TOP

Ababaka ababalyamu olukwe mubanyiigire - Walukagga

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

OMUYIMBI Matthias Walukagga alumbye ababaka ne bannabyabufuzi abaagala okuleeta ekiteeso eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’okuleeta obuwaayiro obutwala ettaka ly’abantu n’agamba nti abo be basinga okuba abalabe b’eggwanga.

Kola 703x422

Matthias Walukagga

Yategeezezza nti abantu bwe baba bawakanya ebiteeso nga bino kitegeeza kunyiiga ekivaako obuzibu era bano be baba batabangudde eggwanga.

Ate eggwanga bwe litabanguka tomanya anaayisibwa bubi n’agenda okufunamu bwatyo n’asaba abantu okwewala ebintu ebiyinza okuleeta obutabanguko.

Obubaka buno obw’obusagwa abuyisizza mu luyimba lwe olupya ‘‘Munyiiga ddi’’. Awa ekyokulabirako nti ku mbeera y’eby’ettaka, ensi nga Rwanda, Syria, Isreal zirwana lwa ttaka.

Kyokka omuntu asobola okubeera omwavu n’agumira embeera ng’alina waasula ng’era bwava okunywamu n’addayo nti wano we wange.

Kyokka ekiseera bwe kituuka nga ne waabadde asula batwalawo awo omuntu waava n’afuna obusungu okukkakkana ng’eggwanga litabuse.

Alumbye ababaka abasussa omululu ne bava ku bye baasuubiza abaabalonda ne batuuka mu palamenti ne badda mu kulya ssente n’okuyisa amateeka agatayamba bantu bwatyo n’asaba abalonzi okusibira abantu ng’abo ekikookoolo.

Walukagga omu ku bayimbi ba Kadongokamu ab’amannya azze akuba ennyimba ezirimu obubaka nga:

‘Bakoowu, Uganda esaana kuviira, Ekibuzizza emirimu ne Prison Break lw’agenda okutongoza ku Lwokutaano luno ku Club Obligatto, Afro Club Kasangati ku Lwomukaaga ne Maria Flo e Masaka ku Ssande.

Yabalabudde obutayisa mateeka mufu kubanga kijja kukosa abaana n’abazzukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...