TOP

Nwagi amansudde omuwagizi we n’amutabukira

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2018

OMUYIMBI Winnie Nwagi yasabalazza abasajja ng’atongoza vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Fire dancer’ bwe yeesaze akagoye akaamulaze amabeere n’olubuto bakira ebyewujjira wabweru.

Bika 703x422

Nwagi yabadde mu bbaala ya Amnesia nga yatuuse ku siteegi ku ssaawa 9:30 ez’ekiro wabula abadigize obwedda bawogganira waggulu n’abalala okutunula mu ngeri y’okwewuunya.

Bakira buli lwe yabadde anyeenya ekifuba ng’oyinza okulowooza nti batenda bulungi bwa luyimba mpozzi nga bali ku nkula ya mabeere n’olubuto.

Waliwo omuwagizi eyamulumbye n’atandika okumusindika olwo abamu ne bagamba nti kirabika yabadde simusanyufu ku byabadde bigenda mu maaso kuba ensawo gye yabadde akutte yagimubisse ku kifuba okumusiikiriza.

Ate abalala baagambye nti ono yabadde muwagizi we ng’abula kufa ssanyu okumulabako ku siteegi.

Abavubuka abaalabise nga bafa amabbabbanyi baagezezzaako okulumba bazineko ne Nwagi kyokka nga bakanyama babatangira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...