TOP

Okulemera ku nsonga kinfudde omuwanguzi - Lutaaya

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2016

MU 1994, omuyimbi Geoffrey Lutaaya yeegatta ku Umar Katumba owa Emitoes Band. Olwo yali asoma Kololo High mu S2.

Tongoza 703x422

Bya E. SSEBANENYA NE JOSEPHAT SSEGUYA

MU 1994, omuyimbi Geoffrey Lutaaya yeegatta ku Umar Katumba owa Emitoes Band. Olwo yali asoma Kololo High mu S2.

Waayita akabanga katono ne bamugoba. Yeegatta ku Embassols Band eya Moses Super Charger ne bamuwa ogw’obuzinyi kyokka ng’amazina akaka makake.

Super Charger yamuwa amagezi eby’okuyimba abiveeko kyokka n’alemerako n’akola Gibros Band ne Mesach Ssemakula mu 1995. Y

akuba ennyimba nga ‘‘Bamimwa gyabwe, Jennifer ne Abamanyi omukwano’’ n’awamba okukakkana ng’okuyimba agufudde mulimu mwafunye obugagga, ettutumu n’ebirungi byonna by’alina kati.

Bwe yalaba ng’okuyimba kufuna, yeegatta ne Ronald Mayinja, Mesach Ssemakula n’abalala mu 1998 ne batandika Eagles Productions ekintu kye baatambuza ne bakituusa ku ntikko nga basomesa n’okusanyusa Bannayuganda.

Wabula mu 2014, embeera yabatabukako mu Eagles ekibiina ne kisasika. Lutaaya ne mukyala we Irene Namatovu bagyabulira ne badda ku zero.

Baafuna ekirowoozo okutandika bandi endala kyokka nga bagitambuliza ku baana bato abafuuse ensonga. Mu bano mulimu: Jovan Luzinda eyayimba Nninga omutamiivu ne Mbooseera, Sasha Brighton owa So Lucky, Nina amaalo ne Swiiti swiiti, Betina Namukasa ayimba: Emikisa gy’abakazi, Necklace ne Ompalula buwaluzi, Henry Mwanje alina ‘abalya emmere’ ne Grace Khan eyayimba ‘sijja kumuta’.

Ezimu ku nnyimba ezimutunze kuliko: Sandra, Evelyn, Diana, My Love, Akyali Mbooko, Ayi Mukama, One and Only, Nassanga, Easy Come Easy Go, Aliba ani, Kabeerimbe, Olweza, Nkolerera baana bange, n’endala okuli ‘‘Yadde yaddeko ne Tuli luno’’ z’agenda okutongoza leero ku Club Obligatto.

Yagambye nti agenda kuyimba ennyimba ze ezisinga ng’atandikira ku nkadde kubanga zaanyumiranga nnyo abantu. Ate Irene alina ennyimba nga Okuzaala kujaagana, Obugumiikiriza, Tetukyagwirana, Mmaze okulonda, Empeta n’endala.

Oluyimba lwa ‘‘Yadde yaddeko’’ ayimba ku gyenvudde we ng’agamba nti mu ku- sooka embeera yali emukuba kyo- kka kati yatereera ne ssente azifuna ate Tuli luno ayimba n’engeri abavubuka b’ennaku zino gye basaasaanyamu ssente gy’obeera nti bakuba ebicupuli wamu n’abambala engoye ezijjudde ebituli n’ez’ebitundu.

DA NU EAGLES EWAMBYE

Lutaaya yagambye nti bandi ye ekola bulungi era akimanyi be bali ku ntikko ng’obuwanguzi abutadde ku ngeri gye bakolera awamu nga famire, abaana okuba n’empisa, okukola ennyo n’okukuba ennyimba ezikwata ku bantu n’okusalawo nti okuyimba mulimu.

Abaana twabawa n’ebisulo ku lw’e Busaabala nga tebalina kuwankawanka okuggyako okulowooza ku muziki.

ENTEEKATEEKA ZIWEDDE

Lutaaya eyasangiddwa e Busaabala nga beegezaamu yategeezezza nti tekyali kulanga kulala bali ku Club Obligatto mu kivvulu kya ‘Yadde yaddeko Tuli luno’ leero. Okuyingira 20,000/- ne 50,000/-.

Enkya ali ku La Grande Hotel e Bwaise ate ku Ssande abeere ku Forest Park e Buloba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.