TOP

Olutalo lwa Zari ne muggyawe lufuuse nnamulanda.....

By Martin Ndijjo

Added 25th December 2017

OLUTALO wakati wa Zari Hussein ne Don Zella bwe bavuganya mu nsiike y’okulya obulamu terunnaggwa.

Z2 703x422

Abawagizi baabwe babadde balowooza nti okugugulaana n’okuwanyisiganya ebigambo okubadde kugenda mu maaso wakati waabwe kwakomye ku bubaga bwe baakoze ku Lwokuna ekiro abamu kye baayise okwepima eryanyi kuba buli omu yafunye abantu wadde ng’aba Zari baasinzeeko.

Ate kati Hamisa Mabetto ng’ono ye muggya wa Zari naye asitudde buto olutalo ku Zari bwe bagabana omusajja era omuyimbi Diamond Platinumz.

Hamisa eyaleeteddwa Don Zella yasoose kulangira Zari nti mukyala mulimba obwedda abuzaabuza n’okuwudiisa abantu ng’ateeka ebifaananyi ebikadde eby’obubaga bwe obukadde ku Face book okulaga nga bw’ajjuza akabaga akaabadde ku Guvnor.

Yagasseeko nti era yeewunya Zari n’abantu be aboogerera akabaga ka Don Zella akaabadde ku Club Play nti tekwabaddeko bantu era Hamisa wano yatadde ku Face book ye ebimu ku bifaananyi ebyakubiddwa ebiraga abantu nga bw’abuuza nti bano si bantu?.

Kyokka abawagizi ba Zari ekya Hamisa okulumba omuntu waabwe kibasaanudde nabo ne bamwambalira nti talina nsa kulumba muntu waabwe amusinga mu buli kimu era waliwo n’abamu obwedda abateeka ebifaananyi by’ababiri bano nga bwe bebuuza nti ku bombi ani asinga obulungi abalala nti Hamisa kiki ky’anoonya okulumbira Zari ku butaka.

Don Zella yasasudde Hamisa obukadde 20 okujja okumulwanirako. Wadde nga tayogera muwendo gwa ssente awamu ze yatadde mu Hamisa gw’agamba nti yamuleese kwongera maanyi na ssanyu ku kabaga ke so ssi kumulwanira lutalo, Don Zella akkiriza anti ono yamutaddemu ssente nnyingi. “Buli kimu ekya Hamisa nze eyakikozeeko.

Namusasulidde tikiti z’ennyonyi bbiri eza VIP doola 2000 ku nnyonyi ya Rwanda Air, eyiye n’eya maneja we era zino bazinsedde kubanga ‘bookingi’ nagikoze kikereezi.

Ennaku ssatu z’amaze mu ggwanga ng’asuula mu VIP suite ku Hotel Africana nasasudde doola 1,500/- n’ezokwetaba ku kabaga.

Zari eggulo yazzeeyo mu Tanzania ng’agamba nti agenze kutegekera omwana we akabaga k’amazaalibwa. Wabula ababisoma bagamba nti kirabika yabadde yeetegula mbeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...