TOP

Sizzaman alumbye Bebe Cool: 'Oyitirizza okukoppa ennyimba zange'

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2016

Bebe Cool amwanukudde: Oyo Sizzaman antambulirako naye ky’anoonya ajja kukifuna. Anvunaana okuddamu oluyimba lwa Omudiribada naye ky’alina okumanya nti ayinza okuba nga eyamuwandiikira oluyimba luno ye yalukoppa ku nze kubanga si muwandiisi wa nnyimba

Howwe645d6c684a36b44c7b36c564559c1a581465192301 703x422

Sizzaman ne Bebe

OMUYIMBI Sizzaman ng’amannya ge amatuufu ye Andrew Kiyemba abantu abasinga baamumanyira ku luyimba lwa ‘Angella’ lwe yafulumya mu 2011. Mutabani wa Jane ne James Musanje ab’e Mukono Namayuba Kyetume. Akubye ennyimba nga Taxi Money, Mafalanga, Inna di dance n’endala kyokka ennaku zino eby’okuyimba abadde yabiwummuzaamu ng’abawagizi be beebuuza ky’aliko. Fred Yiga ne Ronnie Mark Kiyingi baayogedde naye n’ababuulira ky’aliko kati.

Sizzaman wabula, simanyi baakuwasa?

Nedda ssebo sibadde mwebyo. Omuziki nasooka ne nguwummulamu nga nnina ebimpuuba. Kati nakomyewo era mwendi.

Obadde bweru wa ggwanga, kulikayo mu UNAA.

Mu ggwanga mbaddemu naye nga nnina bizinensi ze nkola kubanga ennaku zino omuziki gunyuma olinayo awalala w’osolooza akasente. Mu kiseera kino osobola okumpita omusuubuzi. N’ekirala mbadde mpanga situdiyo era kati yawedde namaze n’okukwata ennyimba zange empya.

Ky’ogamba ogenda kuddamu okuyimba?

Yee.. era oluyimba lwange baluyita ‘‘Omudiribada’’. Kuno ng’asseeko endala nga Siriingi, Wulira ebbaala n’endala.

‘Omudiribada’ bitegeeza ki? Kitegeeza abantu ababeera mu bulamu obwabulijjo nga tebalimba oba okukweka ekituufu kye bali. Lunnyonnyola ebintu ebibeera mu bulamu bw’abantu kyokka nga tebaagala bantu balala bategeere.

Sizzaman, Straka Beibe wamukyayira ddala?

Oyo gy’ali tuwuliziganya ate olina okukimanya nti tulina omwana atugatta. Naye nnina omukyala omulala gwe nafuna.

Bantu ki abakuyambye okufuuka ky’oli kati?

Bobi Wine ye yanzuula n’ampa omusingi gwe ndiko. Abalala kuliko: Radio ne Weasel, Jeff Kiwa ne bazadde bange mpozzi n’abawagizi bange.

Kiki ekikuleetera okwenyumiriza mu ky’oli leero?

Nzudde ebitone ebirala nga Sheeba Karungi, Roden Y, Minayo n’abalala. Natambulanga ne Sheebah mu bivvulu kyokka ng’abantu baηηamba lwaki simuvaako kubanga eby’okuyimba tabitegeera. Kyokka oyo gwe baanyoomanga essaawa eno ye nnamba emu.

Lwaki ggwe ne Bebe Cool temwematira?

Nze sirina mpalana yonna ne Bebe Cool lwakuba ebikolwa bye binnyiiza. Ayitirizza okwoza mu nnyimba zange. Bwe nakuba ‘Ah Goodlife ting dis’ n’ayimba ‘Ah Gagamel ting dis’. Bwe naleeta ‘Ayagala Mafalanga’ n’akuba ‘Ayagala Munyarwanda’. Bwe nakubye Omudiribadda, nagenze okuwulira ng’afulumizza Mudiribada.

Olinayo ennyimba ezikunyumira naye nga si zizo?

Smart Wire olwa Vampino, Kadaaga olwa Santana, Ntulika olwa Da Agent, ne Bad Gal Nseko olwa Lady Sparkle.

Olinayo ekintu ekikunyiiza?

Kinnuma nnyo okuteekako leediyo ne ttivvi ne mpulira nga bakuba ennyimba za Bad Black ne Don Zella ng’ate si bayimbi ezaffe ne bazireka ebbali.

Bebe Cool amwanukudde:

Oyo Sizzaman antambulirako naye ky’anoonya ajja kukifuna. Anvunaana okuddamu oluyimba lwa Omudiribada naye ky’alina okumanya nti ayinza okuba nga eyamuwandiikira oluyimba luno ye yalukoppa ku nze kubanga si muwandiisi wa nnyimba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...