TOP

Okuyimba ne Chamili kwantunda -Melody

By Musasi wa Bukedde

Added 5th August 2016

ABASINGA obungi bw’oyogera erinnya lye bayinza obutamutegeera kubanga bamanyi luyimba lwe okusinga erinnya lye.

Melody 703x422

Melody ne Chameleon

ABASINGA obungi bw’oyogera erinnya lye bayinza obutamutegeera kubanga bamanyi luyimba lwe okusinga erinnya lye.

Ono ye mwana mulenzi amannyidwa nga manson Kakooza abasinga gwe bamanyi nga Melody eyakuyimbira akayimba “Nkole ki ?” ke yayimba ne Dr Jose Chameleone.

Melody ekisaawe ky’okuyimba akinyumya nga lutabaalo. Fred Yiga yamutuukiridde era ne bawayaamu bwe bati;

Ssebo amannya go?

Nze Manson Kakooza, yadde abasinga bamanyi lya Melody kubanga eryo lye likola ssente.

Olina emyaka emeka? Olabika ng’omwana omuto?

Haaaa eky’emyaka lwaki ky’osoose? Nnina emyaka 25 egy’obukulu era eky’okulabika ng’omwana omuto kimenyewo kubanga egyo emyaka gy’abantu bakulu. Obeera wa ? Bweyogerere.

Watandika ddi okuyimba?

Ndowooza okuyimba kwandi mu musaayi okuviira ddala mu buto kubanga nayimbanga mu kkwaaya y’essomero era nga ne myoleso nasanyusanga nnyo abazadde.

Bazadde bo be b’ani?

Nzaalibwa muky. Masitula Najja n’omw. Abbey ssekyanzi ab’e luweero, - kasana. Mpitiraamu mu by’okusoma kwo. Nasomera ku new bubajjwe primary e Bwaise ne malira ku unique primary e kasana. Secondary nagisomera ku nakasongola Army era nga gye namalira S.6. Seeyongerayo olw’ensonga nti nali mmatidde nnyo okukuba emiziki nga gimpambye ekintu ekyanyiiza ennyo bazadde bange.

Lwaki oyimba nnyo ku mukwano?

Omukwano mmere ya bulamu.

Kiki ekyabaawukanya ne Bobi Wine?

Bobi simulinaako buzibu bwonna, mmuwa ekitiibwa lwa kuba nali nfunye maneja omuggya.

Nnyumiza ku ngeri gye wasisinkana Chameleone okutuuka okumukkirizisa okukola naye oluyimba?

Munnange omuntu nga chameleone kibeera kizibu okukuwa obudde, lwakuba nasangibwa n’omukisa.

 akooza   Kakooza . Ku ddyo ng'ali ne nnyina

 

Oluyimba luno nkole ki nali naluyimba emyaka ng’ebiri emabega nga lulungi naye ate bwe nasisinkana Chameleone ne kiyitirira kubanga mu kiseera ekyo sipapa ye yali anteekamu ssente.

Birungi ki bye wafuna mu luyimba luno?

Nafuna ettutumu ery’amaanyi lye nali sirina era abantu ne bantegeera. Nagulayo poloti, emmotoka Spacio New model ate nga nsobola okwerabirira, okulya n’okwambala.

Olina nnyimba ki endala?

Ekigambo, Photo Photo, Ring Around, Come Over, Ayagala Ddagala, Tekutula, Bamantaala ne Maama lwe nnaakafulumya.

Abawagizi bo obaleetedde ki omwaka guno?

Abawagizi bange mbaleetedde Maama era kye mmanyi bagenda kulwagala. vidiyo yakoleddwa Kiiwa owa proline.

Oli mufumbo?

Eby’obufumbo ebyo nga si byangu, naye nga siri mufumbo lwakuba sinoonya, nnina ambeesabeesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yagayo 220x290

Owoolubuto eyabula basanze yaziibwa...

OMUKAZI owoolubuto olw’emyezi omusanvu eyava awaka wiiki ssatu eziyise okugenda okunywa eddagala mu ddwaaliro lya...

Wangi 220x290

Eyeeyise owa ISO n’abba emmotoka...

OMUSAJJA abadde yeeyita owa ISO n’abba mmotoka ku muntu akwatiddwa.

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.