TOP

Tuzudde Nice Yesigye, Lutaaya gwe yazaalamu omwana

By Moses Lemisa

Added 3rd November 2017

Ssente mmeka Lutaaya z'akuwa buli mwezi kkooti ze yamulagira? Ampa emitwalo 59 nga kuliko eza lenti w'enju, ez’okulya n’ebisale by’omwana eby’essomero naye era tezimala kuba jjukira ebintu bikyuka buli kiseera era nfundikira omwana ku ssomero nange mwongereddeko kuba ne lenti w'ennyumba baamulinnyisa, tekyali wa 120000/ nga bwe kyali mu 2009.

Niceyesigyeeyalimuganziwalutaaya10 703x422

Nice n'omwana we Nambatya, Lutaaya gwe yamuzaalamu

TUZUDDE  Nice Yesigye eyali muganzi  w’omuyimbi Geoffrey Lutaaya gwe yazaalamu n'omwana n'atubuulira embeera  gy'alimu gattako enkolagana ye ne Lutaaya. 

Kinnajjukirwa nti mu 2009, Nice yatabukira Lutaaya ng'entabwe eva ku Lutaaya kugaana kulabirira mwana Milan Nambatya gwe yamuzaalamu. 

Omusasi waffe Moses Lemisa yamutuukiridde emboozi n'egwa amakerenda.

Nice nga tokyawulikika? 

Mwendi ensi gye ntwala gye ndaga kuba si byangu 

Omwana gwe wazaala mu Lutaaya  wamumuwa oba obeera naye? 

Ndeka omwana wange Milan Nambatya mulina era kati asoma kibiina kya 4 ku ssomero erimu e Zana.

 

Lutaaya abawa obuyambi?

Obuyambi abutuwa naye bwa mbirigo era singa teyali kkooti y’e Makindye ku mulagira singa tatuwera ddala kuba amala emyezi nga tatuwadde, naye bwe ngenda ku kkooti ne bamukubira azisasula.

Simaanyi wafunayo omusajja omulala n’omuzaali? 

Kituufu nafuna era nazaala omwana omuwala kati wa myaka esatu  wabula tetubeera ffembi kyokka obuyambi bw’omwana abumpa.

Lutaaya yategera nti wazaala?

Akitegedde mwaka guno  nti nazaalayo omwana mu musajja omulala ng’era kirabika waliwo eyandaba n’amubuulira.

Kyamuyisa kitya ng’akitegedde? 

Lwe yategeera yankubira essimu n'ayomba nti lwaki nnazadde ekitegeezza ssente z'atuwa zirabirira n’omwana w’omusajja omulala ekitali kituufu kuba omusajja gwe nnazaalira omwana we abadde ampa obuyambi bwe.

Ssente mmeka Lutaaya z'akuwa buli mwezi kkooti ze yamulagira?

Ampa emitwalo 59 nga kuliko eza lenti w'enju, ez’okulya n’ebisale by’omwana eby’essomero naye era tezimala kuba jjukira ebintu bikyuka buli kiseera era nfundikira omwana ku ssomero nange mwongereddeko kuba ne lenti w'ennyumba  baamulinnyisa, tekyali wa 120000/ nga bwe kyali mu 2009.

 

Kyogamba temukyeyagala ne Lutaaya?

Nze ne Lutaaya enkolagana gye tulina ya mwana yokka. Okuva lwe yannyimbira oluyimba lwa 'ABASAJJA BAKOMBOOZA' sisobola kuddamu kumwagala ate ekirala Irene Namatovu eyali muggya wange simulinaako buzibu kuba ebiseera ebisinga Lutaaya bw’alwawo okutuwa ssente nkubira Namatovu  n'azituwa.

Olinayo luyimba ki olupya?

Oluyimba lwange olupya nnalutuumye 'IKWENEYA' nga luli mu nnimi bbiri; Oluganda n’Olunigeria nga lwa mikolo gy’okwanjula n'embaga.

Mpozzi nninayo n'ennyimba endala okuli; Nsazeewo, Ndibassa nga luno nnaluyimba ne Sliver Fumbe.

Lwaki oyagala nnyo okuyingirira amaka g’abafumbo? Lutaaya we mweyagalira wali okimaanyi mufumbo kyokka n'akuzaalamu omwana ate n’omusajja omulala eyakuzaddemu naye mufumbo!

Sirina kyakukuddamu naye ky’olina okumaanya teri musajja w’omu ate oluusi omusajja bw’aba akukwana ebiseera ebimu takubuulirirawo nti mufumbo obizuula luvannyuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...