TOP

Bukedde Tv ekoze enkyukakyuka mu mpeereza okwekuumira ku ntikko

By Martin Ndijjo

Added 7th July 2017

OKUTANDIKA n’omwezi gwa July, Bukedde Ttivvi ekoze enkyukakyuka mu mpeereza yaayo ku mukutu gwa Bukedde I mwereetedde pulogulaamu empya n’obuzannyo obunyuvu.

March 703x422

MUJJA KUNYUMIRWA: Okuva ku kkono: Alozious Matovu Joy, Ssenkubuge ne Benon Kibuuka. Bakubeera ku Bukedde TV ku Lwomukaaga.

Ng’ayanjula enteekateeka eno empya, Moses Kasasa avunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mukutu gwa Bukedde I, yategeezezza nti kino kikoleddwa okwongera embavu mu Bukedde Ttivvi okusobola okwenywereza mu kifo ekisooka, okuwa abalabi n’abalanzi ekyo kye beetaaga awatali kuva ku mulamwa gw’okuweereza omuntu waabulijjo.

Mu nkyukaakyuka ezikoleddwa waliwo pulogulaamu eziggyiddwa ku mpewo, endala bazigasse nga mu kifo kya pulogulaamu ebbiri oba essatu n’efuuka emu ate waliwo n’ezo ezongeddwamu obudde abalabi okwongera okuzinyumirwa.

Pulogulaamu empya l Kuliko akazannyo k’Abakorea akalagibwa okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano. Kava ku ssaawa 12:30 oku- tuuka ku 1:00 ez’olweggulo.

l Ekibooziboozi abantu mwe bagenda okwogerera ku nsonga eziriwo oba ezookya mu kiseera ekyo mu ggwanga ng’etandika ku ssaawa 10:00 okutuusa 10:30 ez’olweggulo okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano.

l Firimu ya Katandikabutandisi ekomyewo. Egenda kulagibwa okuva ku Mmande okutuusa Olwokutaano okuva ku ssaawa 8:30 ez’emisana okutuusa 10:00 ez’olweggulo.

l Bannakatemba ba Bakayimbira bagenda kukuwa ebinyuma buli Lwamukaaga okuva ssaawa 12:30 oz’olwegulo okutuusa 1:00.

l Obuzannyo obulala kuliko: I won’t forget okutandika 5:30 ez’oku makya okutuusa 6:30 ez’emisana okuva ku Mmnade okutuusa Olwokutaano, Lara’s Choice okutandika 8:00 ez’emisana okutuusa 8:30 ez’emisana okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano ate Untill My Last Breath ne Fierce Angel nabwo nga buzannyo buddibwamu emisana.

l Kasasa agamba nti amawulire ‘Agataliiko Nfuufu’ nagwo gwongeddwamu amaanyi n’okulaba nga gongera okuleeta n’okulaga ensonga ezikwata ku bantu mu bitundu byabwe.

l Pulogulaamu ya Akayissanyo egattiddwa ne Muziki ku luguudo ne zifuuka pulogulaamu emu eragibwa okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano okuva ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo okutuuka ku 12:30.

l Pulogulaamu ya Tusaasaanya ne Liso ku liso zigattiddwa mu Ful doz etandika ku 5:00 ez’ekiro okutuusa 7:00 ez’ekiro.

l Pulogulaamu y’Ekyenkya kya Wiikendi eyongeddwamu obudde kati etandika 12:00 ez’oku makya okutuusa 2:00 ez’oku makya buli Lwamukaaga.

l Kuuma omubiri eragibwa ku makya eyongeddwamu ebinonoggo, abantu abajjumbizi ba pulogulaamu eno nga bayita mu kuwereeza obubaka bwa SMS bagenda kusunsulwamu buli luvannyuma lwa myezi esatu era abanaayitamu bajja kutendekebwa abasomesa abakugu.

l Kasasa yagasseeko nti pulogulaamu endala omuntu gy’atateekeddwa kusubwa ye pulogulaamu y’Ebyobulamu, Science wo ne Dr. Spe ebeerawo buli Ssande okutandika ku ssaawa 1:30 ey’akawungezi okutuusa 2:00 ez’ekiro kubanga erimu eby’okuyiga bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Njiri 220x290

Omulabirizi atutte e Namirembe...

OMULABIRIZI wa Ankole yakubiddwa emizira ng’abuulira enjiri y’okukola n’okufuna ssente e Namirembe ku mikolo gy’okufundikira...

Kiwaani 220x290

Pulezidenti baamusibye kiwaani...

Ekyuma ky'amata Pulezidenti kye yatongozza kyogezza ab'e Kawempe ebikankana oluvannyuma lw'okukitwala amangu ddala...

Kimala 220x290

Ensibuko y'erinnya Uganda

ERINNYA Uganda lyava mu kigambo Buganda oluvannyuma lw’Abaswayiri abaawerekera Abazungu okujja kuno nga tebasobola...

Kabenje3 220x290

Omu afudde mu kabenje ka loole...

LOOLE ya seminti eyingiridde ey’omusenyu ku lw’e Masaka okukakkana ddereeva omu n’afiiriwo ate abalala 5 ne baddusibwa...

Kleziabobi1 220x290

Bobi Wine atutte famire mu Klezia...

Bobi Wine agenze mu Klezia e Gayaza n’agamba nti agenda kuttukiza okuwakanya omusolo gwa ‘Mobile Money’ kubanga...