TOP
  • Home
  • Sanyuka ne wikendi
  • Suudiman ayabise n’agoba muka kitaawe mu nnyumba: Asula mu kazigo n’abavubuka 6!!

Suudiman ayabise n’agoba muka kitaawe mu nnyumba: Asula mu kazigo n’abavubuka 6!!

By Martin Ndijjo

Added 11th June 2016

OLULIMI lutonzi! Oluvannyuma lw’emyaka munaana ebigambo n’ebikolimo omuyimbi Henry Tigan bye yagamba Suudiman (eyali pulomoota we) nga batabuse byandiba nga bituukiridde.

Mukazi1 703x422

Ekisenge kya Suudiman mwasula. Mu katono ku ddyo ye nnyina gwe yasuulidde ebintu ebweru

OLULIMI lutonzi! Oluvannyuma lw’emyaka munaana ebigambo n’ebikolimo omuyimbi Henry Tigan bye yagamba Suudiman (eyali pulomoota we) nga batabuse byandiba nga bituukiridde.

Embeera Suudiman gy’ayitamu kati nkambwe emuviiriddeko n’okutabuka ne nnyina n’amugoba mu maka.

Suudiman ng’amannya ge ye Suudi Lukwago, amanyiddwa nga pulomoota w’abayimbi Bannayuganda n’okuleeta kuno ab’ebweru nga: Busy Signal, Shaggy, Konshens, Timaya n’abalala.

Ono ye yateeka Henry Tigan ku ‘maapu’ kyokka mu 2008 baatabuka wakati mu lutalo lw’ebigambo n’atuuka n’okumukubamu oluyimba ‘‘Dr. Matama’.

Yali ne Dr. Hilderman mwe baalumbira Suudiman n’akomekkereza ng’agamba nti amukwasizza Mukama amubonereze.

 uudiman ku ddyo ngoggyeeko okuteeka ssente mu bayimbi abadde pulomoota wa olola nga ye yamuleetera nmumerika ichard braham aakola uudiman olola romotions kyokka olulwana lwe baategeka olwali e unyonyo lwabasala nekyaddirira olola kumuvaako nakola ekikye Suudiman (ku ddyo) ng’oggyeeko okuteeka ssente mu bayimbi, abadde pulomoota wa Golola nga ye yamuleetera n’Omumerika Richard Abraham. Baakola ‘Suudiman Golola Promotions’ kyokka olulwana lwe baategeka olwali e Munyonyo lwabasala n’ekyaddirira Golola kumuvaako n’akola ekikye.

 

Ebimu ku bigambo Tigan byakozesa bigamba nti:

“kyabulijjo mu nsi eno tukolagana olw’obuzibu ne twawukana… naye oli n’akusojjasojja akusuule kumbe yeesuula. Ebirungi bye wamukolera nga muli babiri n’atabijjukira…… eyali owuwo akufuukira engo, eyeefuula akuyamba kati akusamba… weesomanga bwe wannyamba naye ate nange nakuyamba, kkampuni erinnya lye yali erina zaali ntuuyo zange, wayita nga mu mawulire okumpaana naye kati ogasasula kunsuula …..” 


Henry Tigan amusekeredde

Wadde naye alwana kudda ngulu, agamba waakiri Katonda awulidde okukaaba kwe eri Suudiman eyamwefuulira n’amukotoggera.

‘‘Omanyi Mukama talya nguzi era abalaze Suudiman omutuufu gwe nayimbako bw’otunuulira ebigenda mu maaso wakati we ne famire ye. Kirabika ekkubo erimusudde teyaliraba naye akyalina omukisa okudda engulu. Amagezi ge mmuwa alokoke adde eri Katonda kubanga alina ebibi bingi.” Okwogera bwati kiddiridde embeera Suudiman gy’ayitamu.

Yali amanyiddwa okubeera mu bulamu obw’ebbeeyi nga tava mu wooteeri ez’omulembe, okusiiba n’okusula ku nnyonyi ng’akutula ddiiru kati amaze emyaka ebiri nga tasala Ntebe ate bw’otuuka e Ggaba gy’agambibwa okusula toyinza buteebuuza kyamutuukako ekireetedde n’abamu okugamba nti omusajja baamuyoola ettaka.

 aama wa uudi gwe yagobye mu nju ngaliko byannyonnyola Maama wa Suudi gwe yagobye mu nju ng’aliko by’annyonnyola.

 

Suudiman ali mu lutalo ne nnyina

Embeera eno weetuukidde nga Suudiman ali mu lutalo olw’amaanyi ne muka kitaawe, Sandra Nansubuga amulumiriza okumusindiikiriza n’amugoba ku ttaka n’enju bba omugenzi Hajji Abdul Kyambadde (taata wa Suudi) we yamuleka.

“Bannange, Suudi alinga agamba nti nze namwabya. Anfudde nfuuzi, angobye mu nnyumba n’agittikkulako amabaati, kaabuyonjo agimenye n’agattako n’okunkasukira ebintu byange ebweru. Kati empale zange ez’omunda n’obuleega sibirabako....’’.

Ye lwaki mu baana 26 omugenzi be yaleka Suudiman yekka yankijjanya? Alemeddwa okwezimba kati oluweddemu ayagala kuwamba mmaali y’omugenzi.

 zimu ku nnyumba uudi ze yabambuddeko amabaati Ezimu ku nnyumba Suudi ze yabambuddeko amabaati.

 

Ekizibu ne ku poliisi gye nagenda okuli ey’e Nateete n’e Ggaba sifunye kuyambibwa. Nansubuga eyabadde alaajana bwe yagambye oluvannyuma lwa Suudi okumugoba mu maka g’e Mutundwe. Nnamwandu Nansubuga annyonyola nti Hajji Kyambadde yafa mu 2011.

Tajjukira nti Suudiman mu budde obwo yali mu Uganda kubanga ebiseera ebyo yalina ssente nga tayagala kwesembereza nsonga z’awaka nga ne bw’aba azze mu ggwanga obudde bwe obusinga abumala mu wooteeri ez’ebbeeyi.

Kati Suudi ataaliwo kujjanjaba kitaawe nga mulwadde ang’oba atya awaka?

Yangobye e Mutundwe n’ahhamba hhende e Ggaba kyokka eno gyasula. Ekitegeeza wonna ayagalayo. Olwo ffe tukole ki?

 kimu ku bisenge mwe bafumbira Ekimu ku bisenge mwe bafumbira.

 

Suudi ayogedde

Bwe twamukubidde essimu, yasoose kugaana kubaako ky’ayogera ng’agamba ayagala Nansubuga asooke aleete obukakafu n’empapula eziraga nti ettaka ly’akaayaanira baalimuwa. “Mukulu, ebyange si byakumala googera na kusiiga bantu nziro.

Oyo agamba nti mugoba ku ttaka aleete empapula ze tuzirabe.

Ate bw’annyinza nja kwogera ebyama byonna. Oyo maama amanyi gy’alina okubeera era n’ekika kyatuula ne kimubuulira’’.

Ate n’abo baganda bange baakolagana nabo okunsiiga enziro olw’okubagaana okugabana ettaka ly’e Ggaba taata lye yaleka agabidde Obusiraamu okuli n’omuzikiti wamu n’essomero banveeko.

Ettaka lino libalirirwamu akawumbi kamu n’obukadde busatu (1.3) naye ne bwe banaakola batya sisobola kubakkiriza kulitwala. Bino Nansubuga yabiwakanyizza ng’agamba nti Suudiman bino abyogera kwekaza ayagala kutwala ttaka lya banne alitunde ndowooza awone okuswala kwalimu.

 enry igan eyakolimira uudiman mu luyimba Henry Tigan eyakolimira Suudiman mu luyimba.

 

Taata yankwasa obu vunaanyizibwa okulabirira emmaali ye

Bwe yabuuziddwa lwaki ye mwana yekka asika omuguwa ne nnamwandu, yagambye nti wadde sinze omwana omukulu, nnina emyaka 40 ng’era waliyo ab’e 60 kyokka kirabika nze gwe yalabamu omulamwa n’ankwasa n’obuvunaanyizibwa okulabirira emmaali ye mu mannya ga ‘‘Hajji Abdul Kyambadde Foundation’’ era gwe mulamwa gw’endiko okugikulaakulanya n’abazzukulu bagyeyagaliremu.

Okumanya taata yali aneesiga, yandekera ebyapa by’ettaka 14 mu Kampala n’emiriraano. Nga yaakafa, waliwo baganda bange abaalina ekirowoozo okutunda ettaka lino kyokka buli omu namuwa obukadde 5 ne babivaako era endagaano ziri wa looya wange.

SUUDI ALIMBA

Wabula bino Nansubuga ne Abas Ndegge (omu ku bakulu ba Suudiman) baabiwakanyizza ne bagamba nti Kyambadde we yafiira nga takwatagana bulungi na Suudiman kubanga yali tamufaako era talina mwana gwe yalaamira bya bugagga bye n’olumbe tetunnaba kulwabya kulonda musika.

Baagabye nti Suudiman yeegasse n’abamu ku baganda b’omugenzi ne nnyina abeera mu Amerika okwagala okwezza emmaali y’omugenzi naye ensonga zonna twazitwala mu ofiisi y’omukungu akola ku nsonga z’abafu (Administrator General).

 sendege ngalaga omuzigo uudi wasula Ssendege ng’alaga omuzigo Suudi w’asula.

 

OKUGGWAAMU SI BULWADDE

Suudiman bwe yabuuziddwa oba ddala yaggwaamu n’okusula mu muzigo e Ggaba yasoose kugamba nti, ‘‘bannange, okuggwaamu si bulwadde ate nze nkolerera kufuna mpeera mu ggulu. Ky’olina okumanya tewali mwavu ayogerwako.

Omuntu alina obukadde obusoba mu 200, buli lunaku ndiisa abaana abasoba mu 50 oyinza otya okugamba nti nnaggwaamu? E Ggaba we bagamba nze ntwalayo nga maka ga famire ng’omuntu yenna oba omwana asobola okusulawo.

Kati waliwo baganda bange Umaru ne Ssenyonga abasulawo. Nze nnina amaka agange e Gayaza n’e Buloba. Mu kazigo akogerwako mulimu ebitanda bisatu n’entebe ennene abantu kwe basula. Bwe twamusabye atutwale e Gayaza oba e Buloba tufune ebifaananyi by’amaka ge ate n’awoza nti obwo obudde tabulina.

Yagambye nti ye si muntu wa kweraga y’ensonga lwaki asobola okubeera n’obukadde 100 mu mpale omuntu n’atamanya. Yagasseko nti, kirabika embeera ze ez’okubeera ennyo mu bantu bye bimulabisa ng’eyaggwaamu ekintu ekitali kituufu.

 suudimaani mu ssuuti ngakolera usy ignal ekkubo bwe yali yaakatuuka ku kisaawe e tebe mu ugust wa 2015 Ssuudimaani (mu ssuuti) ng’akolera Busy Signal ekkubo bwe yali yaakatuuka ku kisaawe e Ntebe mu August wa 2015.

 

Ebivvulu nabivaamu

Ezimu ku nsonga abantu abagamba nti Suudiman yaggwaamu ze bawa kwe kuba nti takyawulikika mu bivvulu, emu ku bizinensi mwe yali asinga okufuna ssente.

Ng’ate okubiwummula yali mu mabanja n’okusika omuguwa n’abantu bazze akola nabo. Kyokka Suudiman agamba nti yasalawo okuwummula ebivvulu yeemalire ku bizinensi ze endala kubanga si gwe mulimu omukulu gwabadde ayimiriddeko. Agamba nti ssente z’afunyemu ziri ebitundu 20 ku 100 ku by’obugagga by’alina.

Sheila Patience eyali muka Big Eye amubanja

N’okutuusa kati Sheila akyekokkola Suudiman okumufera doola 20,000 (eza Uganda 67,560,000/-) ze yamuggyako ng’amusuubizza okumuleetera Omujamaica Busy Signal ayimbe ku bivvulu bye mu Club Venom ne ku Speenah biici e Ntebe.

Yali ajja kuyimba ku kivvulu kya Pepsi mu August wa 2015 e Lugogo ng’amulimbye nti ye yali akoze ku by’okujja kwe mu Uganda.

 ansubuga nnyina wa uudi ngalaga ebintu bye bye baamukasukidde wabweru Nansubuga nnyina wa Suudi ng’alaga ebintu bye bye baamukasukidde wabweru.

 

Ebivvulu ebirala ebyamuyisa obubi kuliko eky’Omunigeria Timaya e Jinja ne ‘Mbilo Mbilo’ ekya Eddy Kenzo. Nakoowa okubeera mu Amerika.

Yagambye nti ntambudde ensi ezisoba mu 35 naye sirina we ntuuse ne nfuna emirembe nga mu Uganda y’ensonga lwaki nasalawo okudda ku butaka neekulaakulanye.

Suudiman awadde nnyina obukadde 2

Wakati mu lutalo olugenda mu maaso, Suudiman yasinzizza Nansubuga amaanyi,. Yamuggye mu nju e Mutundwe n’agimenya wamu n’ez’abapangisa mw'abadde aggya ssente ezimubeezaawo.

Wakati mu kulaajana Nansubuga baamuwadde obukadde bubiri anoonye w’apangisa n’okubaako bizinensi gy'atandikawo mw’anaggya ekyokulya era agamba ssente zino Suudiman ye yazimuwadde kyokka olw’okuba ntono, Nansubuga yafuna mukwano gwe kati amusuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda