TOP

Mayinja ayogedde ebya ddiiru y’e Kiboga

By Martin Ndijjo

Added 2nd March 2018

RONALD Mayinja alumbiddwa oluvannyuma lw’okuyimba ku mukolo gwa NRM e Kiboga ku Ssande. Abamulumba bakimutaddeko nti kye yakoze kimulaze ng’eyasaze eddiiro okuva mu DP n’adda mu NRM. Martin Ndijjo owa Bukedde yayogedde ne Mayinja ku nsonga eno.

Bukedde: Kulikayo e Kiboga ewa Muzeeyi.

Mayinja: Nnavuddeyo naye maama! Saategedde nti neereetera bizibu.

Bukedde: Tebaakusasudde?

Mayinja: Ssente. Kyokka saazisabye nga Mayinja. Saasasuddwa nga Mayinja. Twagenze e Kiboga nga Golden Band. Ekyewuunyisa nnategeeredde Kiboga nti tuli ku mukolo gwa NRM. Okuva e Kampala nagenze mmanyi nti batupangisizza nga Golden Band okuyimba ku mukolo.

Bukedde: Watuuse okukwata Museveni mu ngalo nga tomanyi nti oli ku mukolo gwa NRM?

Mayinja: Bwe nnatuuse e Kiboga ne ntegeera nti omukolo gwa “Kugikwatako”, nnataddewo embeera mbiveemu. Kyokka bannange ne bandabula nti Golden Band si kibiina kya byabufuzi. Bwe ηηaana okuyimba, abaatusasudde ssente bayinza okututwala mu kkooti.

Bukedde: Lwaki tewayimbye “Tuli ku bunkenke, Ani agula ensi oba Tuwalana nguzi?

Mayinja: Abaatusasudde be baalonze ennyimba ze baagala. Nze bandagidde kuyimba “Abalina ssente”.

Bukedde: Nga kibi omuntu omukulu okukakibwa okukola by’otoyagala!

Mayinja: Nnabadde sirina kyakukola. Mujjukira Radio Simba yatupangisa okuyimba mu Kiggunda ne tugaana nga tetwagala kuyimba na Fred Sebatta. Ensi yonna yatulaba bwe twetonda nga Simba etulemeddeko. Olaba Simba y’etufukamiza, olwo Mayinja nze ani ajeemera Gavumenti ennamba?

Bukedde: Walabise ng’asanyuse Mayinja ayogedde ebya ddiiru y’e Kiboga okulaba Museveni.

Mayinja: Oli mukulembeze wa ggwanga. Musajja mukulu. Abayimbi ffenna baatuyise okubuuza Pulezidenti. Bannange ndi musajja mwetoowaze, assa mu bakulu ekitiibwa. Kyandirabise kitya nga nze Mayinja ηηaanyi okubuuza Pulezidenti? Dr. Kiiza Besigye y’asinga okuwakanya Pulezidenti kyokka bwe yafuna omukisa ogumuliraana e Namugongo nga tukyazizza Paapa mu 2015, Besigye yalamusa Pulezidenti ne bakwatagana mu ngalo. Aba FDC e Kasese baagenze ku mukolo gwa NRM. Sebaana Kizito bwe yafa, Museveni n’agendayo okukubagiza ffenna twalaba Bobi Wine, Allan Sewanyana n’abooludda oluvuganya abalala nga bakwata Pulezidenti mu ngalo. Nze Mayinja ndi waakitiibwa okusinga abo bonna?

Bukedde: Mzee twamulabye akukuba akaama.

Mayinja: Pulezidenti yambuuzizza: Mayinja lwaki oli mujeemu? Nnamwanukudde nti siri mujeemu naye siri wa NRM. Balaam n’agattako: Mayinja si mujeemu naye si wammwe. Balaam yagambye akuntwala mu State House. Ebyo bigambo bya Balaam. Nze ndi wa DP. Nfiira ku DP. Bwe kuba kukubaganya birowoozo ku nsonga eziruma Bannayuganda seetaaga kugenda mu State House. Nnina emikwano mu NRM okuli Ruth Nankabirwa, Rose Namayanja, Minisita Haruna Kasolo n’abalala. Abo nsobola okubabuulira ebyange.

Bukedde: Lwaki ggwe wayanjuddwa mu ngeri ya njawulo ku balala.

Mayinja: Aba NRM bagezigezi. Nankabirwa yakozesezza omukisa guno ogwa Mayinja awakanya NRM ate okugenda ku mukolo gwabwe, n’ayagala okunnafuya nga bw’eri nkola y’aba NRM.

Bukedde: Wejjusa okuyimba ku mukolo guno?

Mayinja: Ng’omulwanirizi w’eddembe era owa DP muli kinnuma okuyimba ku mukolo nga guno kubanga nnawakanya era nkyawakanya okugikwatako. Nga munnabyabufuzi sandibadde ku mukolo guno. Kyokka ng’omuyimbi nabadde sisobola kukyebeera. Guno mulimu. Aba DP abalina amaduuka tebaguza ba DP bokka. Baguza aba NRM na buli agenda gye bali. Nange ng’omuyimbi nnyimbira abantu bonna. Ate eno nagenze nga Golden Band saabaddeyo nga Mayinja. Mu bufunze nabadde ku kipakasi.

Bukedde: Aba DP obakoze otya?

Mayinja: Kizibu kinene. Nasoose kubulwa gye ndaga okwennyonnyolako olw’enkaayana eziri mu DP. Oluvannyuma nnagenze ewa Betty Nambooze kubanga y’annyanguyira. Nabuuliddeko ne Paul Mwiru owa FDC okumanyisa abooludda oluvuganya bonna nti ndi wamu nabo. Nambooze namubuulidde ekituufu ekyabaddewo. Ndowooza bonna bajja kukitegeera tugende mu maaso. Ekikulu twawule omukulembeze ku munnabyabufuzi. Nze ndi mukulembeze agatta abantu bonna. Ate munnabyabufuzi alemera ku ludda lwe lwokka.

Bukedde: Kino tekikukosa mu byobufuz?

Mayinja: Mu byobufuzi tunoonya bungi bw’abantu. Ntegeka kwesimbawo Gomba East nga siri ku kaadi ya kibiina kyonna. Ndi ku mulamwa gwa mukulembeze- kitegeeza nneetaaga aba NRM, aba DP na buli mulonzi yenna alina akalulu. Okugenda e Kiboga sikirabamu buzibu. Bwe weetegereza kiyinza kunnyamba kusikiriza ba NRM bampe akalulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...