TOP

Ebbinu lya Nyege Nyege: Abadigize baakumala ennaku 4 nga balaga waaka

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2018

ABANYUMIRWA entujjo ya Nyege Nyege basugumbiza ng’akimezezza okw’enjala, Gavumenti bw’ekkirizza egende mu maaso oluvannyuma lwa minisita akwasisa empisa, Simon Lokodo okusooka okulagira kiyimirizibwe ng’agamba nti wabeerayo obuseegu obususse.

Capture 703x422

Abadigizi nga bali mu kyepukulu kya Nyege Nyege

Minisita Lokodo ku Lwokubiri yawandiikira minisita w’ensonga z’omunda, Gen. Jeje Odongo ayimirize ekivvulu kino ekigenda okumala ennaku nnya nga kyatandise ku Lwakuna ng’agamba nti wabeerayo ebikolwa ebikontana n’empisa awamu n’obuwangwa.

Wabula ku Lwokusatu ekivvulu kyakkiriziddwa okugenda mu maaso kyokka abategesi bassiddwaako amateeka ge balina okugoberera.

Mu mateeka gano mulimu:

  • Poliisi erina okuweebwa pulogulaamu y’ebigenda okukolebwa mu nnaku ennya ze kigenda okukwajjira.
  • Okutangira ebikolwa by’obuseegu ebiyinza okweyolekerayo.
  • Okkukkiriza poliisi okulawuna ekifo kyonna emisana n’ekiro.
  • Abaana tebajja kukkirizibwa kukyetabamu.
  • Poliisi okukolera awamu n’abakuumi ab’ekitongole eky’obwannannyini ekyapangisiddwa okukuuma.

Omukungu wa MTN, abamu ku bategese ekivvulu kino, Val Okecho yagambye nti ekivvulu kyatandise ku Lwakuna era bbo baabadde tebannafuna bbaluwa okuva ewa minisita ebayimiriza.

NYEGE NYEGE KYE KI?

Ekigambo Nyege Nyege, okusinziira ku Derrick Dediu ng’ono akola ku by’okusanyusa abantu nga munnansi wa Burundi agamba nti kyava mu kigambo ‘Ekinyegenyege’ nga kino kigambo kya Luganda ekitegeeza essanyu eringi eriyinza okuwaliriza omuntu okukola ekintu ky’atandikoze.

Muno mubeeramu okuzina amazina ag’enjawulo nga n’agamu gabeeramu okusoomooza olw’abawala abeesala obukete obuleka ebisambi ebweru n’abamu okuta ebifuba ne basigala mu buleega kyokka nga bapise amabeere.

Mu mazina gano tewabadde abakuba ku mukono nga mulimu okwawuza, abasajja okusitula abakazi ne bazina nga beteeterera mu bifuba oba ku migongo.

Entujjo ya Nyege Nyege eyatandikibwawo mu 2015 ezze etegekebwa buli mwaka ng’ebeera mu kifo ekya Nile Discovery Resort ku lubalama lw’omugga Kiyira mu kibuga Njeru mu disitulikiti ye Buikwe.

Ey’omwaka guno eyatandise nga September 6 yaakukomekkerezebwe ku Ssande.

Entujjo eno esomba abayimbi bangi abasoba mu 200 okuva mu nsi ez’enjawulo abajja okusanyusa abantu nga bawerekerwako bbandi ne ba DJ. Kijjumbirwa nnyo Abazungu abava ebweru n’abali kuno.

Eno abadigize naddala abavubuka gye baliira kaasi n’okwolesa emisono egy’enjawulo gye beesala nga waliwo abamu kumpi abakunnumba nga kyenkana bali bute.

EBIBEERAYO

Ebyokulya n’okunywa bibeerayo ttomooni omuli emmere ey’ebika eby’enjawulo, Rolex, emisito gy’ennyama so nga mu byokunywa mulimu ebiweweevu n’ebitamiiza omuli wayini, bbiya, walagi n’ebirala.

Abadigize banywa ne bakeesa obudde ne batuuka n’okugangayira ne beerabira eribazza ewaabwe.

Abategesi bategeka ekifo w’ozimba weema yo ey’okwebakamu kasita osasula ssente ze babeera bakusabye era eyo abantu gye beemalira eggoga naddala abaagalana oba abasuuzizza ekkubo, omukwano bwe gubeera gubatembye.

Obukuumi mu kitundu kino bubeera bwa maanyi ng’abategesi babadde batera kukozesa abaserikale ba poliisi n’amagye oluusi n’abebitongole ebikuumi okulaba ng’abadigize tebafuna kizibu kyonna.

Ekifo kya Nile Discovery kijjudde emiti n’ebizimbe ebitannaggwa kuzimbibwa n’obusiko obutonotono era eyo omukwano be gutembye gye beesogga ne zidda okunywa.

Jjukira nti abasinga babeera banywedde nga bagangayidde ate luli tewabadde abakuba ku mukono.

Loogi ne wooteeri mu Njeru ne mu Jinja zibeera ku buseere ate zijjuza nnyo.

Bbo abavubuka Bannayuganda eno bakwanirayo nnyo Abazungu abajja okucakala n’okulya ku ssente zaabwe era bangi babafuulidde ddala baganzi baabwe.

Okuyingira ng’ojja kumalayo ennaku nnya osasula 200,000/-, ku Lwokutaano osasula 100,000/-, ku Lwomukaaga osasula 120,000/- ate ku Ssande 80,000/-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...