘lonki’ ye bagirimu nnyo era beetaba mu nteekateeka n'okuyimba ku bivvulu bino.

Oluvannyuma lw'okugezaako ne bitabatambulira bulungi, Lubwama ng'ayita mu lukiiko olutwala abayimbi ba kadongo kamu yasabye Walukagga abasonyiwe baddemu bakolere wamu kubanga ebivvulu bye babadde bakola bibadde bisala busazi era bimusudde mu mabanja n'ebizibu ebirala omuli n’okumusiba ne ku poliiisi e Masaka.

"Okukola n'omubi omunafu waakiri okola n'omubi ow’amaanyi y'ensonga lwaki nsaba Walukagga ansonyiwe tuddemu tukole.

Abayimbi be nagenda nabo abamu mu lunaku lumu baali bamaze okukyuka ate abalala tufunye obuzibu nga tebayimba.

Ssebbaale bw’omukubira essimu akugamba alina emirimu egimukutte kale okutwaliza awamu bibadde tebitambula bulungi’’ Lubwama bw’annyonyola Wabula Walukagga bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti olw'okuba Lubwama gwe mulundi ogusoose okumwecangirako amusonyiye nti kyokka Ssebbaale ne Kibuuka tasobola kubasonyiwa.

"Bwe mulaba nga nsonyiye Ssebbaale ne Kibuuka muntwale e Butabika kubanga kijja kuba kitegeeza nnina obuzibu ku mutwe.

Sisobola kuddiramu Ssebbaale kubanga musajja mutabuzi. Nnakakola naye emirundi esatu naye nga talina kyangattako okuggyako okutabula ekibiina n’akireka ng’akiyuzizzaamu kati saagala" Kyokka Ssebbaale naye agambye nti Lubwama kirabika yayagala okuddayo naye ye ng'omuntu tayagala kuddamu kukola na Walukagga olw’empisa ze.

"Waliwo enjawulo wakati wa Ssebbaale ne Lubwama yadde tuli ba muziro gwe gumu. Lubwama bw’aba ye ayagala okuddayo ewa Walukagga agende naye nze sigenda wendi wammala, olowooza nze nsoose okwawukana naye era lwaki bangi bamwawuukanyeko?" Ssebbaale bwe yabuuzizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....