TOP

Sasha alangidde Big Eye obwenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

Ebigambo abiyisizza mu luyimba lw'atuumye "Kambite"

Lang 703x422

Big Eye ne Sasha Brighton

‘‘KAMBITE, kambite mukwano ebya laavu mbikooye, Kambite kambite mukwano ebya laavu bintamye, Oh... ndifuna omulala, gyali owange eyantonderwa, Omutima gwange gumenyese omusajja gwe mbadde njagala byonkoze ne bye wansuubiza enkumu nkizudde leeti nti wali olimba. Future yange ogyonoonye … nga temwesigwa mmwe.... Abasajja abasajja mbatadde mbiwumudde kale muntamizza obwenzi.”

Bino bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Sasha Brighton olupya ‘Kambite’ olutandise okwogeza abantu ebikankana nga bagamba nti mwayise okulaga obulumi bw’ayitamu n’okuddiza muninkini we Big Eye omuliro olw’okumukyawa.

Wadde Sasha bino abiwakanya agamba ayimbye ku mbeera abaagalaana ab’enjawulo gye bayitamu.

Bw’oluwuliriza amakulu agalulimu n’ekiseera we lufulumidde toyinza kwawukana n’abo abagamba nti ayimbye ku Big Eye abangi gwe babadde bamanyi nga muganzi we.

Big Eye essaawa eno alina omukazi nkubakyeyo Debbie Lavis (Nantongo Debbie Suzan) gwe yayingizzaawo ng’era bw’omubuuza ebya Sasha tayagala kumanya.

Sasha twayogedde naye ku luyimba luno n’obulamu bwe obwa bulijjo era emboozi yatambudde bweti.

Sasha Brighton y’ani?

Nze Joweria Karungi, muwala w’Omuky. Aisha Kiyingi e Wobulenzi mu Luweero. Nnyimbira mu Da Nu Eagles.

Big Eye okukusuulawo gufuuse musango otuuke n’okumukubamu oluyimba?

Hahaha… leeka naawe nze siyimba ku Big Eye, oluyimba naluyiiya dda lwakuba ndufulumizza mu kiseera kino.

Sasha totulimba, mubadde mwagalana?

Nedda, ebyo bigambo by’abantu era nabigumira kubanga sisobola kugaana muntu kwogera ky’ayagala.

Ssinga Lutaaya akuwa okukulira Da Nu Eagles, kiki ky’oyinza okukyusaamu?

Sirina kubanga buli kimu kitambula bulungi.

Bagamba Lutaaya abanyigiriza n’abamu mwagala kuvaayo?

Ebyo bigambo by’abantu, ffe tuli basanyufu na buli kimu kyatukolera.

Amaanyi go mu kuyimba gali ludda wa?

Eddoboozi esseeneekerevu n’endabika yange ebinnyambye okufuna abawagizi abangi n’emikwano.

Kusoomozebwa ki kw’osanze mu kuyimba?

Olumu menyeka olw’ebigambo ebingi bye banjogerako omuli n’okunjagaza abasajja be simanyi.

Wasemba ddi okukaaba?

N’omwezi guno nkaabye ate buli lwe mpulira oluyimba ‘Kambite’ mpisibwa buli nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiru7 220x290

Kirumira akubye ku bbebi Kaweesi...

Kirumira akubye ku bbebi Kaweesi eriiso n'amwenya

Kiru8 220x290

Omala annyonnyodde lwaki yeeyimiridde...

Afande Omala eyeesowoddeyo okweyimirira Kirumira ategeezezza kkooti nga bw'agenda okufuba okulaba nga Kirumira...

Yi2 220x290

Kirumira bamukkirizza okweyimirirwa:...

Kirumira bamukkirizza okweyimirirwa: Ayimbuddwa kati alya butaala

Kola 220x290

Temusuulirira mizannyo - Ssekandi...

OMUMYUKA wa Pulezidenti w'eggwanga, Edward Ssekandi akubirizza Bannayuganda okwettanira emizannyo kuba gisobola...

Aaaaaaabig703422 220x290

Musagala anattunka ne Cheptegei...

RONALD Musagala 25, oluvannyuma lw’okwolesa ffoomu mu mpaka z’eggwanga eza Cross Country ezaabadde e Jinja, agattiddwa...