TOP

Jessie Diva azze kuvuganya Sheebah

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2017

Mwanamuwala Jessica Babirye eyeeyita Jessie Diva enzaalwa y’e Mityana y’omu ku bayimbi abapya abatabukidde ekisaawe ky’okuyimba ng’ayagala kwesimba mu muyimbi Sheebah Karungi.

Mana 703x422

Bw’omuwulira ng’ayimba, atuula bulungi mu bigere bya Sheebah Karungi naddala ng’afubutuka ebigambo okukira bano abavubuka abatontoma.

Ennyimba za Jessie Diva zirimu ekidongo ekisindogoma okukira laddu era abadigize abaziwuliddeko bamutegeera kubanga bw’alinnya ku siteegi aleka akyankalanyizza akafo n’obutaleka muntu mu ntebe.

Kwe kugamba nti alina amaanyi gw’okusanyusa abantu ekimuleetera obutabbowa bakyakaze.

Oluyimba lwe olupya yalutuumye ‘Party Animal’ era nga lwogera ku bantu abalya ku ssente zaabwe naddala mu budde bw’ekiro.

Kuno kwagatta endala nga: Tubiddemu, Nyumirwa, n’endala. Agamba nti alina essuubi ly’okukuba omuziki asukkulume ku Sheebah.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...

Tega 220x290

Bazzukulu ba Ssekabaka Ssuuna batabuse...

EBY’ETTAKA ly’e Lubowa ku lw’e Ntebe gavumenti ly’eyagala okuwa yinvesita azimbeko eddwaaliro ery’omulembe byongedde...

Kakiiko 220x290

Abaana ba Muteesa bongedde bwiino...

OMULANGIRA David Wassajja azzeeyo mu kakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire ku by'ettaka ly’e Mutungo eryali...