TOP

Abantu ab’enkwe bantamizza emikwano - David Lutalo

By Deo Ganyana

Added 21st July 2017

OMUYIMBI David Lutalo bw’agenze akula n’okufuna emikwano, n’ayongera okuzuula abantu baakolagana nabo.

Mpala1 703x422

David Lutalo

Mu mbeera eno akubye oluyimba lwe yatuumye ‘‘Omuntu’’ mwe yeebuuliza ekintu ekiyinza okusanyusa omuntu ku nsi. Deo Ganyana yawayizzaamu naye n’amunnyonnyola ekyamubagudde okuyimba ebigambo by’obusagwa.

Abayimbi tubamanyi ng’abalanzi era abayimba akibali ku mitima, omuntu yakukola ki okutuuka okumwekokkola bw’otyo?

Oluyimba luno saalweyimbira ng’omuntu wadde ng’ebimu nange bintuukako naye abantu abasinga bannanfuusi.

Lwaki oluyimbye mu kiseera kino?

Nali nawandiika dda oluyimba luno lwakuba mbadde sinnaba kulufulumya ng’ate lulimu amakulu mangi. Wabula abantu tebalowooza nti nalukubye olw’okuba nafunye obutakkaanya n’abategesi b’ebivvulu.

Kibi ki omuntu kye yali akakukoze n’owulira ng’omenyese omutima ?

Ebintu bingi naye ebisinga mbifunamu eby’okuyiga kubanga omusajja tolina kubeera awo ng’okaaba buli kiseera.

Naye kirabika olina abantu abakuwalana nga sitera kukulaba mu ntalo nga bayimbi balala?

Abo tebabulayo mu buli mulimu ate bwe kituuka ku guno ogwaffe kisukka lwakuba nze enjawulo gye nnina sibiteeka mu lujjudde nga balala.

Abayimbi bangi baagala okukolako naawe kolabo naye nti oli muzibu nnyo?

Siri muzibu naye nze nnina enkola eyange. Omuyimbi alina okuba ng’alina ekitone ky’okuyimba ate nga mwetegefu okusasula ebisale byonna okugeza situdiyo, vidiyo n’okulutambuza ku mikutu gya leediyo ne TV. Bwe tukkaanya kwekyo awo sibeera na buzibu.

Enkolagana yo ne Grace Nakimera ekoma wa?

Ekoma ku kuyimba era bwe tuba tetuyimba sirina kirala kye njogera naye.

Bw’oba toyimba mirimu ki emirala gy’okola?

Bizinensi yange esinga enkulu ya kuyimba era gye nsinga okuteekamu ssente. Wabula gye bujja ng’enda kutandika okulunda n’okulima.

Bakugeraageranya nnyo ku Chameleone ne Bebe Cool, lwaki bo tolina kolabo nabo?

Abo mikwano gyange era twogera ku nsonga nnyingi naye tebannaba kuntuukirira era bwe banaaba baagala nange nkyagala nja kukyaniriza .

Naye abakazi nga bakuyaayanira nnyo!

Ekizibu sisobola kwagala nsi yonna wadde abamu babeera n’ekirowoozo ekyo era mbatwala nga bawagizi bange ate mikwano gyange kubanga n’abamu mbafuuwa ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...