TOP

Abamu ku babadde balya Ssemwanga mu ngalo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2017

ABAMU ku bacakaze ababadde balya ku ssente za Ivan Ssemwanga na kati bakyamu­tenda ekisa.

Ivancash1 703x422

Abadigize nga bagujjubanira ensimbi Ssemwanga ze yabakasukira ku kabaga akamu mu 2015 mu Ambience e Bukesa.

ABAMU ku bacakaze ababadde balya ku ssente za Ivan Ssemwanga na kati bakyamu­tenda ekisa.

Omumbejja Leilah Zalwango (abeera Makindye)

Ono tagwangako mukolo guliko Ivan Ssem­wanga era agamba nti buli November ne December buli mwaka abadde abeera mu kwesunga bubaga bwa Ssemwanga naddala aka ‘Made of Money’ akatera okubeera ku Guvnor oba ku Silk Liquid e Bugoloobi.

Agamba nti ye okutuuka ku Ssemwanga, yasala magezi n’ayitira mu Eddie Kyeyune muganda wa Ssemwanga naye owa Rich Gang ng’atya Ivan.

 ailah alwango ne ddie yeyune muganda wa semwanga ku uvnor omwaka oguwedde Lailah Zalwango ne Eddie Kyeyune muganda wa Ssemwanga ku Guvnor omwaka oguwedde.

 

Kyeyune bwe yamugamba nti bo balya n’abantu tebagaana ayagala kubeera nabo, awo we yagumira n’atandika okulya ku ssenteye.

Sirwaniranga ku ssente Ssemwanga z‘abadde akasuka. Nze zibaddenga zimpita ku mutwe nga ntudde nabo mu bbaala gy’abaddenga aziriira. Nze nga Ssemwanga abadde ampa ssente ng’omuntu nti kwata.

Olumu twali mu bbaala ya Ambience e Bukesa ku kabaga ka White and Red eyo 9. Siryerabira lunaku olwo mu December wa 2015. Nange nnali ng’afuuse owa Rich gang.

Nasaba Kyeyune antuuse ku Ssemwanga n’akikola era natuula awo nga bwendya n’okunywa byonna ebya buli ngeri ate nga bya bbeeyi! Okuva olwo nakwatagana n’abaana abo ng’era December bw’atuuka omutima ngumbera wamu.

Ekirungi kya Ivan abadde akuwa ssente nga teweraliikirira nti anaazikusasuza mu ngeri ng’abasajja abalala bwe baba balowooza.

Abavubuka b’ennaku zino, bw’akuwa obusen­te akusaba birala naye Ivan abadde tasabiriza birala…. Bye mutegedde.

Ivan yammalamu amaddu ga sssente, salon­dako ssente bampa nga buwi engeri gyen­abanga nabo ku mmeeza emu. 

 Ekya Ssemwanga kinkubye wala – Bukenya 

 ONO gwe baakazaako erya Muvawala ng’abeera Boston. Agamba nti Ssemwanga abaddenga amuwagira nnyo mu byonna by’ategeka buli lw’akomawo awaka mu December.

Muvawala agamba nti tafunye ssente ya Ssem­wanga yonna mu kaasi wabula okumuwagira mu by’akola nga ye (Muvawa­la) pulomoota w’ebintu ebingi.

Agamba nti Ssemwanga abaddenga amagamba nti obulamu bwa kiseera era ng’akozesa ekigambo ‘tujooge’ ekitegeeza okulya ssente ennaku zino.

Agamba nti yamulaba dda nga tanafuna ssente era ng’omutima gwe gwa kugaba.

Anyumya nti omwaka guno mu mwezi gw’okuna, yasisinkana Ssemwanga bwe yabadde wano e Kampala ne bakkaanya ng’agenda kumugobera empapula agende mu Amerika ku mukolo gw’olukungaana lwa Ban­nayuganda e Miami.

Ekyamuggye enviiri ku mutwe kwe kuwulira ate nti afudde. 

 semwanga ne harles ukenya uvawala ku kkono ku kabaga ka ed and hite Ssemwanga ne Charles Bukenya (Muvawala) ku kkono) ku kabaga ka Red and White.

 

 Tunywedde buli kika ky’omwenge - Peter Matovu 

 Nze Ivan simulabanga mu bantu abali ba ssente mu ggwanga muno. Nze natuuka n’okwewa omulimu gy’ali nga ndaba yeetaaga obukuu­mi ne mba omu ku bamukuuma.

Olumu ne bwe yabanga ne ssente entono mu nsawo, ng’asobola okubuwa abantu abali awo n’atambula nga talinaamu. Nze mbaddenga ne Ivan buli lw’abaddenga mu ggwanga naye nga bw’obeera naye omanyira ddala nti ensi eteredde.

Tewaba kizibu, era tewaba nnaku. Ivan abadde musajja wa kisa nnyo ng’abantu abamu abanywesa ne ku mwenge gwe batasobola kwegulira mu nsawo zaabwe.

Abadde ng’alimu amasan­nyalaze agasika abantu okuyiika w’ali.

Kale ng’oyinza okugamba nti baba bamusuubiramu omwenge n’okulya okw’obwereere kyokka nga weebuuza bamanya batya gy’ali kubanga emikolo egimu abaddenga tagiranga naye nga bayiika.

N’abamabaala babadde bamufu­namu nnyo kubanga babaddenga bawa abantu ne banywera bwer­eere olwo ne bamukuba bbiiru omulundi gumu ate nga yonna agisasula.

Nkugambye, tunywedde omwenge wansi w’enjuba nange nenzikiriza nti kyekyo. Ky’ova olaba bwe baamubise, nawunze.

Nze nategeezezza ne maneja we ow’omu Uganda essimu (Henry) Kato, kyo­kka kitalo. 

 semwanga ne eter atovu Ssemwanga ne Peter Matovu.

 

 Jackie Tabingwa 

 ONO ye yatandika akabaga k’oku bbaala ya Ambience aka eya White and Red oluvannyuma n’etwalibwa Sheila Don Zella.

Ivan Ssemwanga teyamuwanga ssente ku kabaga kano kyokka yamusabanga abeerewo olumu bankuba kyeyo ababeera mu Amerika ng’oyinza okugamba nti be baali bannannyini mukolo.

 ackie Kackie

 

Kino kyali kityo kubanga Jacky eyagutandikawo abeera Boston.

Ebyembi bankubakyeyo b’e South Afrika nga bakulembeddwamu Ssemwanga baagubabbako ne batandika kuyiwaayiwa ssente mu bacakaze omwali n’Abamerika ne kisukka.

Obunyuvu bw’omukolo ogwo bwawaliriza Jacky okuddamu okwaniriza Ssemwanga ne banne aba ‘Rich Gang’ bacamule omu­kolo.

Jacky ng’omuntu takwatanga ku ssente ya Ssemwanga okuggyako okusanyusa abagenyi be nga kye kyavaako ekivvulu ekyo okubaa­wo buli December okukwata ennyo ne Don Zella n’akiryawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hot2 220x290

Bawawaabidde ab’e Mukono lwa bajeti...

Bawawaabidde ab’e Mukono lwa bajeti

Gat2 220x290

Pulezidenti Museveni alambudde...

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala