TOP

Sweet Cool ayogedde engeri gye basuula abayimbi ne bava ku maapu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2016

Mwana mulenzi Sweet Cool (Brian Kyobe) ayimbye ku ngeri abayimbi gye bagwa ne bava ku maapu.

An1 703x422

Omuyimbi Sweet Cool

Mwana mulenzi Sweet Cool (Brian Kyobe) ayimbye ku ngeri abayimbi gye bagwa ne bava ku maapu.

Mu luyimba lwe olupya amenya amannya g’abayimbi abamu abakola ennyimba ezaakwatayo ne ziyatiikirira kyokka nga kati bw’obanoonya tobalaba.

Bayimbi banne abawulidde ku luyimba luno baatandise dda okumwewerera. Sweet Cool nzaalwa ye bugerere naye ng’abeera Makindye ku luguudo lwa kakembo.

Yatandikira mu kugegeenya nnyimba za Bobi wine mu kariyoki. Awo we yava okukola ennyimba ezize gamba nga; Mbookya, Mulembe ki, Mu ndongo, n’endala.

Mu kiseera kino alina oluyimba olupya olulabika okumuzaalira obuzibu mu bayimbi banne.

Oluyimba yalutuumye ‘Ani Yabaloga?’ era yamenye abayimbi abatakyalina nnyimba zicamula bantu okuli; Rocky Giant, Queen Florence, Abdu Mulaasi, Mariam Tina tiine, Gnl Zamba, Angella Kalule, n’abalala bangi.

Mu luyimba luno annyonnyola engeri abayimbi gye ‘beeroga’ buli omu ng’ayagala okusinga munne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.