TOP

Walukagga ne Vincent Ssegawa batabaganye

By Musasi wa Bukedde

Added 26th October 2017

MATHIAS Walukagga ne Vincent Ssegawa bayimbi ba Kadongokamu. Buli omu agamba nti akira ku munne mu kusumulula olukoba era baludde ebbanga nga tebalima kambugu. Bbo abawagizi baabwe babadde batandise n’okubityebeka nti ‘‘eyaloga abayimbi bano embugo tannazissa’’.

Segawa 703x422

Fr. Lugobe lwe yagezaako okutabaganya Vincent Ssegawa ne Walukagga ne beerema.

Kino kyava ku Walukagga ne Ssegawa okusisinkana mu Klezia ya St. Agnes e Kibuye, Rev. Fr. Lugobe n’abayita mu maaso g’Abakristu batabagane kyokka Ssegawa n’agaana okukwata Walukagga mu ngalo nga buli omu alumiriza munne okuba omubi.

Wabula w’osomera bino ng’enjogera yakyuse dda.

Omulogo embugo yazisizza dda ne batuula ku mmeeza emu ne beesika mu mikono ne basalawo okuva mu bya gundi ondoga, bakulaakulanye omuziki gwa Uganda ne Kadongokamu.

Okukakasa kino bategese ekivvulu kye batuumye ‘‘Basisinkanye mu kkonde evvannyuma’’ gye bagenda okuyimbira ku siteegi emu ekibadde kirudde okubeerawo. Bakitadde ku Bat Valley Theatre enkya ku Lwomukaaga ne ku Ssande. Okuyingira 20,000/-.

ANDREW BENON KIBUUKA ABATUUZIZZA

Abbey Musinguzi omutegesi w’ebivvulu yategeezezza nti Ssentebe w’ekibiina ekigatta abayimbi, bannakatemba ne bannabitone mu ggwanga, Andrew Benon Kibuuka yaayimiridde wakati w’abantu bano kyokka era obwedda buli omu awera ng’olutalo baluggye mu kwesojja ne baluzza mu kuyimba nga buli omu agamba nti agenda kumukuba omuziki adduke ku siteegi.

Okwewala ekikonde okunyookera ku siteegi, babiyingizzaamu bannakatemba ba Bakayimbira Dramactors omuli Charles James Ssenkubuge, Benon Kibuuka n’abalala aba Ssuubi Entertainement eya Hajji Ashraf Ssemwogerere.

Bano be bagenda okubeera ku siteegi nga bazannya katemba, okusala empaka n’okutaasa embeera si kulwa ng’abayimbi beegwa mu malaka.

Kibuuka yagambye nti kino kigenda kubeera kibbiitu kyennyini nga Walukagga bw’aleeta Lwera Part 1 ne Bakoowu nga Ssegawa ayingizaawo Lwera Part II ne Balemeddwa Okwekolera.

Walukagga yagambye nti agenda kukuba ennyimba ze zonna okuli: Bakoowu, Prison Break, Kiwuggulu, Uganda esaana kuviira, Ekibuzizza emirimu, K’ogikwatako n’endala ate Vincent Ssegawa aleete: ‘‘Balemeddwa okwekolera, Nswanjere, Lwera, Omukazi weka, Siisiri, Ameefuga mu bufumbo, Sirimba ne Basajja kubula’’ abantu beesalirewo asinga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda