TOP

Embaga y'omugagga SK Mbuga eyengedde: Bajeti eri mu buwumbi...

By Martin Ndijjo

Added 22nd October 2016

Eno Embaga egenda kumenya n'emiti…” bino bye bimu ku bigambo obwedda ebyogerwa abantu abeetabye mu lukiiko oluteekateeka okwanjula n’embaga y’omugagga SK Mbuga olwa ssente ennyingi eziri mu buwumbi eziteekeddwa mu mikolo gyombi era bangi baavuddeyo banyeenya mitwe.

Kala1 703x422

Mbuga ne mukazi we Jalia gw’agenda okuwasa.

Eno Embaga egenda kumenya n'emiti…” bino bye bimu ku bigambo obwedda ebyogerwa abantu abeetabye mu lukiiko oluteekateeka okwanjula n’embaga y’omugagga SK Mbuga olwa ssente ennyingi eziri mu buwumbi eziteekeddwa mu mikolo gyombi era bangi baavuddeyo banyeenya mitwe.

Entegeka zigenda mu maaso era ssentebe w’olukiiko obwedda ayita omu kw’omu ku bantu abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo okunnyonnyola buli omu w’atuuse.

Wano Sylivia Owori dizayina ow’erinnya akulira akakiiko akakola ku by’okutimba n’endabika y’ebifo awagenda okubeera emikolo eyakedde okuva e Dubai, omugagga gye yamusindise okugula ebigenda okukozesebwa mu kutimba ye yasinze okubakwata omubabiro.

 zimu ku mmotoka ezisimbye mu kikomera kya buga ezigenda okutambuza abagenyi Ezimu ku mmotoka ezisimbye mu kikomera kya Mbuga ezigenda okutambuza abagenyi.

 

Bakira annyonnyola engeri Victoria Hall ekifo we bagenda okusembereza abagenyi ku Serena Hotel bwe kigenda okulabika nga kiwedde okutimbibwa ng’oyinza okulowooza nti oli mu ggulu.

Eby’amataala bigenda kukolebwaako Steve Jean era bino byokka (okutimba n’amataala) bajeti yaabyo eri mu bukadde 200.

Mbuga agenda kusooka kwanjulwa mukyala we, Jalia Birungi mu bakadde be e Sseguku nga November 24, embaga ya November 26 omukolo gw’okubawoowa gugenda kubeera ku muzikiti e Kibuli.

 kuva ku kkono im wagga omu ku bako ba buga  buga mugagga dson asyata agenda okubeera besimaani wa buga ne asimbi muganda wa buga nga batuuka ku erena Okuva ku kkono, Kim Swagga (omu ku bako ba Mbuga), SK Mbuga, Omugagga Edson Kasyata (agenda okubeera besimaani wa Mbuga) ne Masimbi (muganda wa Mbuga) nga batuuka ku Serena.

 

Esswaga mu mukolo Abantu abasoba mu 100 be bagenda okumuwerekerako ku buko, bonna Mbuga agenda kubatambuza kyokka ng’oggyeeko mmotoka ez’ebbeeyi mu bika eby’enjawulo okuli; Range Rover Sport, Benz G- wagon (Cross-country) Class, BMW X6, Jeep n’endala ezisimbye awaka ezirindiridde okubatambuza, aguze mmotoka endala bbiri okuli; Rolls Royce ne Ferrari mw’agenda okutambulira ne mukyala we ku lunaku lw’embaga.

Okwawukanako n’abantu abalala abategeka emikolo, mu nkiiko Mbuga z’atuuza temuli kusonda ssente kubanga ebintu byonna yabikolako dda, abantu abayita kumuwa magezi n’okumuwabula we kyetaagisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga