TOP

Abayimbi bawandiisizza ekibiina ekibagatta

By Martin Ndijjo

Added 30th November 2017

Abayimbi bongedde okutabukira aba UPRS, bawandiisiza ekibiina mwe bagenda okuyita okulwanirira eddembe lyabwe n'okulaba nga bafuna mu myuziki gwe bakola.

Art1 703x422

Okuva ku ddyo: Angella Kalule ng'ayogera, Julius Kyazze, Silver Kyagulanyi, Mesach Ssemakula ne Dr. Hilderman mu lukiiko.

ENTEEKATEEKA z'abayimbi mu ggwanga okulaba nga baddamu okufuna mu myuziki gwe bakola ziri mu ggiya nnene.

Oluvannyuma lw’okuvaayo omwezi oguwedde ne batandikawo ekiwayi ekyatuumiddwa ‘Save Ugandan music’ nga bagamba nti bakooye abantu abatyoboola ekitiibwa kyabwe n’aba URPS abasoolooza ssente zaabwe ne babawaako butono, kye kiseera okulwanirira eddembe lyabwe, okuzzaawo ekitiibwa ky’abayimbi n’okulaba nga bafuna mu nnyimba zaabwe.

Ku Lwokubiri abakulira akakiiko akaateekebwawo okukulemberamu ekisinde kino baatuuzizza olukiiko lw’abayimbi ku Victoria Resort e Munyonyo ne banjulira bammemba we batuuse n’enteekateeka eno.

muyimbi orothy abunjo ngayogera mu lukiikoOmuyimbi Dorothy Nabunjo ng'ayogera mu lukiiko

Julius Kyazze, okuva mu Swangz Avenue era nga ye ssentebe w’akakiiko kano yategeezezza nga bwe bamaze okwewandiisa mu mateeka nga kati beeyita Uganda Musician Association.

Nga tebannaba kujjuza ffoomu ezibakakasa ku bwammemba mu kibiina kino, abamu ku bayimbi abanene era abaludde mu nsiike y’okuyimba okwabadde; Silver Kyagulanyi, Mesach Ssemakula n’abalala baatutte obudde okubannyonnyola ebigendererwa bye baliko ne basaba bayimbi bannaabwe okuwa ekitiibwa olukiiko olwalondebwa okubakulembera nga lye limu ku makubo mwe bajja okuyita okutuuka ku buwanguzi.

kuva ku kkono ngella alule ulius yazze atherine usasira ne salongo eoffrey kayemba nga bakafuluma mu lukiikoOkuva ku kkono: Angella Kalule, Julius Kyazze, Catherine Kusasira ne Ssalongo Geoffrey kayemba nga bakafuluma mu lukiiko.

Ye Catherine Kusasira ne Ssalongo Geoffrey Kayemba (maneja wa Rema Namakula) bagamba nti kye kiseera abayimbi okwerwanako kubanga kati bakolera abo abakozesa myuziki waabwe, ebivvulu tebikyafuna ate n’aba UPRS babasiba katambaala ku maaso babalyako ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Byansaba nnaabisobola?

Nnina omuwala gwe nafunye naye ansaba tutuukire kumu ku ntikko. Bino simanyi oba nnabisobola.

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.