TOP

Omuwala gwe baapasula ku muyimbi Chris Evans awunya kadaali

By Josephat Sseguya

Added 14th October 2016

OMUWALA Jamira Kalungi gwe babba ku muyimbi Chris Evans ate ne bimutabukako n’akola omukolo gw’okukyala ng’akozesa ekifaananyi ky’omusajja mu bakadde, asazeewo ku luno akole okwanjula n’embaga omulundi gumu asirise ababadde bamwogerera.

Jugi 703x422

OMUWALA Jamira Kalungi gwe babba ku muyimbi Chris Evans ate ne bimutabukako n’akola omukolo gw’okukyala ng’akozesa ekifaananyi ky’omusajja mu bakadde, asazeewo ku luno akole okwanjula n’embaga omulundi gumu asirise ababadde bamwogerera.

Yatongozezza enkiiko z’omukolo gw’okwanjula okugenda okubaawo nga December 31 omwaka guno ate embaga agamba ejja kubeerawo nga January 7, 2017 ku wooteeri ya Serena mu Kampala.

Jamira Kalungi ng’atongoza enkiiiko ku mukolo ogwabaddeko abantu abangi ne basereebu ku Muganzirwazza ku Lwokutaano waabaddewo okwewunaganya oba nga ku luno bba anaabaawo.

Baasonze ssente ne bayita ne mu nteekateeka ng’era ssentebe w’emikolo gino, Bbosa Sserunkuuma era nga y’omu ku badayirekita ba Zubair family, Kalungi mw’azannyira emizannyo, olwamaze okuggulawo olukiiko olwatandise ku ssaawa ebbiri ez’ekiro, n’agumya abantu nti ku luno, omuko waali.

Kalungi y’omu ku bazannya Ebinnayuganda omuli, Nawolovu, Ssenkaggale yeefudde n’Ekiraamo nga guno gulagibwa ku Bukedde TV buli Lwamukaaga ku ssaawa 12.30.

Yayawukana ne Chris Evans mu 2014 ng’afunye omusajja omulala era ababamanyi ne bagamba nti Chris Evans yali tali ‘siriyaasi’ kyokka ate mu 2015, obudde bw’okukyala bwe bwatuuka, teyaliiwo bakyaza kifaananyi.

Muninkini wa Kalungi ayitibwa Fahad Kulumba abeera mu Amerika gy’akolera egigye nti kino kye kyamulemesa okubaawo ku mulundi ogwasooka. Kigambibwa nti ku luno waali mu December engeri ‘Abasama’ gye baba bakomyewo.

Ku mukolo guno, abayimbi Evelyn Lagu n’Omulangira Ssuuna baayimbye nga bwe baddamu olwo ate nga Flavia Namulindwa owa Bukedde TVy’akola gw’okukunga abasonda ssente ng’ayambibwako dayirekita wa Zubair Family omulala, Ahmed Lubowa.

Enkiiko zaakutuulanga buli Lwakutaano mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere