TOP

Omuyizi wa MUBS alidde obwa Miss Uganda 2016/2017

By Martin Ndijjo

Added 16th October 2016

Omuyizi wa MUBS alidde obwa Miss Uganda 2016/2017

Missugandawinner3 703x422

“Ekitibwa ne Tendo mbiddiza Mukama Katonda ansoboozesa okuwangula. abawala bwe tuvuganyiza ffena tubadde balungi mu  buli kimu nga buli omu ng’asuubira okuwangula kubanga tufunye okutendekebwa okumala nga era okwawamu kale nze okusuukulumako zibadde nteekateeka za Mukama,” bwatyo Leah Kagasa, 21, omuyizi ku MUBS, asoma diguli mu bwakitunzi (Bachelor of Marketing) ali mu mwaka gwokusatu bwe yategeezezza  Bukedde amangu ddala nga yaakalangirirwa ku buwanguzi bwa Miss Uganda 2016/2017.

Kagasa era  eyawangudde  n’engule ya nnalungi abantu gwe  baalonze  abasingidde (Miss Popularity) nga bayita ku mikutu gya yintaneti egy’enjawulo.

 

Kagasa Mutoro nga muwala w’omw. Paul Mutwamu n’omuky. Florence Tumusiime Mutwamu. Mwana nzaalwa y’e Kabarole nga mu Kampala abeera Naalya.

Ku ngule ya Miss Uganda yaddiriddwa Simple Charlotte Kyohairwe,20, eyakutte ekyookubiri naddirirwa, Ritah Ricky Mutoni, 22, eyawangudde engule y’omuntu w’abantu (Miss Congeniality).

 

Abalala abawangudde kuliko; Shamilla Nankya Nnalulungi w’amasekkati g’eggwanga, Teddy Mukunzi wa Bugwanjuba, Sharita Mariam Maruti wa Buvanjuba ate Joan Odung nnalulungi wa bukiika kkono (Miss Uganda North).

Evelyn Namatovu- ‘Miss Beach Beauty’ ,  Ruth Mwima- Miss talent, Priscilla Apako- Miss Sports, Irene Nakitende- Raising Woman, Flavia Tumusime- Miss Personality, Shibella Winfred Bakamaze- Miss Photogenic n’abalala.

 

Ku bukadde obwasobye mu butaano (5) bwe yafunye mu mitendera egy’enjawulo gye yawangudde, Kagasa baamuwadde n'emmotoka ng’ebisumuluzo byayo byamukwasiddwa omubaka Cecilia Ogwalo, eyasooka okuwangula empaka za Miss Uganda mu myaka gy’ataano (1950).

Kagasa era agenda kufuna omusala gwa kakadde kamu n’ekitundu buli mwezi okumala omwaka mulamba era agenda kukiikirira Uganda mu mpaka z'obwannalulungi wb'ensi yonna (Miss World)ezigenda okuyindira mu Amerika mu December 2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards