TOP

Oluyimba lutabudde Shebah, Ziza Bafana ne Lil Pazo

By Musasi wa Bukedde

Added 17th June 2016

OLUTALO lubaluseewo wakati w’abayimbi basatu okuli; Sheebah Kalungi, Ziza Bafana ne Lil Pazo ng’entabwe evudde ku luyimba.

Luyimba 703x422

Ziza Bafana, Lil Pazo wakati ne Shebah abakaayanira oluyimba

Bya FRED YIGA

................................................................................................................

OLUTALO lubaluseewo wakati w’abayimbi basatu okuli; Sheebah Kalungi, Ziza Bafana ne Lil Pazo ng’entabwe evudde ku luyimba.

Kigambibwa nti olutalo luno luvudde ku luyimba bonsatule lwe bakaayanira nga buli omu agamba nti munne ye yamukoppa.

Sheeba ye yasooka okulufulumya ng'olulwe yalutuuma "Kisasi kimu" nga yali ageraageranya abasajja abalina amaanyi amatono. Lil Pazo naye n’aleeta olulwe lwe yatuuma "Emmundu Evuge" ng’olulwe alangira abayimbi abatalina bitone ate nga be basinga okuwaana. Ate ye munywanyiwe Ziza Bafana kwe kuleeta olulwe lwe yatuuma "Tuli magye" ng’agamba nti talina gw’atya ng’alinga ayanukula Sheebah ne Lil Pazo.

Ennyimba zino bw’oziwuliriza era n’olaba ne vidiyo zaazo, enjawulo ntono naddala oluyimba lwa Ziza Bafana ne Lil Pazo kubanga bano bayimba ku mulamwa gwe gumu ate nga n’ekidongo kifaananira ddala. Pazo agamba nti Bafana ye yamukoppa.

Ebimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Bafana bigenda biti ;

Tuli magye we no fear enemies tuli magye atasomye okusomesa asomye, bawoza ranka bano bamusuuza bawoza ranka…

Ng’agezaako okutegeeza nti Kenzo awoza nti muyimbi munene olw’okuwangula engule ya Beat award naye ng’omuziki mutono,

Ate ye Lil Pazo agamba nti ; Emmundu evuge … evuge ..X 5 emmundu eseke ..X 5 Nagamba muwambye buwambi amagye tebagalanga, abafuuka badisata mu magye bangi, era nakomekkereza ng’agamba mbu mu nsiko tebaliyo kyokka basaba ranka.

Ng’ategeeza nti abayimbi abatatobye na kuyimba kyokka kati be batendereza.

Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde omuyimbi Lil Pazo yavuddeyo n'ategeeza nti bwe yali akola oluyimba luno talina muyimbi gwe yatunuulira wabula yeewuunya nnyo okuwulira nga Ziza Bafana avaayo n’akola oluyimba olufaanana olulwe era ng'ekidongo kye kimu.

Bwe twabuuzizza Ziza Bafana ku luyimba luno yagambye nti ebyo Lil Pazo by’ayogera talina ky’abimanyiiko kubanga ye muyimbi munene tasobola kukoppa mwana muto.

Wabula Shebah olutalo luno yagaanyi okubaako ky’alwogerako ng’agamba nti ye akuba muziki ng’abawagizi be basalawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.