TOP

Don Bahati, eyasikira omugagga Ssemwanga bamukwatidde Zambia ng’afera

By Martin Ndijjo

Added 10th March 2018

OMUVUBUKA ali mu kibiina kya ‘Rich Gang’, oba muyite ‘omusama’ amanyiddwa mu kulya esswaga n’okuyiwaayiwa ssente buli lw’ajja mu Kampala, Don Bahati ng’amannya ge amatuufu ye Bahati Lubega bimwonoonekedde!

Bahati 703x422

Bahati ne mmotoka gye yali acakaliramu.

Bamukwatidde e Zambia mu kikwekweto ekikoleddwa okufuuza abantu abali mu ggwanga lino mu bukyamu.

Bahati eyeeyita Pulezidenti wa ‘Rich Gang’ ye yadda mu bigere by’omugenzi Ivan Ssemwanga era ye yategeka akabaga ka ‘Money & Power’, akaali mu Club Guvnor nga December 28, 2017 kwe yalagira ssente.

Kigambibwa nti baamuyooledde mu kibinja ky’abasawo b’ekinnansi abagambibwa okufera aba Zambia.

Amawulire g’okukwatibwa kwa Bahati gaasoose kufulumira ku leediyo ya Millennimu Radio 90.5 FM ogumu ku mikutu gya leediyo mu Zambia.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa Namati Nshinka, omwogezi w’ekitongole ekikola ku bantu abayingira n’okufuluma mu ggwanga lya Zambia (The Department of Immigration) yategeezezza nti, Bahati yakwatiddwa ne Bannayuganda abalala 40 nga bano baasangiddwa mu loogi emu e Kamwala e Lusaka we baabadde bakuhhaanidde.

Baabadde mu lukiiko lw’ekibiina kya Bannayuganda ebeegattira mu Association of Ugandan Herbalists nga gye baabasanze ne babakwata nga bagamba nti ekibiina kino tekiri mu mateeka.

Namati yategeezezza nti Bahati ne banne baabalagiddee buli omu okulaga ebiwandiiko ebibawa olukusa okubeera mu Zambia n’okukoleramu nga tebabirina, kwe kubakwata nga kati bagenda kuvunaanibwa emisango egiweerako omuli okubeera mu ggwanga lino mu bukyamu n’okukola emirimu egimenya amateeka.

Bano we babakwatidde nga ne Gavumenti ya South Afrika eri mu kunoonyereza ku bavubuka abali mu kibiina kya ‘Rich Gang’ ne Bannayuganda abalala abagambibwa okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka omuli okufera n’obubbi.

Namati yagasseeko nti Bahati we baamukwatiddwa nga yakamala okuwa engassi oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’akozesa ebiwandiiko bya mukyala we mu bukyamu okuddukanya bizinensi y’okutunda eddagala ly’ekinnansi mu mannya ga ‘Chief Muhamed Herbal Limited’.

Okukwatibwa kwa Bahati mu kibinja ky’abasawo abeeyita ab’ekinnansi kyewuunyisiza abawagizi be kuba ono azze ayogera n’okutegeeza bannamawulire nga bw’ali omusuubuzi ow’amannyi akolera mu South Afrika mu Pretoria ne Lusaka mu Zambia.

Bizinensi zaabadde ayogerako nti zimuwa ssente kuliko; kkampuni ezimba amayumba eya Donz Events and Construction n’eya Donz Supermaket mu Lusaka

Muganda wa Bahati ayogedde

Isma Lubega, muganda wa Bahati ali kuno yategeezezza ku ssimu nti amaze ennaku nga mukulu we tamuwuliza era tamanyi bimufaako.

“Ennaku zino mbadde nnina ebintu bye nkola bingi era maze ennaku nga simuwuliza kale simanyi kiriwo naye nga bw’obihhambye kangezeeko okukuba ku masimu nja kukuddira” Lubega bwe yagambye.

Bwe yabuuziddwa ku bizinensi za Bahati z’akola yagambye nti ye amumanyi ng’omusuubuzi era akola ne bizinensi endala ng’okuzimba amayumba ag’okutunda ng’alina ne supermarket e Zambia mu Lusaka.

Mikwano gye balwana kumununula

Julio Mugerwa, mmemba mu kibiina kya ‘Rich Gang’ era mukwano gwa Bahati gwe twayogedde naye ku ssimu eggulo yategeezezza nti yafunye amawulire g’okukwatibwa kwa Bahati ku Lwokusatu okuva mu mikwano gye ababeera e Zambia era atandise okwogeraganya n’abali mu ggwanga eryo okulaba nga bamuyamba.

“Bahati yafunyeemu obuzibu. Olw’okuba mukwano gwange sisobola butamuyamba era ndi mu kuteekateeka kugenda Zambia ndabe embeera eriwo n’engeri gye tuyinza okumuyamba naye nsuubira buli kimu kijja kuggwa.” Mugerwa bwe yagambye.

Bahati y’ani?

Amannya ge amatuufu ye Bahat Lubega mutabani wa Yunus Ssebyala mu Ndeeba.

Nga tannaba kugenda bweru yasooka kukola gwa butembeeyi ku nguudo z’omu Kampala oluvannyuma yatandika okusuubula ente mu lufuula y’oku luguudo lwa Port Bell mu Industrial Area nga gye yava n’atandika okugenda mu South Afrika nga mu kiseera kino y’omu ku bavubuka abalya ‘kaasi’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?

Teija1 220x290

Bamalaaya banyaze munnansi wa Ethiopia...

POLIISI ekoze ekikwekweeto mu loogi z’oku William Street n’ekwata abakazi mukaaga abakola obwa malaaya abagambibwa...

Kita 220x290

Ebya Kitatta bijulidde

Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo...

Kita 220x290

Ebya Kitatta bijulidde

Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo...