TOP
  • Home
  • Sanyuka ne wikendi
  • Abawagizi ba Chris Evans bamutaganjudde omutwe okukakasa ebiwundu by'ennyondo ezaamukubwa

Abawagizi ba Chris Evans bamutaganjudde omutwe okukakasa ebiwundu by'ennyondo ezaamukubwa

By Josephat Sseguya

Added 16th June 2018

EBYA Chris Evans n’abawagizibe byafuuse nga bya Yesu abakkiriza bwe baamusaba asooke abalage ku biwundu bakakase oba ye ye gwe baakomerera ku musaalaba.

Mate1 703x422

Abawagizi ba Chris Evans nga bamukebera mu mutwe okwekebejja enkovu z'ennyondo ezaamukubwa

Yabadde mu kivvulu kya Iddi e Nateete ku kizimbe kya Samona Shopping Center era olwalinnye ku sitegi, abawagizi ne bamuyiikira kyokka bangi nga bwe baalookeera okulaba oba ddala ebiwundu bye yayogerako nti baamukuba ennyondo mwenda ku mutwe kwebiri.

Bazze ku sitegi ne berabirako kyokka abamu baavuddeyo batankana ate abalala nga bamusaasira olw’enkovu ze baalabyeko.

Omuyimbi oyo yakubwa mu May w’omwaka guno bwe yali e Lungujja ng’anoonya mmere ku ssaawa musanvu za kiro.

Abayimbi abalala abaasanyusizza abantu kuliko Fred Ssebatta eyayise gwe yayise mutabaniwe, David Lutalo eyasaanudde abantu bonna ne batandika okuyimba naye ekintu ne kikwata akati.

alt=''
alt=''

 

Olwo Willy Mukaabye ne Daxx Kartel baabadde baakava ku sitegi mu kivvulu kino ekyamenye likodi y’okuggwa ng’obudde buyise mu Kampala anti kyawedde zigenda mu munaana ez’ekiro wa bula ng’abantu bagenda mu maaso na kulya ssente.

alt=''

 

Absairaamu n’abatali obwedda basanyuka kyenkanyi naye ng’abatali basiraamu babakuba olwali nga bwe bababuuza wa gye baasiibidde okutuuka okwekulisa ekisiibo bwe batyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...