TOP

Omuvubuka akutte Princess Amirah mu kiwato ne yeesika

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2016

PRINCESS Amirah eyeegulidde erinnya mu kuyimba ennyimba z’omukwano, omuvubuka amukutte mu kiwato ne yeesika!

Tunu 703x422

PRINCESS Amirah eyeegulidde erinnya mu kuyimba ennyimba z’omukwano, omuvubuka amukutte mu kiwato ne yeesika!

Bino bibaddewo ng’akwata vidiyo y’oluyimba lwe lw’atuumye ‘Sibookya.’

Mu luyimba luno, Amirah alaga nga bw’ali mu mukwano omuyitirivu n’omulenzi we era tewali ayinza kumumusuuza waakiri okufa!

Vidiyo yagikwatidde mu bifo ebiwerako omuli saaluuni ng’alaga engeri omulenzi ono gy’amwagaddemu n’amuteekamu ssente nga kumpi buli lunaku asiiba mu saaluuni ng’akyusa nviiri.

Yagenze ne ku luguudo lwa Entebbe Express Highway kwe beeragidde amapenzi n’omulenzi we.

Bakira omulenzi amukwata mu kiwato ng’eno Amirah bwe yeesika, ekyacamudde ennyo abalabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Angume1 220x290

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.