TOP

Olutalo lwa Bebe Cool ne Kenzo luyingiddemu abayimbi abalala

By Martin Ndijjo

Added 19th January 2018

Olowooza lwaki nkolagana n’abayimbi bonna okuggyako Bebe Cool! Musajja mukulu naye simanyi lwaki emyaka gye tagiwa kitiibwA-KENZO

Chamililela1 703x422

Chamili ng'aleze Gravity ne Bebe Cool ng'aleze A Pass

Bya MARTIN NDIJJO NE JOSEPHAT SSEGUYA

OMWAKA 2018 abayimbi abanene bagutandikidde mu kulwana ntalo nga bayomba n’okwerangira ebisongovu.

Beegattiddwako abayimbi abalala abaalemwa okukola obulungi omwaka oguwedde nakati nga tebalina kya maanyi kye balaga ne beerippa ku lutalo okulaba nga bannamawulire n’abawagizi baboogerako.

Olutalo olwogerwako era olufuuse nnamulanda luli wakati wa Eddy Kenzo ne Bebe Cool nga luva ku lukalala lw’abayimbi (lisiti) Bebe Cool gye yakoze ng’agamba nti be bayimbi abasinze okukola obulungi omwaka oguwedde.

Eddy Kenzo teyamutaddeko. Abayimbi abalala nabo baamulumbye nga bagamba nti yakola bifu n’atabassaako ate abalala nti ne Bebe Cool yennyini anoonya kukola linnya naye tasaana ku lukalala lwe yakola.

Ekyamaze eggobe mu kibya ye Chameleone eyalabye ng’olutalo lumulese bbali (naye teyali ku lukalala) okusalawo okukoppa Bebe Cool by’akola.

Yalabye aleze muyimbi munne A Pass bwe baabadde mu pulogulaamu emu ku Ttivvi nga bateesa ku by’okuyimba naye n’ayita Gravity Omutujju ne beekubya ebifaananyi ng’amuleze batere bamwogereko.

Ekikuba encukwe, be bamu ku bayimbi be wandirowoozezza nti eby’entalo tebikyabayamba kubanga banene ate okuzibeeramu.

Okugeza Jose Chameleone, Eddy Kenzo ne Bebe Coo n’abalala abazze basaba Bannayuganda okubeegattako mu kibiina kya ‘Save Ugandan Music’ okugoba myuziki omugwiira naddala ow’Abanigeria.

Kyokka mu kifo ky’okukola olutalo ku myuziki ono ate be batandise okwerwanyisa ekintu ate ekizza myuziki emabega.

 eo teady Geo Steady

 

BEBE COOL AMPALANIRA MUKAZI

lEddy Kenzo alowooza nti Bebe Cool obutamussa ku lukalala kiva ku mpalana ya mukyala we Rema Namakula okuva mu kibiina kye ekya Gagamel ate n’atuuka gyali n’akola bulungi nnyo ng’era w’osomera bino y’omu ku bakyala abasinga okukuba omuziki.

Wadde Kenzo yakuutira abayimbi okukolera awamu mu 2018 ng’ali mu kivvulu ky’okuyingiza abantu omwaka ku Sheraton Hotel nga December 31, 2017, olutalo yabadde tayagala lumuleke bweru n’agamba nti:

 Olowooza lwaki nkolagana n’abayimbi bonna okuggyako Bebe Cool! Musajja mukulu naye simanyi lwaki emyaka gye tagiwa kitiibwa.

Ate kati nsazeewo kumwesonyiwa kubanga nkizudde buli lwe mwogerako mwongera ttutumu ng’ate yaggwaamu dda. Yagasseeko nti nkimanyi Bebe Cool yafuna ‘akasajja’ ku mutima bwe naganza Rema naye nze ndowooza ekya laavu yange ne Rema talina kyayinza kukikolera okuggyako okunneesonyiwa n’akola ebimuzimba ne famire ye.

  ass

Bebe Cool amuddiza omuliro

Nze siyinza kukola lutalo na Kenzo omuyimbi omuto. Oyo ayomba lwa kuba yagwa n’obutamussa ku lukalala lw’abayimbi abakoze obulungi mu 2017.

Ate alina okukikkiriza nti ssaamussaako kubanga teyayimba bulungi ate bw’aba teyamatira n’ebyange bye nakola, akole olukalala olulwe. Kenzo mwana muto ku nze mu buli kimu.

Yansangawo era agenda kundekawo ng’abayimbi abalala. Myuziki wa Kenzo abadde wa mukisa bukisa naye ffe tutobye tuutwo Kenya, Congo, South Africa, Nigeria nga tulwana n’abayimbi baayo ne tusajjakula.

Mmaze emyaka egisoba mu 18 nga nnyimba sikyetaaga kwogerwako oba okukakasa omuntu yenna kubanga nasala dda ‘layini’ Kenzo gy’atannasala era sisuubira nti anaagisala.

Kenzo bw’aba muto, lwaki yerijjira ku nze omusajja omukulu n’atanoonya bato banne. Mwewuunya okudda ku nze ng’abayimbi nga Fik Fameica, YKee Benda bamuyitako. Jose Chameleone ayogedde Kirowoozebwa nti Chameleone y’apika abayimbi abalumba Bebe Cool ku lukalala lwe yakola kuba naye taliiko.

Kyokka bwe yabuuziddwa ku lutalo luno yagambye: ‘‘Tekiwoomera matama abiri. Bebe Cool waddembe okukola olukalala lw’abayimbi be.

Nze nga Chameleone sikyalina be nkakasa ku myaka 18 gye mmaze nga nnyimba. Abakyanoonya okukakasa abantu be bayinza okudda mu by’okukaayana olw’olukalala’’.

Ku ky’okukoppa Bebe Cool, naye ne yekubya ekifaananyi ng’aleze Gravity Omutujju, Chameleone agamba nti, okusanyusa omuntu tekitegeeza kuyimba oba kulinnya ku siteegi kwokka naye okukola n’ebirala ebisanyusa abawagizi bo.

Yagasseeko nti takyayinza kudda mu ntalo kubanga byaggwaako ne yeewera okuddamu okukaabya bayimbi banne mu myuziki omwaka guno era ali mu ffumbiro afumba.

 enzo ne ema Kenzo ne Rema

 

ABAYIMBI ABALALA ABAYINGIDDE MU LUTALO

A- Pass alumbye Latinum Kati oyo muyita ‘Collateral damage’ kwe kugamba nabadde nkakasa Geosteady obutamanya ky’aliko ate laba Latinum bwe yeereeta mu ggaapu era oyo mubala ng’omugenzi eyabadde talina kufiira mu lutalo lutamukwatako.

Yategeezezza nti ekizibu kyava ku A - Pass kumulengezza nti talina by’ayimba. Agamba nti, ekizibu kya A Pass ayombera butamussa ku lukalala lwa Bebe kyokka ate n’ayingizaamu naye ataaliko ku baagikola.

Nze ndowooza tetukwatagana na Geosteady era kati njagala omuntu gwe nnyinza okuyimba naye ng’alinamu ku nnyimba eziwera ate nga nnungi nga Eddy Kenzo. Wano abawagizi ba A-Pass we baakubidde obugologoosi nga bulaga emitwe gya Barbie J ne Geosteady nga bagitadde ku mibiri gy’abaana abato babasibye nnappi.

Ekirala ekyamutabudde be bantu obwedda abamulengezza nga bagamba nti ssinga si malala ye yandibadde mu kifo kya Geosteady eyabadde ku lisiti.

A-Pass naye lisiti ya Bebe Cool yamutabudde n’ayomba n’okulumba bayimbi banne omwabadde ne Bebe Cool.

Yamugambye nti ekisooka tamanyi Lungereza era mutiitiizi nnyo kyova olaba nga n’olukalala lw’abayimbi lwe yakola teyanteekako. Kati njagala nnyimbe omwaka guno ategeere nti nsobola era ajja kunteekako ku kifuba.

Era wano we yatandikidde n’okulumba Geosteady ng’agamba nti talina makulu bw’aba ayagala ‘‘battle’’ bategeke ekivvulu amulageko kubanga si kiraasi ye anoonye banne ba Barbie J. Ono gwayogerako yakoma ku luyimba lwa ‘Sumbuusa’ n’azikira.

Bino byanyiizizza Barbie J n’alumba A-Pass ng’agamba nti ebintu byonna by’akola biraga omuntu eyaggwaamu ng’anoonya gwe yeerippako okudda engulu. Geosteady ayanukudde A Pass Nga A - Pass amaze okussa obufaananyi bwa Barbie Jay ne Geosteady ng’abukoze mu katuuni, Geosteady yassa akafaananyi ya katuuni ya A Pass ng’alinga akazimu.

Agamba nti abawagizi ba A Pass bali ku ‘soso midiya’ ekitegeeza nti ne bw’abeera ayagala kukola ‘battle’ ne A Pass tekisoboka kubanga tebasobola kujja mu kivvulu n’ennyimba talina.

Weasel alumbye Bebe Cool

Oyo Bebe Cool n’ennyimba z’ayimba zandibadde z’abaana bato nga Fik Famaica n’amulangira agende yeegatte ku mukyala we bakole keeki.

 A Pass

 

Kiki ekiri emabega w’entalo zino?

  • Geosteady: Owooma, Tokendeeza. 
  • Gravity Omutujju: Cricket oval 
  • Spice Diana : Bukete, Anti kale
  • Voltage music: Over dose, Cheza Mama l David lutalo: Kwasa, Wooloolo
  • Irene Ntale: Kyolowooza, Stamina ne Daddy. l Roden y Kabako: Satani, Tonkema
  • Kenzo aludde nga tayogerwako omwaka oguwedde. Asinze kuyimbira bweru wa ggwanga nga kati kati omukisa agulina mu kuyomba.
  • Chameleone alina Champion.
  • A Pass alina olutambi, Yayo era buli lw’avuma omuyimbi yenna, amaliriza ayogera Yayo.
  • Buli muyimbi ali mu lutalo luno, alina ennyimba ze z’ayagala okutambuza ng’ayita mu ntalo.
  • Geosteady alina Wakikyenga era buli lw’avuma A Pass, asembyayo luyimba lwe.
  • Gravity Omutujju alina Embuzi zikutudde.
  • Weasel: Good Lyfe yakka okuggyako ng’entalo ze ziyinza okubazza engulu ssinga balina akapya ke baleese.
  • Barbie Jay: Ono yayimba lumu olwa Sumbusa ne lumutunda era yabalangidde obutaba na nnyimba ng’olulwe olutava ku
  • Ykee Benda: Superman, Eva, Malaika.
  • Fik fameica: Kutama ne Byenyenya. 
  • Sheebah: Rambo, Muwe. 
  • Vinka: Over dose, Malaika 
  • Eddy yawe & Carol nantongo: Tukiggale l Moureen Nantume: Ndi muzadde, Malidadi
  • B2C: Nyongera, Gutamiiza, Akapande.
  • Lydia Jazmine: Nkubanja, Chery, Drum 
  • Bebe Cool: Katono, Mboozi z’amalwa, Nananana, 18 & Over.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda