TOP

Olina kuba muyiiya okufuna mu muziki - Rocky Giant

By Musasi wa Bukedde

Added 28th October 2016

Rocky Giant ng’amannya ge amatuufu ye Fredrick Giriya musajja Mulugwala. Yayatiikirira nnyo okuva mu mwaka gwa 2005 okutuuka mu 2009 bwe yakuba ennyimba nga: Rafiki, Mulembe gwa balaasi, Blah blah, Nani wuyo, Ngoma nnene, Pakalast n’endala. Okuva olwo abadde abuze mu bantu era bangi beebuuza kyaliko kati.

Pana 703x422

Rocky Giant ng’amannya ge amatuufu ye Fredrick Giriya musajja Mulugwala. Yayatiikirira nnyo okuva mu mwaka gwa 2005 okutuuka mu 2009 bwe yakuba ennyimba nga: Rafiki, Mulembe gwa balaasi, Blah blah, Nani wuyo, Ngoma nnene, Pakalast n’endala. Okuva olwo abadde abuze mu bantu era bangi beebuuza kyaliko kati.

RONNIE MARK KIYINGI yamutuukiridde n’amubuulira ky’aliko kati.

Rocky nga weekwese nnyo?

Ssi byangu naye ekirungi nakomyewo. Mbadde nkola bizinensi okugatta ku kuyimba.

Naye waggwaamu, kiki ekyakutuukako?

Saggwaamu nga bw’okirowooza naye mu 2009 abayimbi nga Moze Radio ne Weasel, GNL Zamba, Eddy Kenzo n’abalala baayingirawo ne bakyusa ebintu. Buli muyimbi ow’amaanyi mu kiseera ekyo yakosebwa.

Wava kuki okutabuka ne GNL Zamba?

Ate ebyo obiggya wa?  Oyo ggaayi ampa nnyo ekitiibwa kubanga nze namulaga ekkubo ate tetuyombangako.

Tugendeb mpola, bakuzaala wa era biki bye wayitamu ng’okula?

Nzaalibwa Kayunga – Mukono wabula nakulira Jinja ate bwe nakulamu ne nnyingira ekibuga nga nsula Kisugu ewa mukulu wange. Bazadde bange banfaako nga nnina emyaka mukaaga era wano ennaku we yantandikira nga nakulira mu maka ag’enjawulo.

Wasomako?

Yee... naye nalwawo okusoma nga tewali empeerera kyokka bwe najja e Kampala waliwo omusajja Ibrahim Kagolo eyantwala ku ssomero era natandikira mu P3 nga nnina emyaka 14 kyokka nakoma mu S4.

Kati eby’okuyimba wabitandika ddi?

Waliwo omusomesa Moses Kasibante eyandagira okutandika okukuba engoma we nava okugattamu ebigambo gy’oyinza okuyita Free Style. Bwe namala okusoma, omusajja Isaac Kalungi yankwata ku mukono n’antwala mu situdiyo ne nkwata oluyimba lwange olusooka. Awo we nava okwegatta ku kibiina kya Jungle Beat ekya Mr. Mosh.

Njawulo ki eri wakati w’omuziki ogwaliwo mu biseera byammwe n’oguliwo kati?

Mu biseera byaffe abantu twabakakanga bukasi okwagala myuziki waffe naye kati Bannayuganda bakkiriza dda okuwagira abayimbi newankubadde abasinga bagayaavu n’abamu balina amalala mangi.

Wangambye wakomyewo, kati kapya ki k’olinawo?

‘Wabulira wa’ ne vidiyo yafulumye dda. Nina n’olulala lwe nakoze ne Moze Radio lwe bayita ‘Nkyakujjukira’.

Bayimbi ki booleese ku maapu?

Keko, Ziza Bafana, Yiya Moze ne Gravity Omutujju gwe nayanjuliranga abantu mu bivvulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...