TOP

Kenzo awandiise omuyimbi omupya Rema ne yeesika

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2018

EMBOOKO y’omuwala Eddy Kenzo gwe yawandiisizza okuyimbira mu kibiina kye agumizza abawagizi ba Rema Namakula ne Kenzo nga bwatazze kuyingirira oba okutabula obufumbo bwabwe wabula azze kukulaakulaanya kitone kye eky’okuyimba.

Genda 703x422

Pia Pounds eyeegasse ku Big Talent (ekibiina kya Kenzo) ku ntandikwa ya wiiki eno okwogera bino kiddiridde abantu okutandika okwogera n’okukimuteekako nti azze kuyingirira bufumbo bwa Rema obumaze ekiseera nga buyuuga era waliwo n’ebigambibwa nti obudde obusinga Kenzo abumala ku situdiyo ng’olumu gy’asula ekintu ekitabula Rema.

Abamu baawandiise ku Face Book nga bamuyita muganzi wa Kenzo omupya bwe bamugeraageranya ne Rema ate abalala ekyabatabudde y’engeri obwedda Kenzo gy’ateeka ebifaananyi by’omuwala ono nga yeesaze obuwero ku ‘peegi’ oba obubaka obumwogerako kumpi buli ssaawa abamu kye baayise okumujanjawaza abalala nti bwekiba nga kya kutumbula muyimbi, lwaki ebya Rema tabiteekayo ate nga naye muyimbi?

Wabula Pia Pounds gwe twayogedde naye yasoose kuwaana Kenzo nti talabanga musajja alina kisa era ayaagaliza nga Kenzo era asuubira okumufunamu ebintu bingi ebbanga ly’anaamala naye.

“Ndi mukyala wa njawuulo, siwankawanka ate mmanyi kyenjagala. Enkolagana wakati wange ne Kenzo ekoma ku bizinensi siri mu bya laavu,” bwe yabagumizza.

PIA POUNDS Y’ANI?

Amannya ge amatuufu ye Tracy Kirabo. Muyimbi mupya ayimba RnB ne Afrobeat ate muyizi ku Yunivasite ya International University of East Africa (IUEA) e Kansanga.

Ali mu mwaka gwe ogusembayo, asoma ddiguli mu by’obusuubuzi ng’asuubirwa okutikkirwa mu December w’omwaka guno.

 ia ounds ngateeka omukono ku ndagaano Pia Pounds ng’ateeka omukono ku ndagaano.

OKUYIMBA KWE

Agamba okuyimba kitone kye era kuva mu siniya ng’ayimba era alinayo n’oluyimba ne Ragga Dee.

Ayongerako nti olw’obwagazi bwa myuziki katono okuyimba kumulemese okusoma kyokka bazadde be bazze bamukubiriza asooke amalirize emisono olwo atandike okuyimba.

AKWATAGANA ATYA NE KENZO

Pia Pounds agamba nti gye buvuddeko ng’ali ku situdiyo ya Kenzo ku Salaama Road gye yali agenze okulaba ku pulodyusa mukwano gwe, Kenzo eyaliwo yamuwulira ng’ayimba kwe kumutegeeza nga bw’alina eddoboozi eddungi era ayimba bulungi olwo kwe kumubuuza oba yandiyagadde obuyambi bwe (obwa Kenzo).

“Ebigambo bya Kenzo nabiraba nga kirabo okuva ewa Katonda anti nga ndaba ekirooto kyange okukola n’omuyimbi omunene kituukiridde mu bwangu.

 ia ounds nga yeekubya selfie ne enzo Pia Pounds nga yeekubya selfie ne Kenzo.

 

Nazzeemu nti nneeyanzizza era wano we waavudde n’okukola endagaano enkakasa mu kibiina era mu kabanga akatono ke mmaze ne Kenzo nkoleddemu ennyimba eziwerako.”

KENZO NAYE ATABUSE

Kenzo obubaka bw’abantu omuli obwedda abamulangira okuganza omuwala n’amusembeza ng’amuyita muyimbi bwamuyitiriddeko n’abatabukira.

Ng’ayita ku Face book yasabye abantu okumussaamu ekitiibwa ne by’akola.

“Nze ne Pia Pounds tuli mu bizinensi era mbasaba mugiwe ekitiibwa n’omuwala mumuwagire saagala ntalo.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...