TOP

Ow'e Mayuge - Busoga awangudde obwannalulungi 2018/19

By Martin Ndijjo

Added 11th August 2018

“Ekitiibwa n’ettendo mbiddiza Mukama Katonda ansobozesezza okuwangula. Era neebaza bazadde bange olw’obuwagizi bwe bampadde. Abawala bwe tuvuganyizza ffena tubadde balungi mu buli kimu era buli omu ng’asuubira okuwangula, kale nze okusukkulumako zibadde nteekateeka za Mukama,” bwatyo Quiin Abenakyo 22, omuyizi ku MUBS, alindiridde okutikkirwa diguli mu (Business Computing) bwe yategeezezza Bukedde

Wasa 703x422

Quiin Abenakyo (wakati), ku kkono ye Trya Margach eyamuddiridde ne Patience Ahabwe Martha eyakutte ekyokusatu.

“Ekitiibwa n’ettendo mbiddiza Mukama Katonda ansobozesezza okuwangula. Era neebaza bazadde bange olw’obuwagizi bwe bampadde. Abawala bwe tuvuganyizza ffena tubadde balungi mu buli kimu era buli omu ng’asuubira okuwangula, kale nze okusukkulumako zibadde nteekateeka za Mukama,” bwatyo Quiin Abenakyo 22, omuyizi ku MUBS, alindiridde okutikkirwa diguli mu (Business Computing) bwe yategeezezza Bukedde amangu ddala nga yaakalangirirwa ku buwanguzi bwa Miss Uganda 2018/2019 ku mukolo ogwabadde ku Serena Hotel Abenakyo era yawangudde n’engule ya nnalungi abantu gwe baalonze abasingidde (Miss Popularity) nga bayita ku mikutu gya yintaneti egy’enjawulo.

Yabakubidde wala naddala mu kwogera nga tatya n’engeri bakira gy’addamu ebibuuzo n’obukugu. Agenda kukiikirira Uganda mu mpaka z’obwannalulungi b’ensi yonna (Miss World) ezigenda okubeera mu China.

Abenakyo muwala wa Charles Ssendeba ne Alice Kyamulesire era azaalibwa Mayuge mu Busoga.

Yaddiriddwa Tyra Margach 20, ate owookusatu ye Martha Aheebwa 20.

Nga tebanaba kulangira muwanguzi Zari yasoose kunnyonnyola ebintu bitaano kwe baasinzidde okulonda omuwanguzi omuli; empisa, ebitone, obusoobozi okubaako ky’okola, endabika ssaako obukugu mu kuddamu ebibuuzo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Duka1 220x290

Eyabbye omwana bamusanze ne bba...

OMUKAZI eyabbye bbebi wa munne ow’emyezi esatu n’amutwalira omulenzi gwe yalimba olubuto, Poliisi yamulinnye akagere...

Mote 220x290

Abayizi 30 aba S6 babagaanyi okukola...

ABAYIZI ba S6 eggulo baatandise okukola ebigezo ebibatwala mu yunivasite n’amatendekero aga waggulu amalala kyokka...

Yagayo 220x290

Owoolubuto eyabula basanze yaziibwa...

OMUKAZI owoolubuto olw’emyezi omusanvu eyava awaka wiiki ssatu eziyise okugenda okunywa eddagala mu ddwaaliro lya...

Wangi 220x290

Eyeeyise owa ISO n’abba emmotoka...

OMUSAJJA abadde yeeyita owa ISO n’abba mmotoka ku muntu akwatiddwa.

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...