TOP

Eyali muninkini wa Sheebah asaba kumuddiramu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2016

OMUVUBUKA eyeegayiridde Sheebah amuddiremu kata ebyana bimulemese okukwata vidiyo bwe byatandise okutiribiza obubina n’aloba ekyawalirizza eyabadde mu mitambo gy’okukwata vidiyo eno, Kamander Ounex okumukomako asigale ku mulamwa.

Limba 703x422

OMUVUBUKA eyeegayiridde Sheebah amuddiremu kata ebyana bimulemese okukwata vidiyo bwe byatandise okutiribiza obubina n’aloba ekyawalirizza eyabadde mu mitambo gy’okukwata vidiyo eno, Kamander Ounex okumukomako asigale ku mulamwa.

Prince Raj ng’amannya ge amatuufu ye Rajab Kakeeto ye yabadde akwata vidiyo ye n’aleeta abazinyi obwedda abakyusa obubina n’okububinaza.

Ebyana bino byatadde Raj mu kaseera akazibu n’ava ku mulamwa ng’ebiroowozo abimalidde ku byana biwala.

Sheebah Karungi ne Chosen baafulumya oluyimba ‘Waddawa Ex-Waddawa’ olulangira abasajja abaganza abawala oluvannyuma ne babasuulawo ekyawalirizza Raj okuleeta olulwe ng’amwanukula (Sheebah) okumuddiramu.

Mu luyimba luno Raj yeegayirira Sheebah nga bw’ayimba’ Sheebah nziriramu ‘Ex-boyfriend’ nzuuno ndaajana, Sheebah nziriramu Ex-boyfriend omutima guli eyo gyosula x2. Ennyimba endala z’alina kuliko: Mpulira mawulire, One direction, ebirooto n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...