TOP

Nkooye okweyerusa, njagala kuddayo mu buddugavu bwange - Bad Black

By Musa Ssemwanga

Added 8th December 2016

Wali waakava mu nkomyo(ekkomera), wajja na nkuba mpya n’ofulumizaaawo akayimba ka Mandigaadi….. kiki ekyabaawo? Haha amazima nnali nneejubisa nga njagala kulya 'sho' na swagga naye siri muyimbi era sibisobola olwensonga nti nnassaamu obukadde obusoba mu 40 naye amakungula saagalaba ne nsalawo eky'okuyimba nkite.

Badblack703422 703x422

Bad Black bwe yali afaanana ne bw'afaanana kati oluvannyuma lw'okweyerusa

Twakusomako  mu mawulire nga olokose?

Kituffu nnalokoka era nkusaba naawe bw’oba tonnaba jangu mu kanisa yange nkubuulire enjiri olokoke.

Ekintu nga okikwasiza maannyi……wazimba  dda n’ekkanisa?

Mukama w'amaanyi mu March omwaka guno nnatandika World Healing International Ministry e Bugolobi

Ate ebigambibwa nti tokyalina yadde 200/= ?

Ebyo bituufu olwensonga ssente zonna ze nnalina zagwaawo nasigazza entonotono ezimbeezaawo nga bw'omannyi

Nakusanga ku kasiki ka Mbuga ng’otudde ku ccupa z'omwenge…..tekyewuunyisa endiga zo?

Mwana wange ne Yesu Kristu naye yasobya wabula ne yeetonda era n’asonyibwa. N'olwekyo ekyo tekikola mawulire. N'ekirala sitaani naye tatudde afuba okulaba nti abantu abasemberedde Mukama nga nze atukuba ekigwo n’atukema ne twonoona.

 

Ku kasiki ke kamu wakubwa ebifanannyi ng’onywegera omuvubuka amannyiddwa nga Kim Swagga. Wali obala ka ki?

Oyo kyali wange tuzze tukolagaana mu bintu ebisinga era tewali kakwate konna naye

Mwakomawa n'Omuzungu David Greenhalgh?

Oyo namussa dda mu cupa, twogera era akyandabirira abantu kye batamanyi

Ate Meddie Ssentongo?

Oyo ave mu buwawaηηanguse akomewo ampasse naffe tweyagale nga Mbuga ne Vivianne

Wali waakava mu nkomyo(ekkomera), wajja na nkuba mpya n’ofulumizaaawo akayimba ka Mandigaadi….. kiki ekyabaawo?

Haha amazima nnali nneejubisa nga njagala  kulya 'sho' na swagga naye siri muyimbi era sibisobola olwensonga nti nnassaamu obukadde obusoba mu 40 naye amakungula saagalaba ne nsalawo eky'okuyimba nkite.

Wafuna maneja amanyiddwa nga Ray Signature wabula gye buvuddeko nnalabye omuvuma ku mukutu gwo ogwa Facebook ng’omulangira ebisongovu. Kiki ekyabatabudde?

Oyo alina ekikyamu ku mutwe. Yagenda ng’annyumyaako mu mpapula z'amawulire nga bwe nnali mwegwanyiza ekintu ekyantabula nange ne mulangira obwavu kw’ossa okubeera ekikonwa mu nsiike y'okuyimba.

 

Mikwano gyo abataakukyalira ng’oli mu kkomera e Luzira wabasonyiwa?

Nnabasonyiwa ddaaa.. era ne nfuna emikwano emipya. Ekyankozesa ekyo kiri nti Baibuli tekkiriza kusigaza kakuku ku mutima olw'omuntu akunyiiziza era oyinza okwesanga nga essaala zo Katonda tazaanukudde.

Tokyalina bulungi ssente, naye onyirira! Okikola otya?

Nneefaako nnyo era omwezi nsasaanya obukadde 4 nga kw’otadde n'okukyusa enviiri buli wiiki.

Naye olususu nga terukyayaka nga bwe lwali mu kusooka?

Ensonga eri emu…...nkooye obweru njagala kuddayo mu kkala yange ey’obuddugavvu nga bwe nnali

Ekyo ogenda kukikola otya?

Omanyi nneekuba empiso ezeerusa buli mwezi nga zino zintwalako obukadde bwensimbi, ηηenda kuzeesonyiwa kuba nazo zimmazeeko ssente zange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga