TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Baabano abeesowoddeyo okusikira esswaga lya Ssemwanga

Baabano abeesowoddeyo okusikira esswaga lya Ssemwanga

By Martin Ndijjo

Added 2nd June 2017

Ng’oggyeko okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi, okukasuka ssente n’okucakaza abantu ssaako okubagabula omwenge mu bbaala ez’enjawulo buli lw’ayingirawo, Ssemwanga abadde aleetawo ebbugumu n’okuvuganya okw’amaanyi mu bavubuka abalya obulamu era bangi babadde bamwepikira okumumenyawo.

Cheune1 703x422

Cheune ng’afuuwa Sheebah ssente. Baali ne Ssemwanga.

Bya Martin Ndijjo
OKUFA kw’omugagga Ivan Ssemwanga kulese Bannayuganda
naddala abadigize n’abanyumirwa obulamu bw’okulya esswagga n’okutuusa kati beebuuza omuntu agenda okumuddira mu bigere.
 
Ssemwanga w’afiiridde nga bangi bamukazizzako lya kabaka w’okulya esswagga mu ggwanga olw’obubadi n’ebintu ebirala by’azze akola omuli okumansa ssente ebimuwadde ettuttumu
n’emikwano.
 
Ng’oggyeko okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi, okukasuka ssente n’okucakaza abantu ssaako okubagabula omwenge mu bbaala ez’enjawulo buli lw’ayingirawo, Ssemwanga abadde aleetawo ebbugumu n’okuvuganya okw’amaanyi mu bavubuka abalya obulamu era bangi babadde bamwepikira okumumenyawo.
 
Embeera eno esinga kweyoleeka mu biseera bya December nga bankubakyeyo (abasama) bayingiddewo.
 
Baleeta mmotoka ez’ebbeeyi mwe batambulira, okutegeka obubaga obw’okumu kumu kwe balagira ssente.
 
Embeera eno yeeyolese ne mu kuziika e Nakaliro mu Kayunga abantu abamu bwe baavudde ku ky’okukungubaga ne badda mu kwebuuza abagagga n’abantu abalala be basuubira okuba ne ssente baddire Ssemwanga mu bigere mu kumansa ssente.
 
Bino we bibeereddewo nga waliwo n’abamu ku bavubuka abavuddeyo abeepika nga buli omu agamba y’ayagala okudda mu kifo ky’omugenzi era abamu baliko n’obubadi bwe batandise okukola mu mbeera ey’okulaga esswagga.
 
Abas inga b’e South Africa Bangi ku bavubuka bano bakolera South Africa era bagamba nti tebayinza kukkiriza muntu kuva mu nsi endala okudda mu bigere bya Ssemwanga.
 
Bagamba nti ng’oggyeko okulya obulamu, Ssemwanga akoze nnyo okukyusa n’okusitula erinnya lya Bannayuganda abakolera e South Africa era w’afiiridde ng’abatadde ku maapu.
 
“Edda nga bw’oyogera nti okolera South ng’abantu bakuyita musawo wa kinnansi naye kati Bannayuganda abakolera e South Africa batumanyi ng’abagagga era mu December bwe tukungaana
n’abakolera mu mawanga amalala tubabuutikira naye kino kyonna kivudde ku bulamu n’ebintu Ssemwanga by’abadde akola,’’  Moses Kibombo mukwano gw’omugenzi nga naye akolera South
Africa bwe yagambye.
 
Abamu ku bavubuka abaagala okudda mu kifo kya Ssemwanga n’ebibakwatako.
 

 

Don Bahat
Amannya ge amatuufu ye Bahat Lubega mutabani wa Yunisi Ssebyala mu Ndeeba wano mu Uganda ng’abeera n’e Bulenga gy’alina amaka.
 
Ono yeewuunyisiza abantu abaamulabye mu kusaba okw’okwebaza emirimu gy’omugenzi bwe yapangisizza mmotoka y’ekika kya Limozin mwe yatambulidde ng’ataddeko ekigambo ‘Don Bahat’.
 
Ono akolera South Africa ne Zambia era alina kkampuni ezimba amayumba eya Donz Events and Construction ne bizinensi endala eya Donz Supermaket mu mawanga gano gombi.
 
 
okudda mu bigere by’omugenzi na lwaki yettanira ebintu by’esswaga, yazzemu nti “lwakuba mwe muliyita sswagga naye ffe obwo bwe bulamu bwe tubeeramu ebweru ate ekikwatagana ne ssente nzirina awakana lindirira December ojja kukakasa kuba nnina okutwala mu maaso esswaga lya Ssemwanga.”

 

 
Harvey
Ono amannya ge amatuufu ye David Asiimwe abeera Cape Town, Gordons Bay ate wano mu ggwanga asula Ntinda mu ministers village ng’azaalibwa Itendero mu Shema disitulikiti.
 
E South Africa alina kkampuni ya Itindero Boys General Trading etunda n’okupangisa mmotoka ez’ebbeeyi nga n’abasinga okuzipangisa be bayimbi n’abazannyi ba firimu abazikozesa mu ntambi zaabwe.
 
Akolera ne mu mawanga amalala okuli; Malawi, Namibia ne Botswana. “Ssente nzirina lwakuba mbadde sirabika nnyo mu bintu bya sswagga wano mu ggwanga naye ab’e Cape Town oba SK Mbuga basobola okukubuulira.
Ssemwanga w’avudde sirabawo ayinza kumuddira mu bigere okuggyako nze”
 
Mu lumbe e Muyenga yatambudde n’abawala babiri era omu obwedda y’amukwatira essimu ng’ayogera.
 
Alina amayumba g’abapangisa e Seeta, Kira ne Bunnamwaya awamu ne ffaamu e Mbarara.

 

 
Prince MJ
Amannya ge mu bujjuvu ye James Muyanja alina oluganda ku Ssemwanga era mu kuziika e Kayunga omu ku baabadde ba MC, Issa Musoke yamwanjudde ng’azze mu kifo kya Ivan nga ye
yakulembeddemu ne banne okuyiwa omwenge ogw’ebbeeyi mu ntaana n’okumansamu ssente.
 
Kigambibwa omugenzi ye yamulaga ekkubo erikola ssente. Abeera Johannesburg mu South Africa era eno akolerayo emirimu egy’enjawulo.
 
Alina amasomero okuli n’agayigiriza abantu okuvuga mmotoka. Wano mu ggwanga asula Muyenga.

 

 
Fred Ssekyanja;
Ono ye mumyuka w’omugenzi ku kifo ky’abaddeko ekya pulezidenti wa Bannayuganda ababeera e South Africa.
 
Ssemwanga abadde ng’oma nnene naddala ebintu by’abadde akola mu bulamu buno obw’okulya esswanga era simanyi oba ku ffe waliwo ayinza okutuuka mu bigere bye.
 
Bw’oyogera ku ssente zo tuzirina naye omutima okuzisaasaanya nga Ssemwanga bw’abadde akikola sikiwa nti kuffe waliwo agulina naye nze nga Ssekyanja wadde sigenda kutuukiriza ddala ebyo Ssemwanga by’abadde akolera abadigize mbasuubiza okubanaazako amaziga g’omugenzi.

 

 
Gitawo ne Meddie Ssentongo
Bano mu 2015 baakola ekibiina kya ‘The Money team Africa’ (TMT) okuvuganya ekya Rich Gang ekya Ssemwanga kyokka ne balemererwa okumumenyawo kati bagamba nti kye kiseera okudda ku maapu era bagenda kufuba okutumbula obulamu omugenzi bwabadde atambuliramu.
 
“Ssemwanga y’abadde akulembera mu kumansa ssente n’oddako Meddie na Gitawo. W’atali kitegeeza nti kati ffe abaliko.” Meddi bwe yagambye.
 
Adamz Dumba
Kibi Ssemwanga muganda waffe era mukwano gwaffe yatugenzeeko kuba bwe tubadde tweyagalira mu bulamu buno.
 
W’atali tetusobola kugamba nti ensi ekomye awo okuggyako okugenda maaso n’okukola ebyo by’abadde akola. Eno ensi y’okulya
obulamu tugenda kugitambuza.
 
Don Zella.
Nzikiriza Ssemwana y’abadde asinga mu kintu kino kuba akikoledde ebbanga. Kati ndi mu Amerika situdde wabula nkola ssente era mu
December ‘nyingirawo’ kuzimansa era nteekateeka n’okukolayo obubaga njagala kuvuganya n’abasajja okulaba nga nze adda Ssemwanga w’avudde.

 

 
Edward Cheune;
Ono bwe babadde bakulira ekibiina kya Rich Gang ne Ssemwanga era ku lwa bammemba abalala agamba amanyi ekitiibwa kya Rich Gang kirina okusigalawo wadde baviiriddwaako Ssemwanga.
 
Nze nsomesa kukola ss ente-SK Mbuga
Sulayimaani Kabangala Mbuga bwe yatuuse e Kayunga abantu bwe
baamaze okumusaasira okuviibwako mukwano gwe Ssemwanga abamu kwe kumugamba nti ssebo kati ggwe gwetusigazza okutuwa ku ssente abalala babeera mu bya ‘kwesudiya’.
 
Wabula Mbuga bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yagambye nti ye obulamu bw’esswagga n’okusula mu bbaala ng’acakaza abantu tebumukolera kati yadda mu kya bamusigansimbi ng’atandikawo
bizinensi n’okuteekawo eby’obugagga ebitali bimu era mwetegefu okusomesa n’okuyamba kw’abo abaagala okuyiga okukola ssente so ssi kuzimansa.
 
Njako.
Amannya ge amatuufu ye Moses Nkoyooyo ng’abasinga bamumanyi nga Micky. Ono naye mugagga era alina amakampuni agawerako okuli; Njako Auto, Njako land & Property Developers, Njako Tour & Travels, Njako Financial Services n’enddala.
 
Mu kuziika Ssemwanga ye yakoze ku by’okunywa obwedda ebigabulwa abakozi be.
 
Yacamudde nnyo abantu obwedda abamulaba abamu ne batuuka n’okumusaba nti olw’omutima omugabi gw’alina nga ogw’omugenzi lwaki tadda mu kifo kye.
 
Kyokka bwe yabuuziddwa yagambye nti obulamu bwe bwanjawulo era ebiseera ebisinga abeera mu kuddukanya bizinesi ze.

 

 
Ebifudde Ssemwanga ow’enjawulo mu sswagga
  • Mu 2012 yaleeta emmotoka ekika kya Lamb n’akkakkanya abaali batandise okumwelijjako
  • Okutikka abantu ku mmeeri n’abacakaza ku bwereere.
  • Okukasuka ssente mu bbaala ez’enjawulo abantu ne balonda.
  • Okulaga bandali za ssente mu ddoola ng’olumu
  • alaga nti yeebaka nazo
Bya Martin Ndijjo
OKUFA kw’omugagga Ivan Ssemwanga kulese Bannayuganda
naddala abadigize n’abanyumirwa obulamu
bw’okulya esswagga n’okutuusa kati beebuuza
omuntu agenda okumuddira mu bigere.
Ssemwanga w’afiiridde nga bangi bamukazizzako
lya kabaka w’okulya esswagga mu ggwanga
olw’obubadi n’ebintu ebirala by’azze akola
omuli okumansa ssente ebimuwadde ettuttumu
n’emikwano.
Ng’oggyeko okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi,
okukasuka ssente n’okucakaza abantu ssaako
okubagabula omwenge mu bbaala ez’enjawulo buli
lw’ayingirawo, Ssemwanga abadde aleetawo ebbugumu
n’okuvuganya okw’amaanyi mu bavubuka
abalya obulamu era bangi babadde bamwepikira
okumumenyawo. Embeera eno esinga kweyoleeka
mu biseera bya December nga bankubakyeyo
(abasama) bayingiddewo.
Baleeta mmotoka ez’ebbeeyi mwe batambulira,
okutegeka obubaga obw’okumu kumu kwe balagira
ssente.
Embeera eno yeeyolese ne mu kuziika e Nakaliro
mu Kayunga abantu abamu bwe baavudde
ku ky’okukungubaga ne badda mu kwebuuza
abagagga n’abantu abalala be basuubira okuba ne
ssente baddire Ssemwanga mu bigere mu kumansa
ssente.
Bino we bibeereddewo nga waliwo n’abamu ku
bavubuka abavuddeyo abeepika nga buli omu
agamba y’ayagala okudda mu kifo ky’omugenzi era
abamu baliko n’obubadi bwe batandise okukola mu
mbeera ey’okulaga esswagga.
Abas inga b’e South Africa
Bangi ku bavubuka bano bakolera South Africa
era bagamba nti tebayinza kukkiriza muntu kuva
mu nsi endala okudda mu bigere bya Ssemwanga.
Bagamba nti ng’oggyeko okulya obulamu, Ssemwanga
akoze nnyo okukyusa n’okusitula erinnya
lya Bannayuganda abakolera e South Africa era
w’afiiridde ng’abatadde ku maapu.
“Edda nga bw’oyogera nti okolera South
ng’abantu bakuyita musawo wa kinnansi naye kati
Bannayuganda abakolera e South Africa batumanyi
ng’abagagga era mu December bwe tukuhhaana
n’abakolera mu mawanga amalala tubabuutikira
naye kino kyonna kivudde ku bulamu n’ebintu
Ssemwanga by’abadde akola,’’ Moses Kibombo
mukwano gw’omugenzi nga naye akolera South
Africa bwe yagambye.
Abamu ku bavubuka abaagala okudda mu
kifo kya Ssemwanga n’ebibakwatako.
lDon Bahat
Amannya ge amatuufu ye Bahat Lubega mutabani
wa Yunisi Ssebyala mu Ndeeba wano mu Uganda
ng’abeera n’e Bulenga gy’alina amaka.
Ono yeewuunyisiza abantu abaamulabye mu
kusaba okw’okwebaza emirimu gy’omugenzi bwe
yapangisizza mmotoka y’ekika kya Limozin mwe
yatambulidde ng’ataddeko ekigambo ‘Don Bahat’.
Ono akolera South Africa ne Zambia era alina
kkampuni ezimba amayumba eya Donz Events ne
bizinensi endala eya Donz Supermaket mu mawanga
gano gombi. Bwe yabuuziddwa oba anaasobola
okudda mu bigere by’omugenzi na lwaki
yettanira ebintu by’esswaga, yazzemu nti “lwakuba
mwe muliyita sswagga naye ffe obwo bwe bulamu
bwe tubeeramu ebweru ate ekikwatagana ne ssente
nzirina awakana lindirira December ojja kukakasa
kuba nnina okutwala mu maaso esswaga lya Ssemwanga.”
lHarvey
Ono amannya ge amatuufu ye David Asiimwe
abeera Cape Town, Gordons Bay ate wano mu
ggwanga asula Ntinda mu ministers village
ng’azaalibwa Itendero mu Shema disitulikiti.
E South Africa alina kkampuni ya Itindero Boys
General Trading etunda n’okupangisa mmotoka
ez’ebbeeyi nga n’abasinga okuzipangisa be bayimbi
n’abazannyi ba firimu abazikozesa mu ntambi
zaabwe. Akolera ne mu mawanga amalala okuli;
Malawi, Namibia ne Botswana.
“Ssente nzirina lwakuba mbadde sirabika nnyo
mu bintu bya sswagga wano mu ggwanga naye ab’e
Cape Town oba SK Mbuga basobola okukubuulira.
Ssemwanga w’avudde sirabawo ayinza kumuddira
mu bigere okuggyako nze”
Mu lumbe e Muyenga yatambudde n’abawala
babiri era omu obwedda y’amukwatira essimu
ng’ayogera. Alina amayumba g’abapangisa e Seeta,
Kira ne Bunnamwaya awamu ne ffaam e Mbarara.
lPrince MJ
Amannya ge mu bujjuvu ye James Muyanja
alina oluganda ku Ssemwanga era mu kuziika e
Kayunga omu ku baabadde ba MC, Issa Musoke
yamwanjudde ng’azze mu kifo kya Ivan nga ye
yakulembeddemu ne banne okuyiwa omwenge
ogw’ebbeeyi mu ntaana n’okumansamu ssente.
Kigambibwa omugenzi ye yamulaga ekkubo erikola
ssente. Abeera Johannesburg mu South Africa
era eno akolerayo emirimu egy’enjawulo. Alina
amasomero okuli n’agayigiriza abantu okuvuga
mmotoka. Wano mu ggwanga asula Muyenga.
lFred Ssekyanja;
Ono ye mumyuka w’omugenzi ku kifo
ky’abaddeko ekya pulezidenti wa Bannayuganda
ababeera e South Africa. Ssemwanga abadde
ng’oma nnene naddala ebintu by’abadde akola mu
bulamu buno obw’okulya esswanga era simanyi
oba ku ffe waliwo ayinza okutuuka mu bigere bye.
Bw’oyogera ku ssente zo tuzirina naye omutima
okuzisaasaanya nga Ssemwanga bw’abadde akikola
sikiwa nti kuffe waliwo agulina naye nze nga
Ssekyanja wadde sigenda kutuukiriza ddala ebyo
Ssemwanga by’abadde akolera abadigize mbasuubiza
okubanaazako amaziga g’omugenzi.
lGitawo ne Meddie Ssentongo
Bano mu 2015 baakola ekibiina kya ‘The Money
team Africa’ (TMT) okuvuganya ekya Rich Gang
ekya Ssemwanga kyokka ne balemererwa okumumenyawo
kati bagamba nti kye kiseera okudda ku
maapu era bagenda kufuba okutumbula obulamu
omugenzi bwabadde atambuliramu. “Ssemwanga
y’abadde akulembera mu kumansa ssente
n’oddako Meddie na Gitawo. W’atali kitegeeza nti
kati ffe abaliko.” Meddi bwe yagambye.
Adamz Dumba
Kibi Ssemwanga muganda waffe era mukwano
gwaffe yatugenzeeko kuba bwe tubadde tweyagalira
mu bulamu buno. W’atali tetusobola kugamba
nti ensi ekomye awo okuggyako okugenda maaso
n’okukola ebyo by’abadde akola. Eno ensi y’okulya
obulamu tugenda kugitambuza.
lDon Zella.
Nzikiriza Ssemwana y’abadde asinga mu
kintu kino kuba akikoledde ebbanga. Kati ndi
mu Amerika situdde wabula nkola ssente era mu
December ‘nyingirawo’ kuzimansa era nteekateeka
n’okukolayo obubaga njagala kuvuganya n’abasajja
okulaba nga nze adda Ssemwanga w’avudde.
lEdward Cheune;
Ono bwe babadde bakulira ekibiina kya Rich
Gang ne Ssemwanga era ku lwa bammemba abalala
agamba amanyi ekitiibwa kya Rich Gang kirina
okusigalawo wadde baviiriddwaako Ssemwanga.
Nze nsomesa kukola ss ente-SK Mbuga
lSK MBUGA
Mbuga bwe yatuuse e Kayunga abantu bwe
baamaze okumusaasira okuviibwako mukwano
gwe Ssemwanga abamu kwe kumugamba nti ssebo
kati ggwe gwetusigazza okutuwa ku ssente abalala
babeera mu bya ‘kwesudiya’.
Wabula Mbuga bwe yabuuziddwa ku nsonga eno
yagambye nti ye obulamu bw’esswagga n’okusula
mu bbaala ng’acakaza abantu tebumukolera kati
yadda mu kya bamusigansimbi
ng’atandikawo
bizinensi
n’okuteekawo
eby’obugagga ebitali
bimu era mwetegefu okusomesa n’okuyamba
kw’abo abaagala okuyiga okukola ssente so ssi
kuzimansa.
lNjako.
Amannya ge amatuufu ye Moses Nkoyooyo
ng’abasinga bamumanyi nga Micky. Ono naye
mugagga era alina amakampuni agawerako okuli;
Njako Auto, Njako land & Property Developers,
Njako Tour & Travels, Njako Financial Services
n’enddala. Mu kuziika Ssemwanga ye yakoze ku
by’okunywa obwedda ebigabulwa abakozi be.
Yacamudde nnyo abantu obwedda abamulaba
abamu ne batuuka n’okumusaba nti olw’omutima
omugabi gw’alina nga ogw’omugenzi lwaki tadda
mu kifo kye. Kyokka bwe yabuuziddwa yagambye
nti obulamu bwe bwanjawulo era ebiseera ebisinga
abeera mu kuddukanya bizinesi ze.
ebifudde Ssemwanga ow’enjawulo mu ss wagga
vMu 2012 yaleeta emmotoka ekika kya Lamb
n’akkakkanya abaali batandise okumwelijjako
vOkutikka abantu ku mmeeri n’abacakaza ku
bwereere.
vOkukasuka ssente mu bbaala ez’enjawulo
abantu ne balonda.
vOkulaga bandali za ssente mu ddoola ng’olumu
alaga nti yeebaka nazo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini