TOP

Abasajja bangi bankwana naye sinnaba kusalawo - Sarah Zawedde

By Musasi wa Bukedde

Added 28th October 2016

OMUYIMBI Sarah Zawedde akoze vidiyo y’oluyimba lwe ‘‘Onsuza ntunula’’ n’omusajja amukutte awabi n’aleka abantu nga beebuuza oba anaasigaza obufumbo. Josephat Sseguya yayogedde naye n’amubuulira ebikwata ku musajja ono n’oluyimba lwe.

Klaabira 703x422

Sarah Zawedde ne Ssemanda mu vidiyo.

OMUYIMBI Sarah Zawedde akoze vidiyo y’oluyimba lwe ‘‘Onsuza ntunula’’ n’omusajja amukutte awabi n’aleka abantu nga beebuuza oba anaasigaza obufumbo. Josephat Sseguya yayogedde naye n’amubuulira ebikwata ku musajja ono n’oluyimba lwe.

Sarah okikola otya, oyo ye musajja wo?

Nedda, mukwano gwange gwe namanyira ku mwami wange.

Ekyo kye mwakoze tekiibatabulire amaka?

Omusajja ayinza okufunamu okutya kyokka alina okukimanya nti guno mulimu.

Omwami wo y’ani?

Gy’ali naye tabeera mu Uganda ate okumulaga abantu alina kusooka kweyanjula n’okumpasa.

Abasajja tebakutawaanya?

Bankwanira ddala naye mbategeeza ekituufu naye waliwo abalemerako. Sibagoba kubanga teri yanteekako mpeta era bonna mbeetegereza nga anaabeera siriyaasi gwe nja okugenda naye.

Olinda kwengera okusalawo?

Nze nasalawo dda naye omusajja y’asalawo ekisembayo.

Bali bameka boogenda okulondako?

Sijja kukugamba nnamba y’abasajja naye bawerako.

Asinga bonna ali mu nsi ki?

Awo nja kuba mwogedde.

Oyo ali mu vidiyo y’ani?

Earnest Ssemanda musuubuzi w’e South Afrika.

Oluyimba lukwata kuki?

Ku muntu gw’oyagala ennyo ng’era ofaayo okumanya engeri obulamu bwe gye butambulamu. Luli mu sitayiro ya munyigo era lukolera abaagalana.

Sarah Zawedde y’ani?

Mmaze emyaka 10 nga nnyimba. Natandika ne ‘Kambeere naawe’ okwali ennyimba nga Ndi mukazi, Nasiima ggwe, Nafuna andabirira, Oli mulungi n’endala.

Y’omu ku beetaba mu mpaka za Coca Cola Pop Stars ezaawangulwa Cindy Ssanyu, Lilian Mbabazi ne Jacky Chandiru. Mu 2006 yakola ennyimba endala nga Lwaki onondoola mu 2009 ne Candle yange.

Alina ennyimba endala nga Nkwata, Get in the music, Akabira kano, Tambula ndabe, Kankwagale, African Woman, Embeera zo n’endala.

Essaawa eno, alina bbandi gye yatuuma Zawee band ng’ekubira ku Fusion Splash e Luzira buli Lwakutaano awali amaka gaayo. Alina n’ebbaala mu bitundu by’e Luzira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.