TOP

Omuntanzania Jack Pemba bamukwatidde ku kisaawe ky'ennyonyi lwa bbanja

By Josephat Sseguya

Added 5th May 2017

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yategeezezza Bukedde nti, okukwata Pemba kyaddiridde Omuzungu gw’abadde akolagana naye okwekubira enduulu mu kkooti ng’agamba nti yamuwa ssente n’atazimusasula.

Pata 703x422

Jack Pemba wakati

JACK Pemba amansa ssente mu bbaala za Kampala akwatiddwa poliisi lwa ssente Omuzungu gw’abadde akola naye z’amulumiriza okumutwalako.

Bagamba nti ensonga endala eyamukwasizza yakutambuza ssente nnyingi mu ngeri emenya amateeka.

Pemba okukwatibwa baamuggye ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe bwe yabadde agenda ebweru ku nkomereero ya wiiki ewedde.

Abaserikale abaakutte Pemba baabadde mu ngoye ezaabulijjo nga baamusanze atambuza ssente nnyingi.

Kigambibwa nti Pemba ng’amannya ge amajjuvu ye, Jackson Akim Pemba, Mutanzania, anoonyerezebwako poliisi ya Uganda ne Tanzania ku kutambuza ssente ennyingi mu mawanga gano n’amalala.

Pemba y’omu ku kibinja ky’abavubuka abalina ssente, era abazisaasaanya nga basinga kuziggya mu kutunda byabugagga bya mu ttaka naddala zaabu.

Avuga emmotoka ez’ebbeeyi era bw’aba mu bbaala, agulira abantu bonna omwenge nga bwe mubaamu abayimbi b’ayagala naddala Desire Luzinda, amuwa ssente, kumpi kumuggwa mu nsawo.

Waliwo lwe yayiira Jose Chameleone, Irene Ntale ne Sheebah ssente mu bbaala ya Guvnor abantu ne batya mu December wa 2015.

Mu February w’omwaka guno, yaleese omuyimbi Omucongo, Kofi Olomide okubaawo asanyuse abantu ku mukolo gw’amazaalibwa ge (aga Pemba) ku Speke Resort e Munyonyo era kiteeberezebwa nti ku mukolo ogwo, yasaasaanya obukadde nga 100.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yategeezezza Bukedde nti, okukwata Pemba kyaddiridde Omuzungu gw’abadde akolagana naye okwekubira enduulu mu kkooti ng’agamba nti yamuwa ssente n’atazimusasula.

Omwaka oguwedde, Omuzungu Steve Stavropolos yagenda mu kkooti n’awawaabira Pemba gw’alumiriza okumuwa ddoola 756,257 (2,722,525,200/-), okusuubula kyokka n’atatuukiriza bweyamo.

Ekiwandiiko kya kkooti Bukedde kye yafunyeko kkoppi tekiraga byabusuubuzi bye baali bakkaanyizzaako. Kigambibwa nti Pemba yava ku ndagaano ne ssente n’atazimuddiza.

Omuzungu kwe kusalawo ensonga okuzitwala mu kkooti entaawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi nga guli ku nnamba ‘509 of 2016’.

Ekiwandiiko kiragira poliisi yonna mu ggwanga erabye ku Pemba okumukwataasobole okusasula ssente.

Pemba yakwatiddwa era ng’oggyeeko ssente ezimubanjibwa, alina okusasula endala 31,766,272/- , ezisaasaanyiziddwa mu kuwaaba n’okutambuza omusango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba