TOP

Omuyimbi Brown Shugar alumiriza muninkini we Sipapa okumukuba

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2018

ENSONGA za pulomoota w’abayimbi Sipapa (Charles Olim) owa ‘SIPAPA Entertainment’ okukuba mukyala we omuyimbi Brown Shugar tezinnaggwa!

Bali 703x422

Abawagizi ba Brown Shugar babiyingiddemu ne basaba abobuyinza n’abalala bekikwatako okusitukiramu bayambe omuntu waabwe.

Bano okuvaayo kiddiridde ebigambibwa nti Sipapa yatabuse ne Brown Shugar n’amukuba mizibu era yatwaliddwa mu ddwaaliro ng’anyiga biwundu.

Ku Mmande emisana, Brown Shugar ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book yataddeko obubaka obulaga bw’ali mu ddwaaliro wakati mu bulumi olw’ebisago ebyamutuusiddwaako Sipapa eyamukubye n’amutwalako n’ebintu bye eby’omu dduuka ne ssente enkalu n’essimu ye.

Nga wayise essaawa emu, yataddeko obubaka obulala ng’alaajanira aboobuyinza okumuyamba ng’agamba nti obulamu bwe buli mu katyabaga ate kiyinza okuba ekizibu Sipapa okukwatibwa avunaanibwe kubanga alina ssente.

Kino tekyamumalidde oluvannyuma yafulumiza ekifaananyi ekiraga ebisago eby’amaanyi bye yafunye mu mugongo ogwabadde gulungudde.

Bino nga tebinnaba kubaawo, amawuulire gaasoose kusaasaana nga galaga nga Brown Shugar bw’afulumizza oluyimba lwe yatumye ‘Nakusimattuka’ abalala baluyita ‘Opponent’ mwe yalumbidde Sipapa n’atuuka n’okumuyita embuzi era abamu ku bantu abali ku lusegere lw’omuyimbi ono bagamba nti kino kye kyanyiizizza Sipapa okumukuba ate abalala baliyise bbuba lya Sipapa.

Oluvannyuma lw’amawulire gano okusaasaana Sipapa naye ng’ayita ku Face book yeegaanyi ekya Brown Shugar okuba mukyala we n’agattako nti abantu si be bamubuulira abakyala b’ayagala.

Mu luyimba luno Brown Shugar ayimba ng’omukyala eyayawukana n’omusajja alojja laavu ey’amakuuli gy’abaddemu n’ennaku gy’alabiddeyo nti kyokka kati afunye ku mirembe.

Akozesa ebigambo eby’enjawulo ebirengeza omwami we omukadde omuli n’okumuyita embuzi n’amaliriza ng’agamba nti kirungi yamusimattuka.

Wadde Sipapa yasoose kwegaana Brown Shugar, wakati mu bigambo n’obubaka abantu bwe babadde bamuweereza nga bavumirira ekikolwa ky’okukuba mukyala we.

Sipapa ayatadde ku mukutu we ogwa Face book ekifaananyi nga Brown Shugar amuleze ng’agamba nti kipya ekyatabudde abantu abamu ne bamuyita katemba w’abayimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja