TOP

Baleese omuzannyo ku bakazi abasiba abasajja abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2016

BANNAKATEMBA ab’enjawulo okuva mu Deception ne Expendables beegasse ne bakola omuzannyo gwe batuumye ‘Battle of the City’ ekivvuunulwa ‘Enkajumbe’.

Kwasa 703x422

Joseph Ssennabulya

BANNAKATEMBA ab’enjawulo okuva mu Deception ne Expendables beegasse ne bakola omuzannyo gwe batuumye ‘Battle of the City’ ekivvuunulwa ‘Enkajumbe’.

Omuzannyo guno gukwata ku musajja eyasomesa abaana be bonna ne bafuna emirimu egy’enjawulo nga badokita, abasomesa, balooya n’abalala era ne bafuuka baamugaso nnyo gyali.

Bwe baamala okusoma baagana okukozesebwa ne basalawo okwekolamu omulimu ne batandikawo bizinensi ya famire ku ttaka ly’ekika.

Ab’ekika abalala baabawa obukwakkulizo bw’okuwa baganda baabwe emirimu newankubadde abamu baali tebalina biwandiiko.

Baakola ssente ne ziwera era muzeeyi waabwe bwe yalwala ne basalawo okumutwala ebweru okujjanjabibwa.

Wano we baasabira batabani be abaali bamuwerekerako okusooka okukeberebwa ne bazuula ne nti bonna tebaali baana be.

Muzeeyi olwawulira bino Pressure n’erinnya. N’abaana byabasobera okukakkana ng’omu afudde. Kati abooluganda bwe baawulira bino ne batandika okubagobaganya kyokka nga n’abaana si beetegefu kuleka mmaali yaabwe olutalo ne lutandika nga balwanira ebintu.

Baagenda okunoonyereza ng’abaana bano ba Paasita eyali asumba amaka gano ekintu ekyewuunyisa ennyo abantu.

Kiki ekyaddako?

Joseph Ssennabulya yategeezezza nti omuzannyo guno gutandika nkya ku Lwomukaaga ne Ssande ku Theatre La Bonita.

Mulimu abazannyi ab’amannya nga Muky. Kisawuzi, Charles Kabogoza azannya nga Chris, Mirika, Christopher Mukiibi, Joseph Ssennabulya, Justine Nantume, Olivia Wamala n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.