TOP

Zari n’eyali bba Diamond Platnamz bali mu kattu

By Martin Ndijjo

Added 4th March 2018

ZARI Hussein ne taata w’abaana be omuyimbi Diamond Platnumzs ebintu byongedde okuboonoonekera!

Wanna 703x422

Zari ne Diamond ng’omukwano gukyabasaza mu kabu.

Nga waakayita wiiki emu nga baawukanye oluvannyuma lwa Zari okuvaayo n’ategeeza nga bw’akooye ejjoogo n’obwenzi bwa Diamond, ate ababiri bano buli omu afunye ebizibu.

ZARI BAMUKUBYE MU KKOOTI

Nga Zari akyali mu maziga olwa Diamond ‘okumumenya’ omutima, aba kkampuni ya White Party Uganda Ltd bamuloopye mu kkooti nga bamulanga kukozesa linnya lyabwe mu bukyamu.

Bano bagamba nti Zari azze ategeka obubaga mu linnya lyabwe ekimenya amateeka era nga bayita mu bannamateeka baabwe aba M/S Ssekaana Associated Advocates And Consultants.

Baloopye Zari ng’amannya ge amatuufu ye Zaituni Hassan Kiriggwajjo mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala.

Omusango guno gugenda kuwuulirwa ku Mmande nga March 5, 2018 nga guli mu maaso g’omulamuzi Jane Elizabeth Alividza.

Mu mpaaba yaabwe bagamba nti White Party Uganda Ltd yatandiikibwawo nga April 1, 2016 era nga May 6, 2016 n’ewandiisibwa nga White Party Uganda Ltd ne baweebwa ne satifi keeti nnamba 55785 ng’ekigendererwa kyabwe kya kutegeka mikolo.

Balumirizza Zari okutegeeka obubaga mu linnya lyabwe okubuuzaabuza bakasitoma baabwe abatera okubakubira amasimu nga babuuza oba be bategese era kibafi iriza ssente nnyingi.

BAWEZE ENNYIMBA ZA DIAMOND

Diamond Platinumz (Naseeb Abdul Juma) omuyimbi ayogerwako okuba nga y’asinga ‘okwokya’ n’okutunda mu mawanga g’omu buvanjuba bwa Africa ali mu buzibu oluvannyuma lwa Gavumenti ya Tanzania okuvaayo n’ewera ezimu ku nnyimba z’alinamu essuubi okwongera okumutunda mu mawanga g’omu Bulaaya.

Ennyimba za Diamond ezawereddwa kuliko: Waka Waka lwe yakola n’Omumerika Rick Ross ssaako Hallelujah lwe yakola n’abayimbi ba Morgan Heritage.

Diamond y’omu ku bayimbi 15 abalina ennyimba ezaawereddwa obutaddamu kuzannyibwa ku mikutu gy’amawuulire nga kino kyaddiridde okwemulugunya n’ekiragiro okuva ewa pulezidenti John Magufuli ng’agamba nti vidiyo z’ennyimba zino zivvoola obuwangwa.

Vidiyo ya Diamond ne Rick Ross erimu abawala abazina nga kumpi bali bukunya ekiwa ekifaananyi ekibi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit3 220x290

ISO efunye obujulizi ku baayokezza...

ISO efunye obujulizi ku baayokezza abayizi

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko