TOP

Okwanjula kwa Kusasira ne Sserugga kwengedde

By Martin Ndijjo

Added 4th March 2018

“Ka gwake, k’etonnye! guno omwaka ntekwa okwanjula Sserugga mu bakadde bange n’ekyo tukiggale …..” Bwatyo omuyimbi Catherine Kusasira bwe yatandise ng’ayogera ku nteekateeka z’omukolo gwe ogw’okwanjula ezigenda mu maaso.

Wanted1 703x422

Serugga (ku kkono) ng’afukaamiridde Kusasira gye buvuddeko.

Okusinziira ku nteekateeka eziriwo, Kusasira agenda kwanjula bba Fred Sserugga nga 20 April, 2018 e Luwero ate enkiiko eziteekateeka omukolo zitandika okutuula nga March 22, ku Hotel Africana.

Kusasira ne Sserugga bazze balagaanya okwanjula era n’omwaka oguwedde balangirira okukola okwanjula mu June naye tegwaliyo abantu ne batuuke n’okulowooza nti babeera mu katemba.

Wabula Kusasira gwe twayogedde naye yagambye nti emu ku nsonga enkulu ezibadde ziremesa eya ssente ennyingi ezeetagibwa okukola omukolo ogugya mu kittibwa kyabwe enogeddwa eddagala olw’abagagga n’abantu abalala abavuddeyo n’amaanyi okuteeka ssente mu mukolo.

Mu bagenda okussaamu ssente mulimu; Maj. Gen. Proscovia Nalweyiso, Hajjati Aisha, Mariam Namayanja (abakozi mu maka g’Obwapulezidenti) Musa Kavuma n’abayimbi ba Golden band nga bakulemeddwamu Mesach Semakula, Kijjambu, John Mulinde ne Ssalongo Kimera abagagga b’e Masaka, Maama Fiina (asuubirwa okubeera metulooni) Issa Musoke, abooluganda, abawagizi be ne mikwano gye abalala.

SSERUGGA AYOGEDDE

Sserugga bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti mwetegefu era alindiridde lunaku lwa mukolo kyokka asabye abawagizi baabwe okubasabira buli kimu kitambule bulungi.

E LUWERO BATADISE OKUYOOYOOTA

Kusasira agamba olw’obunene bw’omukolo n’abantu abangi basuubira okugwetabako yasazeewo aguteeke ewa Jjaaja we, Joseph Mugabi ku kyalo Lwogi mu Luweero, era baatandise dda okuyooyoota awaka. Muky. Regious Ntege ssenga wa Kusasira naye akakasizza omukolo guno okubaawo n’agamba nti gye buvuddeko Sseruga yakyala ewuwe era kati bali mu kuteekateeka era basuubira buli kimu kijja kutambula bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...